Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Paapa atuuse mu Africa- Keny y’esoose okumulozaako

File Photo:Uhuru nga yogeera kukukyala kya Paapa Okukyala kwa paapa mukisa eri eggwanga. Ssabasumba wa kkanisa ya Uganda Stanley Ntagali agamba nti paapa mutume wa Katonda era nga yyo kkanisa netegefu okumwaniriza. Ng’awayaamu ne bannamawulire , owek. Stanley Ntagali  agambye nti okukyaala kwa paapa kwakuyamba okunyweeza obumu mu bakkiriza. Asabye abantu okufuba okulaba nti batuuka ku kiggwa ky’abakulisitaayo ku…

Read More

Babaano abagenda okuwenjeza Museveni akalulu

File Photo:Abakulira ekibiina kya Nrm ngabogeera Ab’ekibiina kya NRM nabo tebatudde butuuzi. Bano batongozza ekibinja ky’abagenda okusaggula akalulu mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu. Ekibinja kino kikulembeddwamu amyuka ssentebe w’ekibiina kino  Alhajji Moses Kigongo nga kati wakugenda nga asaggulira pulezidenti Museveni akalulu. Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM  Lumumba Kasule ategezezza nga ekibinja ky’ebyamawulire bwekigenda okukulemberwamu omubaka w’ensonga za East Africa Sitenda…

Read More

Eby’entambula byakukyankalana

File Photo: Dr Steven Kasiima nga yogeerako na bamawulire Eby’entambula  byakutataganamu ku nguudo paapa n’abagenyi abayite gyabanayita. Kino kibikuddwa akulira poliisi y’ebidduka  mu ggwanga  Dr Steven Kasiima bw’abadde ayogerako nebannamawulire Kasiima agambye oluguudo lw’ Entebbe Paapa gy’agenda okuyita lwakuggalwa okuva ku ssaawa 10 okutuukira ddala ku ssaawa 4 ez’ekiro paapa atambule bulungi. Ne ku ssande oluguudo lwelumu lwakuggalwa okuva…

Read More

Omusaabaze afiiridde mu Taxi

File Photo: Taxi nga esabaaza abantu Entiisa ebutikidde abasaabaze ababadde bava e Jinja  okudda e Kampala bwe bakizudde nti munabwe mu mmotoka abadde yafudde dda. Omugenzi ategerekese nga Joseph Ssegendo atemera mu myaka 25 omutuuze ku biziga bye Ddolwe. Akulira okunonyerezza ku misango ku poliisi e Mukono Henery Ayebare ategezezza nti  okuzuula omugezi nti affudde, kodakita amaze kutuuka…

Read More

Abakima endagamuntu bakaaba

File Photo: Abantu nga bewandiisa okufuna endagga muntu Abantu abajjayo endaga muntu zaabwe e Mukono bavudde mu mbeera olwobutafibwako. Bano bataamye nga bemulugunya nti bwebajja basiibawo enjala nebaluma, bava wala atenga endaga muntu tebazibawadde olwobusonga obutaliimu. Tusobodde okwogerako nabamu nebawera nga bwebolekedde obutetaba mu kulonda okujja. Wabula ye atwala ebyokulonda nokugaba endaga muntu e Mukono Sarah Namugambe tasobose kufunika.

Read More

Mbabazi yegaanye okulya ensimbi z’engulu

Eyali ssabaminisita w’eggwanga era eyesimbyewo wansi w’ekisinde kya Go-Forward  Amama Mbabazi yeganye eby’okwemolera ku nsimbi ezaali ez’okubudabuda abakosebwa olutalo mu bukiika kkono bw’eggwanga.   Mbabazi agambye tekwatanga ku nsimbi zino kubanga etteeka teriwa minisita yenna nga ne ssabaminisita mwomutwalidde buyinza kukwasaganya nsimbi zino.   Nga ayogerako nebannamawulire e Gulu, Mbabazi ategezezza nti yadde nga ensimbi zino zabulankanyizibwa mu ofiisi…

Read More

KCCA ereese ebitaala bya paapa

Ekitongole kya Kampala capital city authority  kiyungudde abakozi  640 okuteeka ebitaala ku nguudo ez’enjawulo mu kwetegekera amakyala ga paapa ku lunaku olwokutaano. Akitongole kino kyapatanye kampuni y’ebyamasanyalaze eya Phillips okuleeta ebitaala bya Solar 750 nga era byakutekebwa ku nguudo okuli  Nile Avenue, Jinja road,kumpi n’ekiggwa ky’abajulizi e Munyonyo n’ewalala. Nga ayogerako nebannamawulire , akulira abakozi mu KCCA…

Read More

Paapa asimbudde- Entebbe ssiwakuggalwa

Paapa Francis asimbudde okuva ku kisaawe ky’enyonyi e Fiumicino e Vatican nga kati ayolekedde Kibuga Nairobi mu ggwanga lya Kenya. Paapa wakumala essaawa 7 mu bbanga nga era wakutukira ku kisaawe ky’enyonyi ekya Jomo Kenyatta International Airport, ku ssawa nga 11 ez’olweggulo. Paapa awerekeddwako abantu abasoba mu 100. Okusinziira ku bubaka bweyakawereza eri ssemazinga wa Africa, Paapa y’ategezezza…

Read More

Abe Masaka bafunye ebyuma

File Photo: Edwaliro lye Masaka Omu ku besimbyeewo ku bukiise bw’omubaka omukyala e Masaka awaddeyo ebikozesebwa mu malwaliro 2 nga bibalirirwamu obukadde 500.. Mary Babirye Kabanda nga era mukiise mu lukiiko okuva e Buddu y’awaddeyo ebikozesebwa eri eddwaliro lya Butende Health Center iiine  Sunga health center iii gonna nga gali mu gombolola ye mukungwe . Ebimu ku byuma…

Read More

Abagaala okulaba paapa basuleyo- E Kenya lunaku lukulu

Abakulisitu abaagala okulaba ku paapa basabiddwa okugenda basule ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo ku lwokutaano nga 27 basobola okulaba ku mulangira w’ekeleziya obulungi enkeera ku lwomukaaga. Bwana Mukulu w’ekigo ky’e Namugongo  Vicent Lubega wabula akubirizza bonna abagenda e Namugongo okwesibira entanda nga emmere nebyokwebikka kubanga tewagenda kubeera byakulya munda mu kiggwa. Abo abatasobole kusulayo basabiddwa okukeera enyo…

Read More