File Photo :Ruhindi Smiles
omubaka w’e gombolola ye Nakawa era ssabawolereza wa gavumenti Fred Ruhindi yesamudde ebyokubeera emabega w’okuleeta etteeka lyabakansala okulondera abantu loodi meeya wa kampala.
Etteeka lino lyaletebwa nga ezimu ku nongosereza mu mateeka agafuga ekibuga Kampala wabula oluvanyuma gavumenti neyetema engalike nebabivako.
Ruhindi agamba tebilinamu Mukono.
File Phot :Besigye nga yogeerako eri abawagizi be
Ssentebe w’ekibiina kya DP mu bitundu bya Buganda Betty Nambooze alangiridde mu lwatu nga bw’awagira Besigye ku besimbyewo ku bwapulezidenti.
Nambooze bazze bamukolokota okuwagira Mbabazi neyelabira munwanyi we Besigye eyamutwala nemuddwaliro e Nairobi okujanjabibwa.
Mu lukungaana lweyakubye mu paaka e Mukono, Nambooze agamba yali tasobola kukayanira mu lwatu ne ssenkaggale…
File Photo: Katongole Singh nga buuza ku bantu
Ab’ekibiina kya NRM bikyabasobedde ku ani owokuwagira mu Rubaga North.
Kino kiddiridde akakiiko k’ebyokulonda okugoba Singh Katongole okwesimbawo lwa munne Brian Tindyebwa okumuwawabira nti ebitabo bye tebiwera nebamusuuza akamyufu ka NRM.
Kati ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ka NRM Tanga Odoi tikiti y’agikwasizza dda Brian Tindyebwa eyasunsuddwa olunaku lw’eggulo nga ye ssabawandiisi…
File Photo: Mbabazi nga e Mbale
Omuntu omu awanuse ku loole waggulu gy’abadde ng’awerekera omuntu we okwuandiisibwa
Omusajja ono kigambibwa okuba ng’abadde atamidde era nga bw’avudde waggulu ate emotoka n’emilinnya ekigere ekimulese mu mbeera embi ddala
Abadde aweerekera meeya we Nansanga Wakayima ng’ono kati ayagala kukiikirira ba municipaali ye Nansana mu palamenti.
Ne kayunga waliwo omusajja omulala awanuse ku…
File Photo: Sekandi nga kuba mungalo
Amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi awandiisiddwa okuvuganya ku kifo kya Bukoto Central.
N’eyali akulira abamuyiggira akalulu John Paul Migadde naye awandiisiddwa okumuvuganya.
Paul Migadde nga ye ssentebe wa NRM e Kyannamukaaka yesimbyeewo ku lulwe era ng’agamba nti omuntu we amumazeemu amaanyi kubanga takola ku bintu byebasuubiza.
Ono agambye yasalawo okujja yekka kubanga…
File Photo: Minisita Nantaba
EKayunga, abantu basatu beebawandiisiddwa okukiikirira ebifo ebitali bimu mu palamenti.
Asoose okwewandiisibwa ye Mubaka we Ntenjeru ey’obukiikaddyo Patrick Nsanja owa NRM wabula nga negweyawangula mu kamyufu Fred Baseke naye awandiisiddwa.
Omulala awandiisiddwa ye George Wilson Nsamba Kumama,ng’ono yayitamu okukwatira NRM bendera oluvannyuma lw’okuwangula minisita w’abakadde Sulaiman Madaada mu Kamyufu
Wabula ku kifo ky’omubaka omukyala owa…
File Photo: Nambooze nga buuka omuziziko gwa Police
E Mukono, abagaala okukiika mu palamenti abasoba 20 beebawandiisiddwa nga muno mwemubadde n’abawagulwa mu kamyufu ka DP ne NRM.
Ku bano kuliko Peter Bakaluba Mukasa, Francis Lukooya Mukoome, Betty Nambooze, Abdallah Kiwanuka minisita Ronald Kibuule n’abalala.
Ng’ayogerako eri bannamauwlire oluvanyuma lw’okukakasibwa, omubaka wa municipaali Betty Nambooze Bakireke yemulugunyizza ku bavubuka…
File Photo: Mbabazi ngali mukalulu
Abesimbyewo ku bukiise bwa palamenti mu bitundu bye Wakiso balabuddwa obutageza kugabula mwenge buli webakuba enkungaana.
Okulabula kuno kukoleddwa akulira eby’okulonda mu disitulikiti ye Wakiso Hajat Sarah Bukirwa.
Bukirwa ategeezezza nti bagezezzaako okulaba nga bamalawo eby’okugulirira abalonzi kale nga n’okugulira abantu omwenge nakyo bakitunuulidde ku luno.
Ono era aweze okusazaamu abo bonna abametta banaabwe…
File Photo: Lukwago ne bakansala ngabali mu office
Loodimeeya Erias Lukwago awandiikidde akakiiko akalondesa ku nsonga y’enkiiko ze ezizze zirinyibwaamu eggere.
Kino kizze oluvanyuma lwa poliisi okuyimiriza olukiiko lwe olwabadde lulina okubeera mu katale e Nakasero.
Lukwago agambye nti ekikolwa kya poliisi kyagendereddwaamu kumulemesa era nga tajja kutuuka
Ayagala poliisi enyonyole lwaki yamwefuulidde ku ssaawa enyanvuma.
File Photo: Nsereko ngava okwe wandiisa omu kulonda okwagwa
Abantu abasoba mu 32 beebawandiisiddwa okuvuganya okukiika mu palamenti okuva mu kibuga Kampala.
Bano bavudde mu divizoni ettaano ezikola Kampala ku mikolo egibadde ku kibangirizi kya bannamakolero e Lugogo.
Akulembeddemu okuwandiisa abesimbyeewo Charles Ntege agambye okuwandiisa tekubaddeemu buzibu bwonna era nga basuubira nti kwakuggwa bulungi.
Mu bawandiisiddwa olwaleero ye Mubaka…