Abasuubuzi mu kibuga kampala balangiridde nga bwebagenda okuggala amaduuka gaabwe ssabbiiti ejja.
Abasuubuzi bano basisinkanyeemu olwaleero nebategeeza nga bwebaludde nga beemulugunya ku nsonga y’emisolo egibabinikibwa ab’ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority kyokka nga teri abanyega.
Bano balonze akulira bannekolera gyange, Gideon Badagawa okukulemberamu entesegayanga ne gavumenti kyokka nga ssinga bigaana, teri kubuusabuusa bakwekalakaasa nga baggala amaduuka gaabwe…
Dr Kiiza Besigye kyaddaaki atuuse e Rukungiri.
Ono awerekeddwa abagoba ba bodaboda n’oluseregende lw’emotoka abaamulindidde ku lutindo kwe Kahengye
Bano bazze begattibwaako abawagizi abalala
Kebisoni, Buyanja ne Nyakibale.
Ng’atuuka e Buyanja, abantu bamweyiyeeko abalala nebayiika mu luguudo era bano amaze kwogera nabo okukkakkana.
Ekibuga kye Rukungiri kisiibye kya blue ng’ebipande biri buli wamu ate nga waliwo n’abantu abasazeewo okwesiiga laangi…
Eyesimbyeewo ku lulwe ku bwa pulezidenti Prof Venansius Baryamureeba agambye nti amangu ddala nga yakawangula obwa pulezidenti, wakuwa gavumenti z’ebitundu obuyinza .
Baryamureeba agamba nti kino kiyamba nako okugatta abantu n’okukomya okulwanirira obukulu.
Ng’ayogerako eri abantu be Busaana, Prof Barya agambye nti gavumenti z’ebitundu nga zikulembeddwa abakulumbeze b’ennono zikola nnyo ku byenkulakulana okusinga okussa obuyinza…
File Photo: Owogezi wa police Fred Enanga
Poliisi efulumizza enteekateeka y’eby’okwerinda nga bw’enabeera mu kaseera kano ak’okuyigga akalulu.
Eggwanga lyonna litemeddwaamu ebifo 34 nga bakulondoolwa abapoliisi abakutuddwaamu ebibinja 27
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti ebitebe by’okwerinda byebataddewo byakubaako abakola ku by’okwerinda okuva mu bitongole ebitali bimu okulaba nti akalulu kaba ka mirembe.
Ono agambye nti…
File Photo:Museveni nga yogeerako eri abantu
Abawagizi ba pulezidenti Museveni wansi w’ekibiina kya Gwewalabyeko batubiridde e Mukono oluvanyuma lw’okubulwa entambula y’obwereere okugenda e Luweero.
Bano abakulirwa omusumba Robert Kateregga bakedde kwetegeka nga balinze babakime kyokka nga negyebuli kati teri yabasinyizzaako.
Omu ku bamemba bano John Kezaala sagambye nti omusumba ono yabakubidde amasimu ng’abayita okukungaanira e Mukono kubanga yewabadde…
File Photo: Omuvuuzi we motooka ze mpaka Lwakataka
Okuwulira omusango oguvunanibwa omuvuzi w’emmotoka zempaka Ponsiano Lwakataka ne banne abalala 2 ogwokutta abantu benyumba emu e Rakai guddamu okuwulirwa olunaku olwaleero.
Lwakataka, Fangesi Vincent amanyiddwa nga Kanyama wamu ne Emanuel Zinda bebasuubirwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti e Masaka John Keitirima.
Kkooti yakuwulira obujulizi bw’abantu abawerako ku musango guno.
Oludda…
File Photo: Mbabazi nga e Mbale
Ab’ekibinja kya Go-Forward ekinonyeza eyali ssabaminisita w’eggwanga akalulu k’obwapulezidenti bategezezza nga kampeyini zaabwe bwebagenda okuzikuba mu mitendera esatu okusobola okubuna mubuli kasonda k’eggwanga.
Mbaabzi ategezezza nga nga bwebagenda okusooka okutuuka mu municipaali ez’enjawulo nga era bakusokera Masaka olwaleero, bade e Mukono, oluvanyuma boolekere Mityana.
Omu ku bakulira bakakuyege ba Mbabazi , Hope…
File Photo: Mbabazi ngali nabawagizibe
Nga kampeyini z’abesimbyewo ku bwapulezidenti zitandise mu butongole amakya galeero, ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng Badru Kiggundu azzemu okulabula abesimbyewo obutagezako kukozesa bubinja bwabakubi ba miggo kutiisatiisa bantu.
Kiggundu agamba kampeyini sizakusfiirawo kale nga zirina kubeera za mirembe.
Agamba eby’okwerinda birina kukolebwako bitongole bikuuma ddembe ebitongole mu ggwanga.
File Photo:Museveni nga yogeerako eri abantu
Kampeyini z’okunonya akalulu kobwa pulezidenti zeyongeddemu ebugumu.
E Masaka abawagizi b’eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi batadise okutuuka ku kisaawe kya Golf okulindirira omuntu waabwe.
Wabula bano bemulugunya ku bipande bya Mbabazi ebyatimbuddwayo.
E Rukungiri ebbugumu lyeyongedde nga abaayo balindirira akwatidde ekibiina kya FDC Bendera ku bwa pulezidenti.
Abawagizi bangi beyiye dda mu kibuga wakati…
File Photo : Museveni ne mukyala we Janet nga kutte manifesito
Nga pulezidenti Museveni ateekateeka okugenda okutongoza kampeyini ze e Luweero, ab’ekibiina kya NRM bategezezza nga essira bwebagenda okusinga okuliteeka ku by’obulimi, amakolero ssaako n’okwongera okutonderawo bannayuganda emirimu.
Bino pulezidenti abyogedde agulawo ekifo webagenda okukwasangayiza kampeyini z’abakwatidde bendera ku bwapulezidenti .
Ekifo kino kyakuddukanyizibwa abantu 150 nga era…