Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Besigye ku ttaka- Gavumenti eribba mu bugenderevu

Ye akwatidde ekibiina kya FDC bendera Kiiza Besigye asuubizza okukyuusa mu mateeka agafuga eby’ettaka okusobozesa bannayuganda bonna okumanya ebikwata ku ttaka lyabwe naddala erye byapa. Bino Besigye abyogedde akuba kampeyini e Kayunga n’ategeeza nga ekibba ttaka ekigenda mu maaso bwekigendereddwamu okwavuwaza bannayuganda. Ono agambye nti gavumenti yandibadde essa ekkomo ku kugaba ebyapa okutuuka ng'ebizibu byonna biwedde    

Read More

Baryamureeba asuubizza federo

Eyesimbyewo ku bwanamunigina Prof Venancious Baryamureeba, asuubizza enkola ya Federo kebukeera nga alidde akalulu k’omukulembeze w’eggwanga. Bino Baryamureba abyogeredde Jinja gy’akubye enkungaana 2 mu paaka ya Taxi e Jinja ne mu Bugembe Town Council. Agambye kino kyakusobozesa gavumenti ez’ebitundu okuganyulwa buterevu mu by’obugagga bw’eggwanga. Ono era alabudde abatuuze b’e Jinja obuatasibibwa kantuntunu nabulabolabo abalala abesimbyewo bwebabaletera kubanga byakukosa…

Read More

Akakiiko kaanukudde Mbabazi

Akakiiko k’ebyokulonda kyaddaaki kaanukudde ow’omukago gwa Go- Forward ku by’okutataganya enkungaana ze nga yatuuka n’okubakiba mu kkooti y’ensi yonna.   Mu bbaluwa etereddwako omukono ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng Badru Kiggundu, akakiiko k’ebyokulonda kalagidde ssabapoliisi w’eggwanga ayanguwe mangu okunonyereza ku kwemulugunya kwa Mbabazi.   Kiggundu agamba bakubaako nekyebakola amangu ddala nga bafunye alipoota okuva mu poliisi.   Omukulembeze w’eggwanga awereddwako kopi ku…

Read More

Mbabazi atabukidde Museveni- Njakubyogera

  Ow’ekisinde kya Go-Forward Amama Mbabazi  addiza pulezidenti Museveni omuliro n’amusaba aleme kwekwasa balala ku bimulemye akkirize ensobi ze. Mbabazi abadde ayanukula pulezidenti Museveni eyategezezza nga Mbabazi bw’alina okuneneyezebwa ku byonna ebitagenda bulungi mu gavumenti ye kubanga ya musaale nyo mu kusalawo ku nsonga ez’enjawulo. Mbabazi agamba azze eyogera ku bitali bituufu nga kale era wakugenda mu maaso…

Read More

Bagumbye ewa Minisita

File Photo: Abantu nga bakayana Abantu abasoba mu bitaano bagumbye mu maka g’omubaka omukyala akikiirira disitulikiti ye Mubende nga bagala gavumenti egobe musigansimbi omuyindi Alamu Obidi mu ttaka lyaabwe kwebagobwa mwaka gwa 2006. Abatuuze bano bavudde ku byaalo bitaano ebiri mu gombolola ye Nalutuntu ng’abakulembeddwamu Hussein Bugembe ne Kansala w’eggombolola eno Eric Kagaba. Bagamba nti baagobwa ku ttaka…

Read More

Abasimattuka abayekeera balulojja

File photo: Abantu be South Sudan nga batambuula Abamu ku baalumizibwa mu bulumbaganyi ku baasi e Juba batuusiddwa mu ddwaliro e Mulago nga buli omu alulojja lulwe. Ku bano kuliko Joyce Nalwadda omutuuze we Nansana  nga ono yakubwa amasasi 3 nga n’erimu likyali mu mawuggwe. Yye Joan Namutebi  n’abalala 2 abatategerekesse manya olw’embeera yaabwe ekyali mbi ddala. Bano bagamba…

Read More

KKanisa ne poliisi betegedde paapa

File Photo: Fred Enanga Kkanisa ya Uganda etegeezezza nti emalirizza buli kimu okwaniriza paapa atuuka mu ggwanga ku lw’okutaano luno. Bino byogeddwa eyali ssabasumba ya Uganda Mpalanyi Nkoyoyo bw’abadde ayogerako eri bannamawulire . Ono agambye nti bamalirizza buli kimu era nga paapa w’anaatuukira okubakyalira ku lw’omukaaga nga tewali kibanja. Ategeezezza nti abakiristu bonna abagaala okulaba paapa bakumusisinkana kiyanja Namugongo…

Read More

Yesse lwa basajja

File Photo:Aba Police ngabasitudde omukazi Entiisa ebuutikidde abatuuze be Kyebanda Nsooba omuwala ow’emyaka 17 bweyewadde obutwa neyejja mu bulamu bwensi eno. Afudde ategerekese nga Harriet Nakitto nga n’okufa afudde atuusibwa ku ddwaliro abantu be gyebamuddusizza okugezaako okutaasa obulamu bwe. Kitegerekese nti okwetta kyandiba nga kivudde kulemererwa kusalawo ku basajja 2 ababadde bagala okumwanjula.

Read More

E Mali bakungubaga

File Photo: Abadukirize e'Mali nga basitudde abafilidde mu bulumbaganyi Mu ggwanga lya Mali abaayo batandise okukungubaga okw’ennaku 3 okujjukira abantu 19 abafiridde mu bulumbaganyi obwakoleddwa abatujju ku woteri emu mu kibuga ekikulu Bamako. Amagye ga Mali wamu n’agamawanga amalala gazingako woteeri eno okununula abamu ku bawambe era bamukwata mundu 2 nebatibwa . Abatujju bamiruindi 2 bazze bewaana nga…

Read More

Abaana 30 banunuddwa

File Photo: Abaana nga bakukusibwa Poliisi ye Mbale eriko abaana abasoba mu 30 benunudde okuva mu maka agamu gyebabasibira okusoma ediini. Abaana bano kigambibwa nti bajiddwa ku bazadde baabwe mu bitundu bye Sironko, Bulambuli ne Mbale okubayigiriza enjiri okuva mu mwezi ogwokubiri omwaka guno. Omu ku balwayisa obuzzi bw’emisango mu kitundu kino Thomas Nambale ategezezza nga babadde balambula amaka…

Read More