Kaliisoliiso wa gavumenti amalirizza okunonyereza ku musango oguvinanbibwa eyali minisita w’ebyenguudo Eng. Abraham Byandala nga obuwumbi 24 wabulankana.
Kaliisoliiso nga ayita mu amukiikiridde mu kkooti Thomas Okoth awaddeyo empapula ezongerayo omusango gubno mu kkooti enkulu mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka mu kkooti ewozesa abakenuzi Julius Borore.
Omulamuzi abadde alina omusango guno okugwongerayo mu kkooti enkulu wabula minisita…
Abakyala abakolera ku palamenti naddala abayonsa kati bakusobola okugenda ku mulimu n’abaana baabwe oluvanyuma lw’okugulwawo kw’ekifo webasobola okukuumira abaana bano n’okubayonseza.
Nga agulawo ekifo kino, sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga ategezezza nga abakyala kati emitima bwegigenda okubabera awamu ku mirimu nga abaana baabwe babali kumpi.
Wabula akubirizza abagenda okukozea ekifo kino okukikwata obulungi n’obutaddamu kwekwasa nsonga zabaana…
Ebitundu bye Busoga ne Kigezi byebikyasinzemu okugulirira abalonzi mu kampeyini ezigenda mu maaso.
Bino bifulumidde mu alipoota ekunganyiziddwa ab’ekibiina ekilwanyisa obukenuzi ekya anti-corruption coalition Uganda.
Akulira ekibiina kino Cissy Kagaba agamba bakizudde mu kunonyereza kwabwe nti abasuubuzi kati bagenda mu nkungaana z’ebyobufuzi nga basuubira okuweebwa ebirabo.
Kagaba agamba kino kyakukosa akalulu ka 2016 olw’abantu okusubira nti buli ayagala…
Ow’ekibiina kya Farmers Party of Uganda Maj Gen Benon Biraaro,asuubizza okuzimbayo ekkomero elyenjawulo okukaligilamu abo bonna ababa basingisiddwa emisango gy’okulya enguzi.
Biraaro agamba bano basaana kkomera lyabwe kubange bazingamizza nyo ebyenfuna by’eggwanga.
Biraaro agamba ekkomera lino lyakubera lyanjawulo kubanga agezaako okutoloka empologoma zibaawo okumubwebwena
Nga ayogerako eri abawagizi be mu lukungaana lweyakubye e Nazigo, Biraro era y’asuubizza okuddiza…
Obunkenke bweyongedde mu tawuni ya Arua Amama Mbabazi gy’alina iokukuba olukungaana lwe olwaleero nga awenja akalulu akanamutuusa ku bukulembeze bw’eggwanga.
Kino kiddiridde abantu abatanategerekeka okugenda nga batimbulayo ebipande bya Mbabazi akawungezi akayise.
Era waliwo ebigambibwa nti ekisaawe kya Hill Top Grounds Mbabazi w’alina okukubira olukungaana lwe bwekyawereddwa abalokole okusumbirawo endiga.
Wabula bbo abagoba ba bodaboda abenjawulo bakunganidde ku…
Akwatidde ekibiina kya FDC bendera ku bwapulezidenti Dr. Kiiza Besigye alabudde bannayuganda obutasubira pulezidenti Museveni kuva mu buyinza nebwanaaba awangudde ekisanja ekyemyaka 5 ekirala.
Bw’abadde atalaaga ebitundu bya Budadiri y’obuvanjuba okunonya akalulu amakya galeero, Besigye ategezezza nga Musevei bw’azza subiza obutadda mu buli kampeyini kale nga kati lwafuuka luyimba ngoma y’ebulako.
Besigye agamba pulezidenti Museveni tasaana kulondebwa…
Ssabasajja Kabaka wa Buganda y’omu ku bagenda okwaniriza Paapa Francis nga yakatonya ku kisaawe ky’enyonyi Entebbe ku lunaku olwokutaano.
Kino kibikuddwa Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu lukiiko olukomekereza omwaka wali e Bulange Mengo
Mungeri yeemu Katikiro Mayiga ategezezza nga Buganda bw’egenda okubeera nampa wengwa mu kampeyini zino ezikyagenda mu maaso.
Mayiga ategezezza nga bwebatagenda kuwanda ku…
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akkatirizza nga Uganda bwetetaaga kkomo ku bisanja enkola ya demokulasiya okubukala mu ggwanga.
Nga ayogerako nebannamawulire mu maka g’obukulembeze bw’eggwanga e Gulu, pulezidenti Museveni agambye demokulasiya asoboka nga bannayuganda balonda abakulembeze bebaagala.
Agamba abamuvuganya abagenda boogera ku kuzzayo ekkomo ku bisanja baleme kulimbalimba bantu bafuneyo ebirala eby’okwogerako..
Dr Kiiza Besigye ne Amama Mbabazi…
KKooti etaputa Ssemateeka esazeewo nti ababaka ba palamenti tebalina buyinza kweyongeza musaala
Abalamuzi 5 nga bakulembeddwamu amyuka ssabalamuzi w’eggwanga Stephen Kavuma basazewo nti gavumenti y’erina okuleeta ekiteeso ky’okwongeza ababaka bano omusaala sso ssi bbo kweyongeza buli webagalidde.
Abalamuzi bano era balagidde gavumenti esasule Wilson Mwesigye eyawaaba omusango guno mu 2011 oluvanyuma lw’ababaka okweyongeza omusaala.
Twogeddeko ne munnamateeka we…
File Photo: Abakyala abe'Karamojja nga basitudde abaana
Agava e Karamoja waliwo okutya olw’omuwendo gw’abakyala abazaalira okumu kumu okweyongera.
Kino nno kivudde ku mmere egabwa ku bwereere eri abakyala b’embuto nga bangi gyebaba babaza
Okusinziira ku b’ebyobulamu, kino kyabulabe kuba amaka agasinga maavu ebitagambika nga gyebujja tebajja kusobola kubezaawo baana bano abazaalibwa.
Omusawo ku ddwaliro lya Nakapelimoru Health Centre 3…