Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Museveni ne Mbabazi balaze essajja

File Photo: Mbabazi nga buza Museveni Pulezidenti Museveni azzeemu okukakasa abamuvuganya nti y’asobola era yeeyekka alina eggwanga ku mutima. Bw’abadde ayogerako eri nasiisi w’omuntu akungaanidde e Kololo, pulezidenti Museveni agambye nti abamuvuganya tebalina byakuddamu eri ebiruma abantu n’asaba abantu obutakola nsobi Museveni agambye nti era amaanyi kati wakugassa ku biruma bannayuganda omuli obwaavu n’ebbula ly’emirimu oluvanyuma lw’okumaliriza kati…

Read More

Amalwaliro agamu gawedde

File Photo:Dr Asuman Lukwago nga seeka Minisitule ekola ku byobulamu emalirizza okuddabiriza amawaliro musanvu. Ekigendererwa ku kino kutereeza mpereeza naddala mu byobulamu Amalwaliro agakoleddwaako kuliko erye Moroto Anaka , Nakaseke. Entebbe, Iganga, Kirandongo ne Mityana. Enteekateeka etutte obukadde bwa doola 130 okuva mu banka y’ensi yonna. Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr Asuman Lukwago agambye nti eno yeemu ku nteekateeka…

Read More

Enkuba ekosezza abayizi-ebgezo bikereeye

File Photo: Abayizi nga bakoola ebigeezo bye kyo musanvu Ng’abayizi abasinga bakedde kukola bigezo, e Soroti ku ssomero lya Pioneer Primary School abayizi bakedde kugogola kifo webakoledde ebigezo Ekizimbe abayizi mwebabadde balina okukolera ebigezo kikubyeeko amazzi olw’enkuba eyasuze etonnya. Akulira essomero lino John Evans Omuut Otim,  agambye nti ebizimbe ebisinga bikadde nnyo nga bitonnya era enkuba buli lw’etonnya…

Read More

Omwana asse munne

File Photo: Akambe nga kaliko omusaayi Poliisi e Kiwatule aliko omuwala ow’emyaka 14 afumise mwana munne akaso n’amutta. Gw’asse wa myaka 4 Omwana ono Gudaike Nanse abadde akalakata byanyanja , omuto n’ajja okumutawaanya era mu busungu n’amusogga akaso n’afa. Bino bibadde mu zooni ya Wabidugu e Kiwaatule Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti omwana afudde oluvanyuma lw’okuvaamu…

Read More

Sebaggala alebukaana na bamubbako kibiina

File Photo: Seya nga jjeyo foomu okwesimbawo mu 2016 Eyesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga Al- Hajji Nasser Ntege Sebaggala addukidde mu kkooti ku ky’ekibinja ekigamba nti kyekyatandikawo ekibiina kye ekya Liberal Democratic Transparency Sebaggala amaze okutwala ensonga eno mu kkooti enkulu ng’ayagala kiragiro ekiyimiriza Zaid Mukasa okweyisa nga ssabawandiisi w’ekibiina okutuuka ng’omusango gwonna guwuliddwa. Sebaggala agambye nti yalondebwa ng’akutte…

Read More

Anywar owa FDC agenda wa Mbabazi

Munna FDC era nga mubaka omukyala owe Kitgum Beatrice Anywar ategeezezza ng’olunaku lw’enkya bw’ajja okuwerekera Mbabazi mu kumuwandiisa okulaga obuwagizi bwe gy’ali. Anywar agambye nti ab’omukago gwa TDA bagaana okutegeragana nebalekawo abantu babiri okuli Mbabazi ne D.r Kiiza Besigye era nga bonna bakubawagira Anywar agambye nti bakunze abantu okuwagira abantu bombi okulaba nti bonna bayuguumya ekibuga

Read More

Ebyobufuzi ssi mulimu- Museveni

File Photo: Museveni nga kutte map Pulezidenti Museveni agamba nti ekisinze okukosa empereeza eri abantu beebakulembeze abatalina mutima gwa bantu. Ng’ayogerako eri bannakibiina mu kuggalawo ttabamiruka, pulezidenti agambye nti obukulembeze bulina kutambulira ku mpereeza era oyo yenna alina ky’ayagala alina kukulembeza bantu Museveni agambye nti ekyennaku kiri nti abantu ebyobufuzi babiraba nga mulimu ekirese ng’emirimu gikoseddwa. Olukungaana ono era…

Read More

Ssabawaabi yegaanye emisango ku Mbabazi- Poliisi eyogedde

Ofiisi ya ssabawaabi wa gavumenti ekyali matankane ku by’okukwata eyali ssabaminista Amama Mbabazi. Kiddiridde bannamateeka ba Mbabazi okutegeeza nga bwebafunye amawulire nti omuntu waabwe wakukwatibwa assibweeko emisango gyebayise emijingirire. Munnamateeka wa Mbabazi Fred Muwema agambye nti Mbabazi wakussibwaako misango gyakukettera amawanga amalala, obutemu n’obufere. Kati Ssabawaabi wa gavumenti Mike Chibita agambye nti tasobola kukkiriza oba yye oba nedda…

Read More

Mbabazi wakukwatibwa- bannamateeka be

File Photo: Mbabazi nga kutte foomu emukiliza okwesimba wo ku bwa pulezidenti Bannamateeka ba Amama Mbabazi bawandiikidde sabawaabi wa gavumenti nga bamubuuza ku bigambibwa nti omuntu waabwe wakukwatibwa. Kigambibwa nti Mbabazi wakuvunanibwa emisango okuli obutemu, obufere n’okuketta gavumenti yakuno. Bannamateeka ba Mbabazi  bategezezza nga omutu wabwe bw’asubirwa okukwatibwa olunaku lw’enkya oba olwaleero Nga bakulembeddwamu  Fred Muwema bategezezza nga bbo…

Read More

Mbabazi afunye omubaka asoose owa NRM

File Photo: Besigye ngali ne Mbabazi Omubaka we Kween Chamaswet Abdil Fadhil Kosi alangiridde mu butongole nga bw’agenda okuwagira naye Mbabazi. Ono ye Mubaka wa NRM asoose okulangirira obuwagizi bwe eri Mbabazi Chamaswet nga munna  NRM lukulwe y’omu ku bantu 20 abalondeddwa okuwerekera Mbaabzi mu kusunsulibwa mu kisaawe e Namboole olunaku lw’enkya. Chamaswet agamba  Mbabazi gwebatunulidde okuleetawo enkyukakyuka mu…

Read More