Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abanaasisinkana Paapa bawandiisiddwa

File Photo: Papa nga engibwa emugwa ku mukoono Abavubuka abasoba mu mutwalo omulambo beebamaze okuwandiisibwa okusisinkana paapa mu kisaawe e Kololo ng’akyadde kuno. Ssabawandiisi w’olukiiko lw’abesikoopi Msgr. John Baptists Kauta bino abyogedde okwasibwa obukadde ataano okuva eri akakiiko akakola ku byempuliziganya. Agambye nti paapa wakumala e Kololo essaawa nnamba olwo ate adde e Nalukolongo gy’anasisinkana abantu abalala 6000…

Read More

Kabaka abanja UNRA bukadde

File Photo:Akulira ekitongole kya UNRA nga seeka Gavumenti ya sabasajja Kabaka emalirizza enteekateeka y’okuwaaba ekitongole ky’enguudo ekya UNRA lwakuzimba nguudo ku ttaka lya mutanda nga tesasudde. Akulira ekitongole ky’ettaka ekya Buganda ekya David Kiwalabye Male, agamba nti UNRA ebanjibwa obuwumbi obusukka mu 10 olw’ettaka lya kabaka kw’eyisa enguudo. Kiwalabye anokoddeyo enguudo ng’olwa Northern By-pass, Mukono- Nyenga n’olwa Kampala…

Read More

Ab’amaggye babakunyizza

File photo: Ababaka ba Palimenti Ababaka abatuula ku kakiiko akakola ku by’amateeka olwaleero bakunyizza abakiise b’amaggye mu palamenti ku mivuyo mu kulonda kko n’okutuulira abaana abato mu maggye. Ababaka okubadde Abdul Katuntu,Sam Otada n’abalala babuuzizza lwaki abakiikirira amaggye bonna beebakadde mu maggye ate nga waliwo abaana abato. Mu kwanukula, aduumira amaggye Gen Katumba Wamala agambye bagoberera tteeka eritwaala…

Read More

Okuwandiisa kutambudde bulungi

Okuwandiisa bakansala  ku mutendera gwa disitulikiti mu Kampala kutambudde bulungi. Bangi bamaze okuwandiisibwa era nga batandika kampeyini ssabbiiti ejja. Twogeddeko nabamu ku bawandiisiddwa okuli Allen Kisige, Saul Kulya ne Henry Lukwaya neboogera ku biki byebauubira okukolera abantu. Atwala eby’okulonda mu Kampala Charles Ntege agamba nti tebasanze buzibu n’akatono. Ate okuddako e Makindye saabagabo e Wakiso, abantu abasoba 50 beebawandiisiddwa. Ku…

Read More

Besigye wa balimi, Mbabazi azza Kirembe, Museveni asiimye amaggye

Akutte bendera ya FDC mu lwokaano lw’omukulembeze w’eggwanga  Dr. Kizza Besigye asuubizza nti kavuna alya entebe wakwongera ensimbi ezissibwa mu byobulimu okutuuka ku bitundu 15 ku kikumi era ajjewo omusolo ku bikozesebwa abalimi. Agamba nti kino kyekyokka ekiyinza okubbulula eggwanga elijjuddemu abantu abasinga nga balimi. Dr Besigye asuubizza okuzzaawo ebibiina by’obwegassi okusobola okuyamba abali mu bulimi n’obulunzi. Ng’ayogerako…

Read More

Ba DP kati beebayigga Lukwago

Ab’ekibiina kya DP bawandikidde loodimeea Erias Lukwago nga bamusaba yesimbewo ku tiketi ya DP. Lukwago yabadde amaze okwewandiisa ng’atalina kibiina mu kakiiko akalondesa Kati omwogezi wa DP, Paul Kenneth Kakande agambye nti baatudde nebakikakasa nti Lukwago ye mutuufu ow’okuwagira kubanga alina n’obuwagizi mu bantu Bano bagamba nti ssinga Lukwago takima tiketi eno,bakudda ku Isa Kikungwe .

Read More

Mu Bufaransa amasasi ganyooka

Poliisi mu ggwanga lya Bufaransa eriko ekikwekweto kyekoze mu kibuga Paris okulaba nga ekukunulayo abamu ku bateberezebwa okubeera emabega w’obulumbaganyi bwolwokutaano oluwedde omwafiridde abantu abasoba mu 100. Poliisi egamba bawanyisiganyizza amasasi n’abamu ku bebatebereza okubeera abatujju nga era waliwo abaserikale abafunye ebisago.   Agavaayo galaga nga poliisi bweyigga Abdelhamid Abaaoud gwebalumiriza okubeera emabega w’obulumbaganyi buno.   Abatujju ba…

Read More

E Wakiso Lwanga awandiisiddwa

E Wakiso abantu 3 bebakasunsulwa okwesimbawo ku bwa ssentebe bwa disitulikiti eno.   Bano kuliko ssentebe era munna DP  Matia Lwanga Bwanika, munna FDC Umar Kyeyune n’owa NRM  Jonah Nsubuga. Bwanika asunsuddwa olwaleero era n’asuubiza okwongera amaanyi mu kukulakulanya ebyenguudo n’ebyobulamu mu kitundu.   Bwanika asabye abavubuka okwewala okukozesebwa bannakigwanyizi wabula bekolerele okulwanyisa obwavu.   Bwanika awerekeddwako eyali ssenkaggale w’ekibiina kya DP…

Read More

Mukaaga beebagala obwa loodimeeya

Abesimbyewo ku bwa loodi meeya 2 bokka bebakakakasa okuzzayo empapula z’okusunsulibwa ku bwa loodi meeya.   Loodi meeya Erias Lukwago wakusunsulibwa olunaku lwenkya ku ssaawa munaana ezemisana sso nga ne Isa Kikungwe naye walunaku lwankya.   Akulira ebyokulonda mu disitulikiti ye Kampala  Charles Ntege agamba abantu 6 bebagyayo empapula ku kifo kino okuli Eugene Nkulanaba, Mohammed Kyanzi, Rwamiti Apuuli…

Read More

Ebya Loodimeeya bigenze mu kkooti

Abaagala okusunsula abesimbyewo ku bwa loodi meeya kuyimirizibwe bawaddeyo okwemulugunya kwabwe eri kkooti etaputa ssemateeka. Mulindwa Muwonge nga ayita mu bannamateeka ba  KM Advocates and Associates ategezezza nga etteeka lya KCCA bweligyawo ebyagavumenti ez’ebitundu kale nga okubeera n’ekiwayi kyabannabyabufuzi mu KCCA kimenya mateeka. Muwonge agamba bino byonna bimenya mateeka mu kawayiro namba 2 mu ssemateeka w’eggwanga akawa…

Read More