Tiimu y’eggwanga the Cranes egenda butereevu munkambi okwetegekera omupiira ogwokudingana ku Sunday eno ne team ya Togo mumpaka ezokusunsulamu abanetaba mukikopo kya World Cup mugwanga lya Russia.
Cranes yawangudde Togo ku goal 1-0 olunaku lweggulo nga anayitawo kubombi,wakugenda mukibinja omunasunsulwa abo abagenda okukikirira Africa mu world cup ya 2018.
Omwogezi wekibiina ekikulembera omuzannyo gwomupiira mugwanga Hussein Ahmed…
Poliisi mu ggwanga lya Bugirimaani eriko emirambo gy’abaana gy’eguddeko nga gikukuliddwa mu kisenge
Abaana bano tekinnaba kutegerekeka ngeri gyebaafa mu.
Poliisi egamba nti etandise okukunya omukyala ow’emyaka 45 abadde mu nyumba omusangiddwa emirambo gino.
Tekinnaba kutegerekeka emirambo gino gimaze bbanga ki mu kifo kino kyokka nga gyonna gibadde gitandise n’okuvunda
Poliisi enzinyamotto wamu n'ebalubbira baayo banyuludde omulambo gw'omusajja abadde agudde mu kidiba ekisenebwamu amazzi
Kiteberezebwa nti ono yabbira ennaku satu emabega
Poliisi e Mubende ekulembeddwamu akulira okuzikiriza omuliro John Ogogogongo basabye abantu okubayambako kubanga omuntu abadde tamanyiddwa ku kitundu era ng’ono wakubiri okufiira mu kidiba kino .
Abatuuze mu kitundu kino aboogeddeko n’omukutu guno, bagambye nti omulambo gw’omusajja…
Abayizi be Makerere basatu abagambibwa okutta munaabwe David Ojok basindikiddwa mu kkooti enkulu bawerenembe n’emisango
Omulamuzi wa kkooti ento eya Buganda road Esther Nahirya okuindika bano mu kkooti enkulu ng’agoberera biragiro bya ssabawaabi wa gavumenti
Ebiwandiiko bya sabawaabi biraga nti okunonyereza kwawedde nga kati byonna bisindikiddwa mu kkooti enkulu kubanga emisango gyebaliko gyanaggomola.
Akiikiridde ssabawaabi wa gavumenti Esther…
Omukazi agambibwa okusobya ku mwana omulenzi ow’emyaka ettaano gyokka wakuvundira Luzira.
Kino kiddiridde omukyala ono okuddizibwa e Luzira Oluvanyuma lw’omuwaabi wa gavumenti Pamela Orogot okutegeeza omulamuzi w’edaala erisooka ku City Hall Moses Nabende nti okunonyereza kukyagenda mu maaso.
Christina Nakato ng’ali ku alimanda e Luzira omusango yaguddiza walufumbe zone e Kyanja mu Kampala ng’era omwana ono ayogerwako…
Omu omu afiiridde mu kabenje akagudde wali e Mukono mu Kibuga
Ekimotoka ki Fuso kiremereddwa okusiba nekisabaala aba bodaboda okukkakkana ng’omu afudde
Akabenje kano kabadde wali kumpi ne wooteri ya Collins Hotel
File Photo: Museveni ,Mbabazi ne Besigye
Abawenja obululu okukulembera eggwanga lino bakyatalaaga ebitundu ebyenjawulo mu kawefube w’okuwangula emitima gy’abalonzi.
Pulezidenti Museveni leero asiibye mu bitundu bye Lango ng’eno gy’asinzidde n’asuubiza nti mu myaka gye etaano egijja, abayizi abawala bakufuna ebikozesebwa nga bali mu nsonga zaabwe ku bwereere
Obuzibu obusinze leero ebadde nkuba eyatattanye amakubo nga pulezidenti okutuuka mu…
File Photo: Abayizi nga bakoola ebigeezo
Ekikangabwa kibuutikidde abayizi ku somero lya Kasenyi S.S.S Mubende muyizi munabwe bwafiridde mu bigezo bya S.6 ekiwunikiriza abayizi n'abasomesa.
Kebigombe Rekyo abadde muyizi mu S.6 ku somero lya Kasenyi S.S.S era nga okusinzira ku mukulu w'esomero lino Kanonya Edward omuyizi ono tabadde nabuzibu bwona wabula azirikidde mu bigezo kwekumudusa mu dwaliro…
File Photo:Thomas Nkurungira eyasalilwa ogwokuufa ngaali mu Kooti
Kkooti ejulirwamu egaanye okusazamu ekibonerezo ky’okutibwa ekyaweebwa Thomas Nkurungira amanyiddwa nga Tonku eyatta muganzi we omulambo n’agusuula mu kinya kyakazambi.
Omulambo gwa Brenda Karamuzi gwazulibwa abafuuyira ebiwuka nga 30th.Jan.2010 mu zooni ye Kijjwa e Bukasa- Muyenga .
Abalamuzi abasatu nga bakulembeddwamu Augustine Nshimye bakkiriziganyizza n’ebyasalibwawo omulamuzi wa kkooti enkulu Albert…
File Photo: Onyango nga yogeera
Poliisi mu Kampala ekutte omukuumi lwakutta mugoba wa bodaboda.
Omukuumi ono akola ne kkampuni ya Ultimate Security.
Bino bibadde Najjanankumbi nga kiddiridde owa boda ono okukoona owa Taxi era mu kudduka omukuumi n’akuba Fred Kalule amasasi agamusse
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiraano Patrick Onyango agambye nti Daruis Ayesiga abadde akuuma ku ofiisi w’amazzi…