Akakiiko akalondesa kagaanye okuwandiisa akulira ekibiina kya DP Norbert Mao.
Ono erinnya lye terisangiddwa ku lukalala lw’abalonzi ate nga kino kyekimu ku bisanyizo.
Mao abadde atambulira ku lukalala olubadde lukozesebwa okuva mu mwaka gwa 1996 kyokka nga luno lwaggaako.
Mao ategeezezza nti webakolera olukalala olupya nga mulwadde era nga teyasobola kuwandiisibwa bupya.
Mao agambye nti wabula tatidde kubanga akimanyi…
Eggaali y’omukka esabaaza abantu yakutandika okukola ku bbalaza ya ssabbiiti ejja
Aba kkampuni y’eggaali y’omukka ekya Uganda Railway corporation kko ne KCCA beebalangiridde bino.
Akulira kkampuni eno Charles Kateeba agambye nti buli lunaku eggaali eno yakusabaza abantu emirundi ena ng’esooka yakusimbula ssaawa 6.30 ku makya, etuuke e Kampala ku ssaawa emu kitundu.
Olw’eggulo eggaali yakusimbula ku ssaawa kkumi…
File Photo: bana kibiina kya FDC ngali mu tabamiruka
Ensonga z’ani anakwata bendera y’ekibiina kya FDC ku kifo kya meeya we Lubaga zigenze mu kkooti.
Kiddiridde ekibiina okuwandiisa Joyce Nabbosa Ssebugwaawo ng’akuttte bendera y’ekibiina awatali kamyufu.
Aloopye ekibiina yeeyali amyuka akyogerera John Kikonyogo
Kikonyogo agamba nti yalinda akamyufu k’ekibiina nga teri kivaayo ate nga n’obudde buweddeko.
Kino kizze ng’akakiiko akalondesa…
File Photo: Tamale Mirundi nga yogeera ku simu
Akakiiko akafuga ebigenda ku mpewo kayimirizza munnamawulire wa gavumenti Tamale Mirundi okuddamu okwogerera ku mikutu gy’amawulire
Ebbaluwa evudde mu kakiiko kano eraga nti Tamale Mirundi ayitirizza okulumba abantu ng’akozesa emikutu gy’amawulire nga tebaggya kumukkiriza kusigala ng’akikola
Akulira akakiiko kano Godfrey Mutabaazi agamba nti Tamale tajja kudda ku mpewo okutuuka nga…
File Photo:Aba boda boda nga bali ku pikipiki zabwe
Waliwo abazigu abatanaba kutegereka abakkakkanye ku wa Bodaboda nebamukuba amasasi agamutiddewo.
Omugenzi ategerekese nga yye John Kabanda, ng’ono abazigu babadde bagezaako okumunyagako bodaboda, wabula bw’agezezzaako okugaana nebamukuba amasasi agamutiddewo.
Ayogerera poliisi mu kitundu kino Lamecka Kigozi atubuulidde nti bano poliisi etandise okubayigga, wabula nga mpaawo yaakwatidwa.
File Photo: Lukwago nga yogeera ko eri abamawulire
Eyesimbyeewo ku bwa loodimeeya ku lwa DP Isa Kikungwe agamba nti etteeka erifuga ekibuga teririiko mutawaana ng’abantu balina kulitegeera butegeezi.
Kikungwe bino abyogedde asisinkanye banna DP e Nateete ng’ayigga akalulu.
Kikungwe agambye nti etteeka lino lirambulukufu ku mulimu gwa buli omu kale nga buli omu alina kukola gugwe okwewala okulwana
Ono…
File photo: Ababaka ba Palimenti
Akakiiko akalondesa kongezezzaayo okuwandiisa abakiise b’ebibinja ebitali bimu mu palamenti.
Kiddiridde kkooti gyebuvuddeko okusaba nti wasooke kubaawo kulambika ku nonda ya bano .
Aboogerwaako kuliko abakiise b’abavubuka, abakozi, n’abakiikirira amaggye mu palamenti.
Akulira akakiiko akalondesa Eng Badru Kiggundu agambye nti tebagenda kuwandiisa bantu bano nga bawandiisa abalala abagaala okukiika mu palamenti okutuuka ng’ensonga eno…
File Photo: Kooti Enkulu eya Uganda
Kkooti etaputa ssemateeka egaanye eky’okuyimiriza okuwandiisa ababaka ku nsonga y’ensimbi ezisabwa abesimbyeewo.
Ensimbi zino zawanikibwa palamenti gyebuvuddeko okuva ku shs emitwalo 20 okudda ku bukadde busatu.
Omulamuzi Remmy Kasule agambye nti kino kibadde kyakosa okulonda kwonna ne kampeyini.
Ono agambye nti abesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga baatandika dda kampeyini zaabwe kale nga kiba kikyaamu…
Abantu babiri bafiiridde mu kabenje akeetabiddwaamu baasi bbiri ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu.
Akabenje keetabiddwaamu baasi namba UAP-594U eya Poster Uganda ebadde egenda e Gulu n’endala eya Baby coach ebadde edda e Kampala.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savannah Lameck Kigozi agambye nti abantu abalala 15 bafunye ebisago nga baddusiddwa mu malwaliro okufuna…
Nga Uganda yegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lwa mukenenya, katikkiro wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga asabye abavubuka okwerinda ennyo.
Katikkiro agamba nti kyannaku okulaba nti kati siriimu ate azze mu bavubuka abasomyeeko amanyi buli kimu ‘engeri y’okumwewalamu.
Agamba nti Buganda yakusigala ng’alabula abavubuka ne bannayuganda bonna ku mukenenya kubanga ssabassajja kabaka yetaaga balamu
Abazadde balumbiddwa obutakola…