File Photo: Kooti Enkulu eya Uganda
Omukyala eyatta bba n’abaana bweyateekera enju mwebali omuliro asibiddwa mayisa.
Edith Kayaga yafuna amafuta ga genereeta n’aggalira bba n’abaana mu nyumba olwo n’abakumako omuliro
Ono yatta bba Ismail Kawooya n’abaana be okuli Shakira Nakubulwa ne Saidah Namale.
Omulamuzi aguli mu mitambo Masalu Musene agambye nti okusingisa omukyala ono omusango yesigamye ku bujulizi obwabaweebwa…
File Photo: Lukwago nga yogeerako eri abantu
Loodimeeya wa Kampala Erias Lukwago agamba nti eby’akakiiko akalondesa okuyimiriza okuwandiisa abagaala obwa loodimeeya tebigenda kumulobera kugenda mu maaso na nteekateeka ze.
Lukwago agamba nti yadde yajjayo foomu ng’abamu kw’abo abagenda okwesimbawo, tannafuna kutegeezebwa mu butongole ku bigenda mu maaso.
Lukwago agamba nti mwetegefu okugenda okuwandiisibwa ku bbalaza yesogge olwokaano lw’obwa…
File Photo: Joseph Mabirizi nga jeeyo foomu
Poliisi etandise okunonyereza ku bigambibwa nti omu ku besimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga yawambiddwa ekiro kyajjo.
Kiddiridde omukulu ono Joseph Mabirizi okusazaamu kampeyini ze ng’agamba nti yawambiddwa abantu abatannaba kutegerekeka
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti ebigambo bino tebasobola kubitwala nga byalusaago.
Wabula Enanga agamba nti ssinga bakizuula nti ono yabadde alimba,…
File photo: Omukyala ngali muduuka
Gavumenti esabiddwa okwongera ku nsimbi z’essa ku nsonga z’abakyala.
Okusaba kukoleddwa akulira abakyala abali mu byobusuubuzi Gudula Naiga mu kutongoza omwezi gw’abakyala abasuubuzi.
Gudula agambye nti kiwa amaanyi nti abakyala abenyigira mu byobusuubuzi ebitonotono bawezezza ebitundu 44 ku kikumi.
Kyokka omukyala on agambye nti abakyala abasuubuzi bakyasanga obuzibu buyitirivu omuli n’obuzibu mu kwewola ensimbi.
Mu…
File Photo:Abantu nga bavugiira amato ku nyanja ya kabaka
Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga atongozezza omulimu gw’okukulakulanya akayanja ka Kabaka e Mengo
Akayanja kano kagenda kufuulibwa kya bulambuzi mu Buganda okujjamu ensimbi ezitambuza emirimu gy’obwa kabaka.
Ku Kayanja kuno kugenda kuzimbibwaako woteeri , ekifo ekirirwaamu nga kiri ku mazzi, awasimbwa emmotoka, ekifo ky’obulambuzi kko n’okuketolooza olukomera.
Katikkiro…
File Photo: Aba Alshababu
Gavumenti ya Amerika etadde obukadde bwa doola 27 ku mitwe gy’abatujju ba Al Shabab 6.
Abayigibwa obubi enyo kuliko Mahad Karate era amanyiddwa nga Abdirahman Mohamed Warsame, agambibwa okubeera emabega w’obulumbaganyi bwa yunivasite ye Garissa e Kenya omwafiira abantu 148.
Ye Abu Ubaidah aliko obukadde 6 nga kati y’akulembera abatujju bano oluvanyuma lw’eyali omukulembeze…
File Photo: Abauganda nga baali mukisawe e'Namboole
Ba difiri okuva mu ggwanga lya Guinea balondeddwa okulamula omupiira wakati wa Uganda ne Togo olunaku lw’enkya
Keita Yakuba y’agenda okulamula ayambibweeko Dumbuya Abubakan ne Raffi Abdel.
Yoomu tiimu ya Uganda esitudde okwolekera Togo nga ku bano kuliko Denis Onyango, Robert Odongkara, Isaac Isinde, Geoffrey Massa ne Caesar Okhuti.
File Photo: Matia kasaija nga genda okusoma embalirila ye gwanga
Ekitongole ekikunganya omusolo kiremereddwa okukunganya omusolo gwekibadde kisuubira mu mwaka gw’ebyensimbi 2015-2016 .
Ekitongole kino kyali kisuubira okukunganya obusiriivu nga 3 mu kiseera kino okuvujirira embalirira y’eggwanga eya 2015/2016.
Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija agamba betaaga nga obukadde 300 okuziba eddibu lino.
Omusolo okugaana okuwera akitadde ku basuubuzi abebalama omusolo…
File Photo:Musumba ngaali ne Museveni
Ssentebe wa disitulikiti ye Kamuli Proscovia Salam Musumba akkirizza nga bw’agenda okuvuganya sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga ku kifo ky’omubaka omukyala.
Musumba olunaku olw’eggulo y’agyeyo empapula z’okwesimba ku Kadaga bangi kyebabadde tebasubira.
Musumba agamba kino akikoze oluvanyuma lw’abawagizi ba Kadaga okumukugira okutuuka mu bifo ebimu nga anonya akalulu nebamukolako n’efujjo kwekugyayo empapula.
Agambye nti…
File Photo: Nigirimana nga yogeera
Minisitule y’ekikula ky’abantu etandise okuggala amakolero gonna ne ofiisi ezitalina bizikiza muliro, emiryango egiyitibwamu ng’omuliro gukutte wamu n’abatalina balema webayita.
Omuwandiisi w’enkalakalira mu minisitule eno Pius Bigirimana agamba bazze balabula bananyini bifo bino naye nga balinga abafuuyira endiga emirere kwekusalawo okuva mu by’okutiisa babaggale.
Bigirimaana agamba ng’a ogyeko eky’okuggala amakolero gano abakulira ebifo…