File Photo: Kaihura nga
Ekibinja ky’abayisiramu ekya Youths Development Platform kirangiridde nga bwekigenda okuwagira eyali ssabaminisita Amama Mbabazi ku bwa pulezidenti.
Ekibinja kino kigamba gavumenti eriko tefudde ku bizibu biluma basiraamu mu ggwanga kale kabagezeeko Mbabazi.
Akulira ekibiina kino Ahmed Kabuye agamba benyamivu olwagavumenti obutalondebwa mu bifo byamaanyi kale nga bebamu ku basinga okukuba emisota ku byalo.
Abaddu ba…
File Photo: Aba NRM Ekyankwanzi
Nga eggwanga lyetegekera akalulu ka 2016, pulezidenti w’eggwanga era ssentebe w’ekibiina kya NRM alabudde bannakibiina be okwewala kampeyini z’okuwoggana obuwoganyi nga temuli makulu wamu n’okutiisatiisa.
Pulezidenti agamba kampeyini zirina kukuyega bantu ku bigendererwa bya NRM sso ssi kuwogana buli kiseera ekitagasa.
Awadde bannakibiina amagezi okwongera okukunga obuwagizi ku byalo, amasomero ssaako n’abantu mu…
File Photo:Empologoma nga ekutte omukazi
Poliisi wamu n’ekitongole ky’ebyebisolo mu ggwanga bali ku muyiggo gw’empologoma eyasse omukyala mu disitulikiti ye Ibanda.
Gladys Komworeko y’asangiddwa mu kasiko akaliranye amakage nga abwebweneddwa empologoma eno bweyabadde agenze okulunda ente ze.
Kigambibwa nti empologoma eno ezze etta n’ebisolo ku kyalo nga era kati abatuuze bali mu kutya.
Ssentebe w’e gombolola ye Nsasi Benon…
File Photo : Omukazi nga yooza
Ebyentambula ku luguudo lw’e Kigumba-Masindi bisanyaladde oluvanyuma lw’emigga okubimba amazzi neganjala mu nguudo za tawuni.
Okusinziira ku bavuzi bemmotoka ebifo ebisinze okukosebwa kuliko ekyalo Nyambindo nga eno omugga Waiga gwegubimbye n’ebyalo ebirala okuli Kigumba.Ssentebe wa disitulikiti ye Kiryadongo Ben Constantine Moru ategezezza nga gavumenti bwezze esubiza okuddabiriza oluguudo oluva e Kigumba-Kyenjojo…
File photo: Ababaka ba Palimenti
Palamenti y’eggwanga ekyali mu kiyongobero oluvanyuma lw’amawulire g’okufa kw’omubaka we Okoro nga ono ye Stanly Omonya.
Omubaka y’asembye okulabikako mu kisaawe e Namboole mu ttabamiruka w’ekibiina kya NRM gyeyazirikidde nga era y’afudde atuusibwa mu ddwaliro.
Okusinziira ku mubaka omukyala ow’e Zombo Hon Kwiyucwiny Grace Freedom y’afudde kirwadde kya mutima.
Omugenzi abadde yakawangula akamyufu k’ekibiina…
Ebigezo bya P7 ebyakamalirizo bitandise bulungi mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
Ku ssomero lya Nakasero Primary wabula bakereyemu essaawa namaba nga batandise ku ssaawa 4 mu kifo ky’essaawa 3 olw’empapula okusookam obutamala.
Era ne mu district ey’e Mpigi waliyo ebifo awatuulibwa ebifunye omuwendo gw’ebigezo ebitamala bw’ogeraageranya n’abayizi ab’ewandiisa okutuula ebigezo bino.
Ku ssomero lya Nkozi Nusrat primary school, amasomero…
Godfrey Nyakana Amooti ye mumyuka wa ssentebe w’ekibiina kya NRM wano mu Kampala sso nga ye Sam Engola alidde obwa ssentebe mu bukiika kkono bw’eggwanga.
Mu bitundu ebirala abamu baalekedde banaabwe okuyitamu nga tebavuganyiziddwa, ku bifo bino bonna balemeddeko nebavuganya.
Nyakaana y’amezze Katongole Singh Malwah n’obululu 3389 sso nga ye Katongole y’afunye 1544 mu kulonda okwabaddewo akawungeezi…
File Photo: Abawagizi ba NRM
Ttabamiruka ‘ekibiina kya NRM akomekerezebwa olunaku olwaleero.
Olukungaana luno olw’ennaku 2 mubaddemu okukakasa pulezidenti Museveni nga agenda okukwatira ekibiina kino bendera ku bwa pulezidenti nga tavuganyiziddwa wamu n’abakulembeze b’ekibiina abalala abaakakasiddwa.
Ssentebe w’ekibiina kino era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni asuubirwa okwogerako eri ebakungu b’ekibiina kino oluvanyuma lw’okuddamu okuweebwa bendera .
Amyuka ssabawandiisi w’ekibiina kya…
File Photo: Abawagizi ba NRM
Ate nga ebula olunaku lumu lwokka okutuuka ku lunaku lw’okusunsula abesimbyewo ku bwapulezidenti, akakiiko k’ebyokulonda kalabudde abesimbyewo bonna obutasukka lunaku lwaleero nga bamaze okuwerezayo amanya g’abo abagenda okubawerekera nga bagenda okusunsulibwa ku kisaawe e Namboole.
Okusunsula kwakukwatibwa olunaku olw’enkya nga era buli yesimbyewo alina okugenda n’emmotoka 2 wamu n’abantu 20.
Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda…
File Photo:Ebisigalira bya bafiridde mu nyonyi mu gwanga lya Russia
Emirambo gy’abantu abasoba mu 140 abafiiridde mu kabenje k’enyonyi mu kitundu kya Sinai mu ggwanga lya Misiri gitwaliddwa ku butaka mu kibuga St Petersburg mu ggwanga lya Russia.
Abantu bonna 224 abaabadde ku nyonyi eno nga okusinga bananasi b’eggwanga lya Russia bafudde oluvanyuma lw’enyonyi eno okugwa mu…