Ng’akalulu kajja keyongeramu ebbugumu, mu Busiro y’obukiikakkono, aba NRM beegasse okufumuula ali mu kifo kino prof Gilbert Bukenya
Bano abakulembeddwamu Patrick Nakabaale bagamba nti Bukenya yatandikawo ekibiina ekikye ekya pressure for National unity kale nga tasobola kwetaba mu kamyufu k’ekibiina kyeyavaamu
Ono agambye nti mukakafu nti ekibiina kyakigoberera amateeka okulaba nti bannakigwanyizi tebalya bitali byaabwe
Akamyufu ke Wakiso…
File Photo: Abayizi nga bayita mu mazzi
Abantu abasoba mu 1500 beebakakosebwa amataba agavudde ku nkuba ekyafudembe mu bitundu ebyenjawulo.
Kino kibikuddwa minisita omubeezi akola ku bigwa tebiraze Musa Ecweru bw’abadde ayogerako ne bannamawulire olwaleero.
Echweru agamba disitulikiti okuli Amuri, Kanunugu, Kampala, Ntoroko, ne Bududa zeezisinze okukosebwa.
Ono alabudde abo bonna abali mu bitundu by’ensozi ettaka gyeritera okubumbulukuka okubyamuka…
File Photo: Lukwago na ba Dp
Abagaala ekifo ky’obwa loodimeeya bakulindako ddala.
Kati akakiiko akakola ku by’okulonda kongezezzaayo eby’okuwandiisa abo abagaala ekifo kino.
Okuwandiisa bano kubadde kwakubaawo ssabbiiti ejja okuva nga 16 kyokka nga ssi bwegugenda okuba
Akulira akakiiko akalondesa Eng Badru Kiggundu agamba nti bakutegeka okulonda oluvanyuma lw’okufuna ebiragiro okuva eri minisita wa kampala ku mateeka agatwala okulondebwa…
File Photo: Emundu ekozesebwa abakuumi
Okuvaako e Mukono omukuumi yefuulidde omwana w’awaka n’amukuba amasasi lwakugaana kumuganza.
Alex Kadidi omukuumi mu kkampuni ya Security Plus Ltd yalumbye Caroline Natukunda ow’emyaka 23 mu nyumba n’amusaba omuwase era olwagaanye n’amulasa amasasi
Amasasi omusirikale ono omwana yagamukubye ku kabina kyokka nga naye mu kugezaako okudduka, tuleera yamukoonye nga kati ajjanjabwa mu ddwaliro…
File Photo: Abayizi nga bakyaali mukikangabwa kya muyizi munabwe okufa
Omuyizi wa University asangiddwa afudde mu kisulo e Entebbe.
Julius Habumuremyi ng’aweza emyaka 22 abadde muyizi mu yunivasite ye Nkumba ng’asoma mateeka mu mwaka gw’okubiri.
Taata w’omugenzi John Munyankuzi avudde e Kisolo ategeezezza nga bweyafunye essimu okuva mu bayizi banne nebamutegeeza ng’omwana we bw’afudde yadde nga tabadde mulwadde.
Mu…
Gavumenti kyaddaaki eyanjizza etteeka erijjako bannakampala obuyinza okulonda loodimeeya.
Okusinziira ku bbago lino, kati loodimeeya wakulondebwa mu ba kansala okuva mu divizoni ettaano ezikola Kampala.
Mu ngeri yeemu ebbago ssinga liyita, KCCA ejja kuba eyongeddwa amaanyi okuddukanya ekibuga nga teyekikiddwaamu bannabyabufuzi
Etteeka lino era likendeeza obuyinza bwa loodimeeya ng’okusinga ajja kuba wa mikolo
Ebbago lino lyanjiddwa ssabawolereza wa gavumenti…
Akakiiko k’ebyokulonda kategezezza nga bwekatanafuna kwemulugunya kwonna kutongole kuva eri eyesimbyewo ku bwapulezidenti Prof Venansius Baryamureeba.
Prof Barya olwakubyeeyo olukungaana lumu e Kayunga n’ategeeza nga bw’ayimirizza eby’okukuba enkungaana okutuusa nga ebyokwerinda bye bikoleddwako.
Ono yategeezezza nga bweyawereddwa abakuumi abatono kale nga siwakugenda mu maaso ne kampeyini.
Wabula omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Jotham Taremwa agamba ono ave mu by’okwogerera mu…
Olukiiko olugatta enzikiriza ez’enjawulo wano mu ggwanga lulabudde ku byokugulirira abalonzi nga okulonda kusemberera.
Mu lukungaana lwabannamawulire lwebatuzizza , abakulembeze b’amadiini ag’enjawulo bategezezza nga kino bwekisubya abalonzi okwelondera omukulembeze gwebaagala.
Ssabalabirizi w’e Kanisa ya Uganda Stanley Ntagali ategezezza nga bannabyabufuzi bangi bwebalabiddwako nga bagulirira abalonzi.
Ntagali agambye abalonzi basanye okwekumakuma baleme kukombya kalulu kwabo bonna ababagulirira kubanga okulonda…
Ab’ekibiina kya DP bazzeemu okusaba poliisi etangaaze ku mulimu gw’abayiza emisango abawandiisibwa buli lukya
Kino kizze ng’abalala bakatongozebwa okukola emirimu mu bitundu ebitali bimu gyebava
Kati amyuka omwogezi wa DP Alex Waiswa agambye nti abantu bano abawandiisibwa gyebali batulugunya abantu nga befuula nti balwanyisa misango.
Waiswa agambye nti poliisi bagiwadde ennaku ttaano okunyonyola abantu bano omulimu gaabwe na…
Gavumenti eweze abatembeeyi mu bifo paapa gy’agenda okuyita bw’anaaba akyadde mu Yugana ku nkomerero y’omwezi guno
Okusinziira ku nteekateeka efulumiziddwa, ebimu ku bifo paapa mw’agenda okuyita kwekuli Munyonyo, e Namugongo ne Nalukolongo.
Minisita akola ku guno na guli Tarsis Kabwegyere agambye nti basazeewo okuwera abatembeeyi mu bifo bino olw’ensonga z’eby’okwerinda
Kabwegyere agambye nti tewali mutembeeyi yonna agenda okukkirizibwa…