File Photo: Police nga ekola ogwayo
Omukazi atutte muganzi we ku poliisi ye Nalumunye ng’amuvunaana okugaana okumuddiza ssente zeyamwewolako n’okumusuula mu nju mu Kinaawa.
Mariam Kawaala agamba nti bba Charles Luyombya nga wa boda boda abadde asussiza okukwana abakazi abalala era ssente n’azimalira kwabo
Wabula Luyombya w’abuuziddwa ategezezza nga omuwala ono bw’abadde amwesibako nga tamuwolanga ko nansimbi.
Kino kikubye…
File Photo: Mbabazi ngali mukalulu
Omuduumizi wa poliisi e Sembabule alabudde ku bikolwa byonna ebimenya amateeka mu biseera bino eby’okulonda.
Anatoli Katungwesi abadde ayogera ne banamawulire ategeezezza nti bangi abamenya amateeka nga berimbika mu bululu.
Kiddiridde abantu abawerako abagambibwa okukwatibwa nebaggalirwa lwa butawagira gavumenti.
Wabula eno abawagizi ba Mbabazi bagamba beebasinze okukwatibwa.
Vincent Kimbugwe ategezezza nti bangi ku banaabwe baggaliddwa…
File Photo: Museveni ngaiko bwagamba Mbabazi
Abawagizi b’eyali ssabaminista Amama Mbabazi bakungaanidde ku kisaawe kye Boma e Mbarara nga balindirira omuntu waabwe okwogerako gyebali
Mbabazi eyabadde e Bushenyi olunaku lwajjo leero ali Mbarara n’enjiri ye eky’enkyukakyuka.
Olukungaana luno lusuubirwa okutandika ku ssaawa nga kkumi ng’abasinga abamulinze bavubuka.
Nga Mbabazi ategeka okwogerako eri abe Mbarara, ne pulezidenti Museveni ali mu…
File Photo :Museveni ngayogerako eli abantu
Pulezidenti Museveni alagidde nti buli maka gaweebwe enkumbi ssatu okuyamba okwongera ku mmere erimwa buli maka.
Enkumbi zino eziweza obukadde 18 zigenda eri amaka agaweza obukadde mukaaga okwetoloola eggwanga.
Pulezident alagidde nti ensimbi ezigula enkumbi zino zissibwa mu mbalirira y’eggwanga era nga mu ngeri yeemu n’olukiiko lwa ba minisita lutegeezeddwa ku nsonga…
File Photo: Nambooze nga buuka omuziziko gwa Police
Poliisi kyaddaaki ekkakanyizza abawagizi b’ekibiina kya NRM n’aba DP abalwanaganye akawungezi akayise e Mukono.
Ebibinja byombi byalwanidde ku ofiisi z’akakiiko k’ebyokulonda nga aba NRM balumiriza akulira ebyokulonda e Mukono Sarah Namugambe okusunsula owa DP okusooka owaabwe.
Aba NRM balumiriza omubaka Betty Nambooze okugulirira abakulira ebyokulonda mu kitundu kino.
Poliisi nga eduumirwa…
File Photo: Ssebugwawo nga yogeera ko ne Jeniffer Musisi
Ab’ekibiina kya FDC abaagala ekifo kya ssentebe w’egombolola ye Lubaga buli omu agaanye okulekera munne era bonna balemedde mu lwokaano.
Amyuka pulezidenti w’ekibiina kino mu Buganda Joyce Nabbosa SSebugwaawo ne John Kikonyogo bonna bagyeyo empapula zokusunsulibwa nga mukiseera kino Nabbosa ye ssentebe.
Kikonyogo agamba alinze akamyufu k’ekibiina ku kifo…
File Photo: Mbabazi nga buza Museveni
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ategezezza nga bw’ajja okuwaayo obuyinza mu mirembe singa awangulwa mu kalulu ka 2016.
Nga ayogererako mu maka g’obwapulezidenti mu Arua, pulezidenti ategezezza nga bw’atalina mululu gwakukulembera ggwanga kale nga singa bamumegga mu kalulu wakudda ewuwe alunde ente.
Museveni wabula agambye nti mukiseera kino tewali tteeka lyonna limukugira…
File photo: Edwaliro lye Mulago
Ab’eddwaliro lye Mulago bawakanyizza ebigambibwa nti abayiga obusawo babanja emyezi esatu
Abayizi bano bakedde kwediima nga bagamba nti ensimbi zaabwe zasaliddwaako emitwalo 25.
Bano bategeezezza nti ensimbi zaabwe zebalina okufuna giri emitwalo 85 kyokka nga babadde bafuna emitwalo 60 okumala emyezi esatu.
Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago Enoch Kusaasira agambye nti bano tebabanja kubanga babasasula…
File Photo: Omukyala nga koozesa esiimu
Bannayuganda abalina amasimu agatali mawandiise basabiddwa okwetereeza oba gakujjibwaako.
Atwala MTN mu Uganda Brian Gouldie bw’abdde atongoza okuwandiisa amasimu mu nkola ya digito ku wofiisi za kkampuni mu Kampala.
Gouldie agamba nti amasimu agali mu 3000 bajjiddwa ku mpewo okumala akaseera era nga kino kyakugenda mu maaso.
Asabye n’abo abatannawandiisibwa mu bujjuvu okwetereeza…
File Photo :Omusawo nga janjaba omu lwadde
Omusawo ow’emyaka 53 akwatiddwa lwakukaka mulwadde ow’emyaka 20 akaboozi
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate agambye nti omuwala asoma ku yunivasite yagenze mu kalwaliro ka dokita ono ng’olubuto lumuluma era omusawo yamutadde mu kasenge akenjawulo amukebere.
Omuwala ono agamba nti omusawo yazze n’empiso n’agimufumita era yatandise okuwulira kamunguluze…