File Photo: Police nga ekola ogwayo
Poliisi mu gomboloola ye Kitenga e Mubende ekoze ekikwekweto mwekwatidde ababbi be mbuzi mumwenda (9) ababadde bafuuse ekizibu mu kitundu mu kubba ebisolo bya batuuze nga babitwala okubiwasamu abakazi.
Ababbi bano bakwatiddwa muluka gwe Bugalya mu gombolora ye Kitenga e Mubende n'embuzi mwenda z'ebabadde bakukusa okuzitwala mu katare mu kibuga kye…
Palamenti eyitiddwa bukubirire okuyisa etteeka eriwa gavumenti ebbeetu okusasaanya ensimbi nga tafunye lukusa okuva eri palamenti.
Okusinziira kw’akulira ebyamawulire ku palamenti Chris Obore, palamenti yakutuuka ku lw’okubiri oluggya ku ssaawa munaana zenyini.
Obore agambye nti ofiisi y’omuwandiisi wa palamenti emaze okufulumya ebbaluwa eyita ababaka bonna okuva mu luwummula okuyisa etteeka.
Ababaka baludde nga bawakanya eky’okuyisa etteeka lino nga…
Ssentebe w’akakiiko akalondesa Eng Badru Kiggundu alabudde bannabyabufuzi ku kumal agamokkola gagambo agayinza okuzaala entalo.
Kiggundu bino ebyogedde ayogerera ku kukubaganya ebirowoozo okutegekeddwa aba ACODE ku ngeri y’okukumaamu emirembe mu biseera by’okulonda
Kiggundu agambye nti akitegedddeko nti waliwo bannabyabufuzi abakunga abawagizi baabwe okukola effujjo mu kuyigga akalulu.
Bbo Ab’amaggye bagamba nti tebajja kulonzalonza kugoloa abo abakola effujjo ettumba…
File Photo: Peter Frederiksen agambiwa okusala abakyala
Waliwo omusajja asangiddwa n’ebitundu by’abakyala ebyekyama 21 mu firiigi ye.
Peter Frederiksen, w’emyaka 63 nga munnansi wa Denmark kyokka ng’;abeera mu South Africa nakati tekinnategerekeka lwaki akungaanya ebitundu bino.
Omusajja ono era yasangibw an’edagala nga kirabika alikuba abakyala nga tennaba kubasalako bitundu bya kyama
Mukyala w’omusajja ono yeeyasooka okuwaaba ku poliisi kubanga…
File Photo:Abakulembeze be biwayi ekilwanira e South Sudan
Mu ggwanga lya South Sudan kizuuliddwa nti gavumenti n’abayekeera bonna bali mu kukungaanya byakulwanyisa kuddamu kulwana yadde nga bategeragana okussa wansi emmundu
Akakiiko k’ekibiina ky’amawanga amagatte akakola ku by’okwerinda keekategeezezza bino mu alipoota yaako gyekakoze.
Yadde nga guno bweguli , ab’omukago bagaanye okussa natti ku kuguza enjuuyi zombie emmundu.
Abantu abalu…
File Photo: Bakyala nga bakoora mu Kataale e'Nakasero
Kkooti enkulu mu Kampala eyongezezzaayo ekiragiro ekikugira okumenya akatale ke Nakasero, era n’eragira akatale kano obutamenyebwa okutuusa nga 16 November 2015.
Ekiragiro kino ekiyisiddwa omuwandiisi wa kkooti Michael Otto era kigaana ne gavumenti okuwa ekiwayi kya Nakasero Market Sitting Vendors and Traders LTD ekikulembeerwa George William Kakooza liizi ya…
File Photo: Police nga ekola ogwayo
Poliisi mu disitulikiti ye Nebbi ekutte omufumbo w’emyaka 56 lwakwekakatiika ku mbuzi ya neyiba
Omusajja ono akwatiddwa ye Charles Onen omutuuze mu Gombolola ye Kwiyucwiny mu disitulikiti ye Nebbi.
Ayogerera poliisi mu bitundu bya WestNile Josephine Angucia agambye nti omusajja ono bwebamukunyizza teyegaanye era n’agattako nti ssi gwegusoose okukikola
Anyonyodde nti kati ono…
File Photo: Katongole Singh nga buuza ku bantu
Kkooti enkulu eyisizza ekiragiro ekiyimiriza aba NRM okuwandiisa Katongole singh ng’akutte bendera ya NRM e Rubaga mu bukiikakkono
Amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu Festo Nsenga y’ayisizza ekiragiro oluvanyuma lwa gweyawangula Brian Tindyebwa okumulumiriza okumubba mu kamyufu ate nga n’ebiwandiiko by’alina bikyaamu.
Tindyebwa nga munnamateeka agamba nti ebitabo bya Singh byakugatta…
File Photo: Mbabazi nga buza Museveni
Pulezidenti Museveni n’eyali ssabaminista Amama Mbabazi bakutandikira kampeyini zaabwe mu bitundu bya Buganda
Museveni wakutandikira Luweero are nga yye Mbabazi agenze Masaka.
Mbabazi bw’ava eno wakudda Mityana n’oluvanyuma adde mu Kampala.
Okusinziira ku nteekateeka ewereddwa akakiiko akalondesa, Dr Kiiza Besigye wakusookera Mbale
Bonna byebasazeewo bakubiwa akakiiko akalondesa okwewala okukukwatagana nga bayigga akalulu
Kampeyini zino ez’okumala…
Omubaka we Lwemiyaga mu palamenti Theodore SSekikubo azzeemu buto okulumba minisita Sam Kuteesa lwakulangirira ebikyaamu mu kamyufu
Ssekikubo agamba nti yadde yeeyawangula, kyamuweddemu Kuteesa okulangirira eyali amwesimbyeeko Patrick Nkalubo.
Ssekikubo agambye nti Kuteesa atandise okuyita mu bitundu ebitali bimu ng’amusiiga enziro n’okusaba abantu balonde Nkalubo ate gweyawangula.
Ssekikubo yalangirirwa ng’omuwanguzi mu kalulu akakwatibwa omwezi oguwedde yadde nga Nkalubo…