File Photo: Joseph Mabirizi nga jeeyo foomu
Eyesimbyewo ku bwa pulezidenti Joseph Mabirizi eby’okukuba olukungaana mu Kabuga ke Pallisa abivuddeko nga yekwasa enkuba.
Mabirizi ekibuga akiyingidde kawolawola nga n’abawagizi be bamwekanze atuuse.
Kati guno mulundi gwakubiri nga Mabiriizi asazaamu enkungaana nga yekwaasa ensonga ezitali zimu nga negyebuvuddeko y’asazaamu olwe Butalejja ne Kibuku.
Mabirizi avudde mu mmotoka neyeggana enkuba ku…
File Photo: Omuzinyi wa Sitya loss Ali kukitanda
Akawala ka Patricia Nabakooza, akaazinira mu luyimba lwa Sitya Loss kazze kakuba ku matu.
Kano kabadde wamu ne munne waako bwebazina Alex Ssempijja nga yye yafiiridde olunaku lwajjo.
Twogeddeko n’omuyimbi Eddy Kenzo n’atutegeeza nti abasawo bakakasizza nti Patricia kati atunula era ng’eddagala limukozeeko bulungi mu ddwaliro lya Case medical gy’ali.
Kinajjukirwa…
Dr. Kizza Besigye ne Kampala Lord Mayor Erias Lukwago nga baali mu kaguuli
Kkooti ya ssemateeka egobye omusango ogwawaabwa munnakatemba Mulindwa Muwonge ng’awakanya okulondebwa kwa loodimeeya mu Kampala.
Kinajjukirwa nti Mulindwa ono ng’ayita mu bannamateeka aba KM Advocates yaddukira mu kkooti eno ng’ayagala eyimirize akakiiko k’eby’okulonda okusunsulamu abagenda okuvuganya ku bwa loodimeeya.
Ono yali agamba nti okulondebwa kwa…
File photo:Kabaka ne Nabagereka nga baali ne Papa Francis
Obwakabaka bwa Buganda buvuddeyo nebutangaaza ku nsonga eyaviiridde ssabasajja kabaka okusisinkana paapa bweyabade agenyiwaddeko wano mu ggwanga.
Bwabade ayogereera ku masiro e Kasubi gyali kaakano, Katikkiro wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga agambye Buganda nsaale mu kuleeta eddiini mu Uganda.
Katikkiro agambye nti abamanyi ebyafaayo tebasobola kwawuula Buganda na…
File Photo:Besigye nga alonda
Akakiiko akalondesa mu ggwanga kakasizza nti abantu abaweza obukadde 15 beebagenda okwetaba mu kalulu ka 2016
Akulira akakiiko akalondesa Eng Badiru Kiggundu agamba nti bano beebokka abali ku lukalala lw’abalonzi.
Eng Kiggundu agamba nti bamalirizza ku lukalala olugenda okukozesebwa era nga bakuluwanika akadde konna.
Olukalala oluyisiddwaamu lumaze okuweebwa ebibiina by’obufuzi.
File Photo: Lukwago ngali mulukumwana
Poliisi mu Kampala erinnye eggere mu Lukiiko olutegekeddwa loodimeeya wa Kampala Erias Lukwago.
Lukwho olukungaana lwe olusooka abadde wakulukuba mu katale e Nakasero kyokka nga poliisi ku ssaawa envanyuma etegeezezza nti olukungana luno lusobola okutataganya emirembe.
Kino nno kirese abawagizi be nga bawanda muliro nga bbo tebalaba nsonga lwaki omuntu waaaaaabwe bamugaanye.
File Photo:Papa ngava mu Nyonyi
Paapa Francis akunze abantu mu ggwanga lya Central African Republic okulekera awo okulwana nga bekwasa eddiini
Paapa agambye nti tewali njawulo wakati wa bayisiraamu n’abakirisitu nga bonna baluganda.
Paapa ayogerako eri abakirisitu mu kibuga Bangui nga bano baddukira mu muzikiti olw’okuyiggibwa abakirisitu.
Mu kukyala kwa paapa kwonna,olugendo lwe mu Central African Republic lwelubadde lusinga…
File Photo: Ekizimbe kye tendekeero lya Makerere
Ab’ettendekero ekkulu erye Makerere baliko abayizi abali mu 1000 beebalemesezza okutuula ebigezo ebifundikira olusoma lwabutasasula bisale.
Omwogezi w’ettendekero lino Ritah Namisango agambye nti abayizi bano babanjibwa obuwumbi 12 abatannasasula bukyanga lusoma lutandika mu gw’omunaana.
Namisango agambye nti buli bayizi lwebatasasula kikosa entambuza y’emirimu olwo ate abakozi abalala nebekalakaasa.
Amyuka ssenkulu w’ettendekero lino…
File Photo: Papa nga engibwa emugwa ku mukoono
Abantu abanjawulo bakunganidde mu muzikiti omukulu mu kibuga Bangui mu ggwanga lya Central African Republic okwaniriza Paapa Francis.
Paapa y’ategezezza nga bweyabadde tayinza kuva mu ggwanga lino nga tabuuzizza ku bayisiramu abayigibwa banaabwe abakatuliki mu lutalo lw’eddiini olukwajja munda mu ggwanga lino.
Abayisiramu abasoba mu mitwalo 12 badduka mu kibuga…
File Photo: Kooti Enkulu eya Uganda
Eyali ssentebe w’ekibiina akigatta abasawo mu ggwanga Apollo Dalton Nyangasi awonye okufiira mu kkomera oluvanyuma lwa kkooti ejulirwaamu okumusalira ku kibonerezo ky’okusibwa amayisa nga kati wakusibwa emyaka 25.
Kkooti enkulu y’ali emusibye mayisa olw’okusingisibwa omusango gw’okutta mukyalawe Christine Dambio nga 24 July 2010.
Obujulizi bw’alaga nga Nyagasi bweyatuga mukyalawe nga bakayanira eby’obugagga…