Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Anywar alumbye aba FDC- Mumboola

Omubaka omukyala ow’e Kitgum Beatrice Anywar alumbye olukungaana lw’ekibiina kya FDC nga ayagala ssenkaggale w’ekibiina kya FDC amubulire lwaki ekibiina kyamusulawo.   Anywar kati ayagala kuvuganya ku kifo ky’omukiise omujuvu owa disitulikiti ye Kitguma.   Kino kiddiridde eyali akulira abayizi ku sstendekero w’e Makerere  Denis Onekalit okuweebwa tikiti y’ekibiina okuvuganya ku kifo kyekimu. Annywa  yemulugunya nti abakulembeze ba FDC kati…

Read More

Emotoka ekoonye omuyizi n’afiirawo

Entiisa ebutikidde abatuuze mu tawuni ya kalungu oluvanyuma lw’emmotoka etanategerekeka okutomera omwana ow’emyaka 4 n’emutta yo n’ebulawo.   Omugenzi ategerekese nga  Ritah Namigadde muwala wa  Charles Ssenabulya omuyizi ku ssomero lya  Bright Light Nursery school Kalungu .   Omwana ono abadde abeera ne jajjawe  Base Namwanjenga era emmotoka emukubye asala luguudo.     Aduumira poliisi y’ebidduka e Masaka  James Tebaijuka akakasizza akabenje…

Read More

Akakiiko akalondesa katabukidde bannakyeewa

AKakiiko k’ebyokulonda kaweze okusazamu obumu ku bubaka bw’ebibiina by’obwanakyewa obuli ku mikutu gy’amawulire obukunga bannayuganda ku  kulonda okwamazima n’obwenkanya.   Ssentebe w’akakiiko kano  Eng Badiru Kiggundu agamba obubaka obumu nga obw’ekibiina kya CEDU obwa TOPOWA bwebuwuddiisa bannayuganda ku nsonga z’ebyokulonda.   Eng Kiggundu agamba obubaka buno bulaga nti ebimu ku bibiina bino byeyingiza buterevu mu by’obufuzi by’eggwanga ekimenya ssemateeka…

Read More

Poliisi eyimirizza Lukwago

  Poliisi yekyusirizza mu kiti nga embazzi negaana loodi meeya Erias Lukwgo okugenda mu maaso n’olukungaana lwe olutongoza kampeyini ze mu katale ke Nakasero.   Poliisi yasooka kukkiriza Lukwago okukuba olukungaana luno wabula kati omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango ategezezza nga olukungaana lwa Lukwago bwelugya okutataganya emirimu mu kibuga wakati.   Onyango agamba Lukwago kati anonye ekifo…

Read More

Mubeere bagumikiriza- Paapa

File Photo: Papa nga engibwa emugwa ku mukoono Paapa Francis asabye abakkiriza okubanga abagumikiriza wakati mu buzibu n’okunyigirizibwa byebayitamu. Bw’abadde akulembeddemu missa e Namugongo ku kiggwa ky’abakatuliki ,paapa ategezezza nti mu kadde kano ensi ejaguza kubanga waliwo abeewaayo olw’eddiini n’okukiriza kwaabwe kale nga n’abantu mu bulamu bwa bulijjo balina okuyiga okwewaayo. Paapa asizza abantu essanyu bw’abagaaalizza omukisa mu…

Read More

21 bafudde bbomu

File Photo: Abalwanyi ba Boko Haraam Abantu 21 beebafiiride mu bulumbaganyi obukoleddwa bannalukalala ku muzikiti gw’aba Shia mu ssaza kye Kano munda mu ggwanga erya Nigeria. Abeerabiddeko n’agaabwe bategezezza nti lumira myoyo yebwatuliddeko bbomu wakati mu kibinja ky’abantu. Bino bibadde ku kaalo Dakasoye ekyesudde mayiro 13 mu bukiikaddyo bw’ekibuga Kano.

Read More

Paapa ali Uganda

File Photo: Enyonyi eyareese papa mu Uganda Paapa Francis wetwogerera nga mutaka mu Uganda. Paapa atonnye ku kisaawe Entebbe ku ssaawa kkumi n’emu n’eddakiika munaana ng’ajjidde mu nyonyi y’obwa paapa emanyiddwa nga Italia. Ayaniriziddwa pulezidenti Museveni ne mukyala we era ng’enyimba okuli olw’eggwanga n’olwa amawanga ga East Africa zikubiddwa. Zino ziyimbiddwa nga n’emizira 21 bwegigenda mu maaso n’okukubwa amaggye…

Read More

Bungereza yakulumba IS

Katikkiro wa Bungereza David Cameron agamba nti okulumbagana bannalukalala ba IS mu ggwanga lya Syria kyakwongera okunyweeza eby’okwerinda. Ono asanguddewo okutya okubaddewo nti okulumba bano kiyinza kuvaamu bizibu byereere eri Bungereza n’amawanga amalala. Cameroun agamba nti nebwebatalumba ba IS era batandika dda okubalumba. Bungereza egamba nti ekwatagana ne Bufaransa ku kino era nga tegenda kuddamu kwebuuza

Read More