Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Okutunda Uganda kutandise

Ekitongole ekikola ku by’obulambuzi mu ggwanga kitandise kawefube w’okutunda Uganda mu mawanga amalala. Akulira ekitongole kino Edwin Muzahura agambye nti bafunye kkampuni ssatu okukola ogwakitunzi Kino kizze nga Uganda eri mu kyangaala lwa nsonga zekuusa ku demokulasiya naddala olwa poliisi engeri gy’ekolamu emirimu. Muzahura agambye nti ekigendererwa kya bakitunzi bano kusikiriza balambuzi mu ggwanga. Akawumbi ka doola kamu n’ekitundu…

Read More

Amasimu agatali mawandiise gav eku mpewo

Akakiiko akakola ku byempiliziganya kalagidde kkampuni z’amasimu okujjako amasimu gonna agatali mawandiise mu nnaku 30 Akulira akakiiko kano Godfrey Mutabaazi agambye nti kkampuni za amasimu bagawadde obudde obumala okwetereeza nga eby’emirembe kati biweddeko. Mutabaazi bw’abadde ayogerako eri bannamauwlire agambye nti mu nnaku 30 okuva kati, bakutabukira kkampuni eziremezzaako amasimu agatali mawandiise. Ono bw’atuuse ku bya TV za digito,…

Read More

Kikungwe ayagala bwa loodimeeya

Olwokaano lwa loodimeeya lweyongeddemu ebbugumu. Kati Omubaka we Kyaddondo mu bukiikaddyo Isa Kikungwe yegasse ku besimbyeewo Ng’ayogerako eri bannamawulire ku woofiisi ye e Nalukolongo, Kikungwe agambye nti tasobola kutuula mabega ng’ekibiina kye tekisimbyeewo Muntu nga y’ensonga lwaki avuddeyo. Kikungwe agambye nti oluvanyuma lwa loodimeeya Erias Lukwago obutakima kaadi ya DP, tewali nsonga lwaki teyesimbawo ku kifo kino Akinogaanyizza nti…

Read More

FDC yegaanye eby’okulekera Mbabazi

Ab’ekibiina kya FDC bawakanyizza ebigambibwa nti omuntu waabwe Dr Kiiza Besigye yasegulidde Amama Mbabazi owa Goforward okukwata bendera y’abavuganya wansi w’ekisinde kya TDA Amawulire gaalaze nga Besigye bweyabadde akkirizza okulekera Mbabazi ku lw’obulungi bwa buli omu n’okulaba nti abavuganya bafuna obuwanguzi. Kati akulira ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu agambye nti enteseganya zikyagenda mu maaso era…

Read More

Lumumba yetondedde aba NRM

Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM Justine Lumumba yetondedde bannakibiina olw’emivuyo egyetobese mu kamyufu Lumumba wabula tanyonyodde kiki ekiyinza okuba nga kyavuddeko obuzibu bwonna. Akalulu kafumbekedde mivuyo gyabikozesebwa okutuuka ekikereezi, okugula abalonzi, nga n’awamu wofiisi zayokyeddwa Akulira akakiiko akalondesa Dr Tanga Odoi gyebuvuddeko akavuyo konna yakassa ku Lumumba gw’agamba nti teyabawa lukalala lupya olwa ba memba Lumumba kati yetonze n’asaba abawagizi…

Read More

Omusumba Yiga apondose

Pasita Augustine Yiga amanyiddwa nga abizaayo kyaddaaki apondoose n’awa omuwala gweyazalaamu omwana obuyambi. Omuwala ono Brenda Nalubega alumiriza omusumba Yiga okumukaka omukwano n’amufunisa olubuto kko n’okumusiiga siriimu kyokka n’amusuulawo nga n’omwana tamulabirira. Yiga ng’ayita mu mwanyina amanyikiddwako erya Nassozi awadde omuwala ono akakadde k’ensimbi kamu era n’ategeeza omuwandiisi wa kkooti enkulu Emanuel Baguma nti ku balaza ya…

Read More

Poliisi yeddeko- Bagabi ba buyambi

File Photo:Aba Police ngabasitudde omukazi Amyuka omubaka wa Bugirimaani mu Uganda asabye abapoliisi okukola emirimu gyaabwe n’obukugu okwewala okulabibwa obubi. Kolhendoer Fer Petra agambye nti poliisi yetaaga okussaamu ekitiibwa kyokka ng’erina kusooka ku ky’ewa. Omukulu ono okuva mu Bugirimaani okwogera bino abadde awaayo emmotoka,n’ebirala ebikozesebwa poliisi okubayambako okunonyereza obulungi ku misango. Kolhendoer agambye nti yadde mulimu gwa poliisi okukuuma…

Read More

Anesimbawo yekka ng’asiibula NRM

File Photo:Abakulira ekibiina kya Nrm ngabogeera Abakulira ekibiina kya NRM balabudde abo bonna abagenda okwesimbawo nga abatalina kibiina nti baba bavudde mu kibiina. Ssabawandiisi w’ekibiina kino  Lumumba Kasule  okulabula kuno akutegezezza bannamawulire n’asaba abaawanguddwa mu kamyufu okukkiriza okuwangulwa bagende mu maaso n’okukole emirimu gy’ekibiina. Ategezezza nga bwebataddewo dda abagenda okutunula mu kwemulugunya kwonna okwavudde mu kamyufu nga wano…

Read More

Akakiiko kalabudde- teli kukunga bantu

File Photo: Sam Rwakoojo ngali ne Kigundu Akakiiko k’ebyokulonda kawadde abesimbyewo ku bwapulezidenti ebinagobererwa  ebisembayo nga betegekera okusunsulibwa ssabbiiti ejja. Okusinziira ku nteekateeka efulumiziddwa, abesimbyewo 7 bokka  ku mwenda bebalonda essaawa z’okusunsulibwako nga pulezidenti Museveni y’alonda ssaawa 4 ez’okumakya. Mbabazi wakuddirirwa eyali ssabaminisita Amama Mbaabzi ku ssaawa 5 olwo Prof Vanasuis Baryamureeba aggye ku ssaawa 6 ye  Charles…

Read More

10 balidde obutwa

File Photo: Abantu nga balya emere E Gulu abantu 10 baddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka oluvanyuma lw’okulya  obutwa. Abali obubi kuliko abaana 3 nga era balumiddwa embuto oluvanyuma lw’okulya kabalagala agambibwa okubeeramu obutwa. Aberabiddeko n’agaabwe balumiriza nti omukyala atunda paani  Kevin Anena mu ka tawuni ka  Unyama yandiba nga yakikozesezza ttima okutabula obutwa mu menvu g’akubamu paani. Omu…

Read More