Minisitule y’ekikula ky’abantu yakaggala ofiisi 17 wano mu Kampala lwakugaana kugondera mateeka ga butebenkevu ku mirimu.
Etteeka likirambika bulungi nti ebifo bino birina okubaaka emiryango abantu webayinza okuddukira nga omuliro gukutte wamu n’abalema webalina okuyita.
Akulira ebikwekweto mu minisitule eno David Atwok, ategezezza nga bwebazze balabula bananyini bifo bino naye nga tebawulire.
Agamba okusinga tebabadde nabizikiza muliro nga…
Omuliro gukutte ekizimbe kya IPS ku luguudo okuli palamenti
Omuliro guno gutandikidde ku mwaliro gw’okusatu nga kuno kwekuli wofiisi za kkampuni ya yinsuwa eya Jubilee.
Poliisi enziinyamooto etuuse ng’alwanagana n’omuliro guno
Poliisi asazeewo okutuusa obujjanjabi ku bantu baayo.
Bano bakwataganye ne gavumenti ya Iran okutambula nga bajjanjaba abapoliisi n’okukebera endwadde ezitali zimu.
Atwala ebyobulamu mu poliisi Dr. Emanuel Nuwamanya agambye nti bajja kutambula nga bakebera kokoolo, okuyamba abakyala abali embuto, n’okukebera siriimu
Kino kyakutandika ku lw’okusatu nga bakuyita e Jinja, Mbale, Soroti, lira, Luweero ne Kampala.
Omuntu omu afiriddewo n’abalala basatu nebaweebwa ebitanda polisii bw’ebadde erwanagana n’abateberezebwa okuba ababbi b’emotoka.
Afudde ategerekeseeko lya Swalleh nga n’omulambo gwe gukyali Mulago.
Abalala bategerekese nga Innocent Ocheng,Ivan n’omulala abadde tanategerekeka.
Bano okubwa amasasi basangiddwa n’emmotoka kika kya Premio gyebabadde babbye okuva e Namboole ku mupiira
Poliisi yagenze ebalinya kagere wabula mu kugezaako okubakwata nebalwanyisa poliisi.
Twogeddeko ne Ocheng gwetusanze…
Abali mu lutalo ku nguzi bataddewo ebirabo eri abo abananywa mu banaabwe akendo mu kulwanyisa enguzi.
Akulira ekibiina kya Transparency International Peter Wandera agamba nti ensonga zebagenda okussaako essira kwekuli okuwa embalirira, okukola mu bweruufu, obwesimbu n’ekitiibwa
Wandera agamba nti omuntu asinze wakulondebwa okuyita ku kibanja kyaabwe ku yintaneeti giyite Website
Akulira akakiiko akateesiteesi Peter Kiwummulo agamba nti…
Abantu 24 beebattibwa mu ggwanga mu wiiki gyetukubye emabega
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agambye nti abasinze okufa bakubiddwa masanyalaze mu nkuba eno etonnya obutasalako ate abalala bafiira mu bukubagano mu maka.
Enanga agambye nti amawulire g’ennaku agasinga gaava Kibaale ng’omusajja ategerekese nga Anatoli Tugume yatta abaana be bana n’omukyala ate nga e Mbale waliwo abaana mukaaga…
Poliisi egamba nti ssiyakukkiriza Muntu yenna kufulumya bivudde mu kulonda kwa 2016
Poliisi egambye nti efunye amawulire okuva mu bibiina by’obwa nnakyeewa nti bitegeka okukungaanya ebivudde mu bifo ebitali bimu mu kalulu ka 2016
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti eby’abantu abatali bamu okufulumya ebivudde mu kulonda bikuma mu bantu omuliro era tebajja kubikkiriza
Poliisi era egamba…
Akulira ekibiina kya UPC Jimmy Akena agamba nti ekibiina kye tekirina mukago gwonna gwekyakoze ne gavumenti.
Akena bw’abadde ayogerako eri bannamawulire agambye nti okusisinkana pulezidenti tekitegeeza kumwegattako nga basobola okwogera ku nsonga eziwera.
Ono agambye nti ekibiina kya UPC tekisobola kwegatta ku NRM okutuuka ng’olukiiko lw’ekibiina olufuzi lusazeewo ate nga terunnaba kukikola.
Wabula kkyo ekibinja ekiwakanya obukulembeze bwa…
Eyaliko meeya we Hoima Francis Atugonza awandisiddwa okuddamu okwesimbawo ku kifo kyekimu kyokka nga tajjidde mu kibiina kye ekya FDC.
Ono yesimbyeewo nga tasinzidde mu kibiina kyonna.
Atugonza akakasiddwa akulira eby’okulonda mu disitulikiti ye Hoima Douglas Masiko.
Atugonza yawangulwa munna NRM Grace Mugasa ku bwa meeya mu mwaka gwa 2011.
Atugonza musajja wa FDC nnyo era nga yaliko n’omuwandiisi…
Poliisi eremesezza Amama Mbabazi okwogerako eri abantu ababadde bamulindidde e Kyankwanzi.
DPC we Kyankwanzi y’akulembeddemu abagaanye Mbabazi okwogerako eri abantu ababadde balinze edda nga bagaala asooke eyogereko gyebali
Poliisi etegeezezza Mbabazi olukusa alina lwogera na bantu be Hoima sso ssi Kyankwanzi.
Mbabazi takayaanye agenze mu maaso
Mbabazi olwaleero alangiridde nga bw’agenda okukyuusa mu kampeyini ze nga wakusooka mu bugwanjuba…