Bannamateeka b’eyali ssabaminsiata w’eggwanga era eyesimbyewo ku tikiti y’omukago gwa Go-Forward Amama Mbabazi batiisizza okugenda mu kkooti nga balumiriza abamu ku bavuganya omuntu waabwe okutataganya enkungaana ze.
Bano bemulugunya ku batimbulayo ebipande by’omuntu waabwe era bakiikidde Lt.Gen Henry Tumukunde ensingo olwokutwala akanyonyi kanamunkanga mu lukungaana lwa Mbaabzi lweyakubye e Fort potal.
Kati nga bakulembeddwamu Fred Muwema bannamateeka…
Nga okusunsula abagenda okwesimbawo ku bifo ebyenjawulo mu disitulikiti kutandika olunaku olwaleero, abesimbyewo ku disitulikiti ye Mukono baagala empapula z’okuwandisibwa zivunulwe mu nnimi ennansi.
Sarah Najjuuko okuva mu gombolala ye Goma agamba kino kyakubanguyiza ebintu kubanga banji olungereza lubawa obuzibu.
Wabula akulira ebyokulonda mu disitulikiti ye Mukono Sarah Namugambe Karyowa agamba kino tekisoboka okuggyako nga ababaka ba…
Poliisi ye Nakasongola eri ku muyiggo gw’omusajja alumbye munne n’amutta nga amutebereza okumwagalira omukazi.
Geoffrey Owere owokukyalo Kyanika y’alumbye amaka ga Eddie Lugoloobi n’amutematema oluvanyuma omulambo gwe n’agutekera omuliro.
Mu kavuvungano kano n’omukyala w’omugenzi amutusizzaako ebisago ebyamanyi.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savvanah Lameck Kigozi omukazi alumiziddwa amumenye nga Mary Atto nga omutemu ye n’okutuusa kati akyalira…
File Photo: Abasawo nga bafuyira edagala okuziyiza Eboola
Mu ggwanga lya Guinea Omulwadde wa Ebola yekka abadde akyali ku ndiri naye asiibuddwa okuva mu ddwaliro mu kibuga ekikulu ekya Conakry.
Omulwadde ono azze akeberebwa enfunda eziwera okutuusa lwebamuzudde nti ddala takyalina kawuka ka Ebola.
Guinea yakulangirirwa nga ewatakyali Ebola singa tewabaawo Muntu yenna addamu kukwatibwa Ebola.
Ebola ono eyatandikira…
File Photo: Chris Mubiru nga akwalidwa e'Luzira
Okuwulira okujulira kweyali maneja wa Sports Club Villa ku kyokumusiba emyaka 10 olwobusiyazi kugudde butaka.
Kino kiddiridde bannamateeka be nga bakulembeddwamu Anthony Kawesa okutegeeza kkooti enkulu nga bwebabadde tebetegese bulungi kale nga basaanayo akadde.
Omulamuzi Rugadya Atwoki alagidde Mubiru addeyo ku mere e Luzira akomewo nga 24 batunule mu kujulira kwe.
Mubiru…
File Photo: Ababaka ba Palamenti mu lutuura
Abakozi abagabula ababaka ba palamenti ebyokulya beediimye lwakumala kumpi emyezi 8 nga tebasasulwa .
Bano basasulwa wakati w’emitwalo 200,000 ne 400,000 buli mwezi.
Bano kati baagala kampuni ya Ninats Company ebakozesa ebasasule mangu.
Omubaka w’abakozi Arinaitwe Rwakajara naye ensonga zino aziyingiddemu n’ategeeza nga bw’agenda okubayamba okufuna ssente zaabwe.
File Photo: Ababaka mu Palamenti
Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko k’ebyamateeka bakunyizza akakiiko k’ebyokulonda kebalumiriza okukolera mu nkwawa z’omukulembeze w’eggwanga.
Kino kiddiridde akakiiko k’ebyokulonda okuzzawo ennaku z’okusunsula abagenda okwesimbawo ku bwa loodi meeya oluvanyuma lw’okubisazaamu okusooka.
Ababaka okuli Abdu Katuntu ne Sam Otada bebamu ku bakunyizza ssentebe w;akakiiko k’ebyokulonda Dr. Badru Kiggundu nebategeeza nga bwebalina okubuusabuusa ku…
File Photo: Lukwago ngali mulukumwana
Loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago akyebuuza lwaki gavumenti y’asazeewo okuggya enta mu kukola ennongosereza mu mateeka ga KCCA nga bweyabadde esazeewo.
Olunaku olweggulo gavumenti y’alangiridde nga bweyayimirizza eky’okukola ennongosereza zino era nebakkiriza akakiiko k’ebyokulonda okugenda mu maaso n’okusunsula abo bonna abeesimbyewo.
Ng’ayogerako nebannamawulire, Lukwago ategezezza nga gavumenti bwesaana okunyonyola bannayuganda lwaki yabivuddemu.
Ezimu…
File Photo: Mbabazi ngali mukalulu
Waliwo obunyonyi bwa NRM obuvudde eri nebugwa mu kisaawe Amama Mbabazi w’alina okukuba olukungaana e Kabarole
Obunyonyi buno obubiri bulese abawagizi ba Mbabazi ababadde bategekera omuntu waabwe nga bawunikiridde
Bangi bagamba nti kuno kutiisatiisa bantu okubalemesa okugenda ku lukungaana lwe
Bino bizze nga bitundu ebisinga, ebipande bya Mbabazi ebyatimbidde byonna bitimbuluddwaayo newaddawo ebya pulezidenti…
Eyali maneja wa SC Villa Chris Mubiru atuuse ku kkooti enkulu okujulira ku kibonerezo ky’okusibwa emyaka 10 lwamusango gwakusiyaga mwana atanetuuka.
Mubiru asuubirwa ali mu maaso g’omulamuzi Albert Rugadya Atwoki.
Mubiru y’asibwa emyaka 10 mu September w’omwaka gino oluvnyuma lw’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Flavia Nabakooza okutegeza nti obujulizi ddala bulumiza Mubiru ku by’okuggula buutu y’omulenzi…