Poliisi yebulungudde amaka ga loodi meeya Kampala Erias Lukwago oluvanyuma lw’okuwera okugenda ku ofiisi z’akakiiko k’ebyokulonda okusunsulibwa ku kifo ky’obwa loodi meeya.
Lukwago agamba tafunanga bbaluwa yonna kuva mu kakiiko kabyakulonda kayimiriza kusunsulwakwe nga era ye bamuwa ssaawa 5 ezokumakya agende bamusunsule alinde kwesimbawo.
Lukwago agamba teri kulonzalonza agenda kusunsulibwa.
Twogeddeko n’abamu ku bawagizi ba loodi meeya abaweze…
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni ajjuzza ebifo ebikalu mu kabineti ye.
Ali Kirunda Kivejinja kati ye mumyuka wa ssabamisita ow'okusatu era minisita w’ensonga za East Africa.
Rose Akol ye minisita w’ensonga zomunda w’eggwanga omuggya ng'azze mu kifo ky’omugenzi Gen Aronda Nyakayirima eyafa mu mwezi gw'omwenda.
Mu kiseera kino Akol ye mubaka omukyala owe Bukedea nga era kamissiona mu palamenti.
Ye…
Abaddukirize abasoba mu 2,000 bali mu kunonya bakawonawo oluvanyuma lw’amataba okuzingako obuvanjuba bw’eggwanga lya China nga 25 bebakafa.
Amataba gano galeeewo okubumbulukuka kw’ettaka nga era ebyalo ebiwerako okuli Lidong mu ssaza lye Zhejiang bikoseddwa .
Amataba gakifudde kizibu okutaasa omuntu yenna ga era eno n’abantu 12 bakyabuze.
Kati abaddukirize bakozesa ebimotoka bi bunduzza wamu n’embwa enkozi z’olusu okulaba…
Abantu abalwala Omusujja gwomubyenda ogwa Typhoid beyongedde mu bitundu bye Kasese nga n’enkuba bwekyagenda mu maaso n’okufudemba.
Raphael Baluku omu ku b’ebyobulamu mu kitundu kino kino agamba kivudde ku bantu kwongera kuyiwa bikyaafu mu mazzi wamu n’amataba .
Omwogezi w’eddwaliro lya gavumenti erye Bwera ono nga ye Pedson Buthalha akakasizza nga abalala bwebakwatiddwa typhoid wabula nga omuwendi…
Omulabirizi w'obulabirizi bwe Mityana eyawumula Kitaffe mu Katonda Bishop George Ssennabulya avumiridde obusiwufu bw’empisa obususse ennyo wano mu Buganda ng’abuletedde eggwanga Uganda okutandika okubeeramu ebikolwa ebyeko ng’obuttemu obw’abuli kaseera naddala mu byalo.
Bishop Ssennabulya asinzidde mu kusaba kuno okubadde ku Kanisa ye Kaseesa mu Busumba bwe Kitonzi mu busabadincon bwe Buwekula mu gombolola ye Nabingola e…
Abasomesa ku ssomero lya JohnBosco Primary School Kibulala mu disitulikiti ye Sembabule badduse mu mayumba gaabwe oluvanyuma lw’okuzuula entaana omwazikibwa abantu ekirindi kumpi n’enyumba zabwe.
Kino kiddiridde abayizi abaabadde beera oluggya lw’enyumba zino okulaba ekinya ekiguddemu, bagenda okwetegereza ekiri munda nga buwanga na ngumbagumba z’abafu.
Ssenteebe w’ekyalo Kibulala Tadeo Ssali ategezezza nga entaana eno bweyazikibwamu abaali mu…
Eyesimbyewo ku lulwe Maureen Kyalya ayimirizza ebyokukuba kampeyini.
Kyalya agamba munne mwebanonya akalulu Pastor Joseph Mabirizi akyali mugonvu nga era akyajanjabibwa.
Pastor Mabirizi and Kyalya olunaku olweggulo baabadde balina okukuba enkugaana bbiri mu disitulikiti ze Kibuku ne Butalejja waula tebalabiseko.
Mabirizi wiiki ewedde y’ategeeza nga bweyawambibwa abantu abatanategerekeka nga era poliisi ekyanonyereza ku nsonga eno.
Akwatidde omukago gwa Go-Forward bendera ku bwa pulezidenti John Patrick Amama Mbabazi akoze enkyukakyuka mu kampeyininze nga kati ayimirizza ebyokutalaaga obukiika kkono wiiki ejja.
Mbabazi olwaleero wakukuba enkungaana mu bitundu bye Hoima nga bwekibadde oluvanyuma olunaku olwenkya agende e Kabarole mu kifo ky’olunaku olwokutaano nga bwekibadde luli.
Mbabazi wakugenda e Kasese ne Kanungu mu kifo kya Arua…
Ababaka ba palamenti okuva mu kitundu kya greater Kampala nga kino kizingiramu Kampala n’ebitundu ebiriranyewo bakusisinakanamu olunaku olwenkya okuteesa ku nongosereza mu mateeka ga KCCA.
Mu nongosereza mwemuli akawayiro akawa bakansala obuyinza okulonda loodi meeya sso nga luli bannakuambapa bebabadde belondera loodi meeya.
Mu nongosereza zino, akulira emirimu mu KCCA bamwongera amaanyi okuddukanaya emirimu mu kibuga nga…
Omukyala agambibwa okukakakibwa omukwano emirundi egiweza emitwalo 43,000 akulukusizza amaziga ng’anyuma emboozi ekaabizza abawulira.
Jacinto agamba nti yawambibwa abasajja enzaalwa ze Mexico nga buli lunaku abasajja 30 beebabadde bamukozesa okumala emyaka ena
Omukyala ono agambye nti babadde bamutndikako ku ssaawa nnya nebamuvaako ku mukaaga gwa kiro ate nga buli bw’akaaba nga bamwongera bwongezi.
Ono webamuwambira ngalina emyaka 12…