Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Besigye e Mukono, Nambooze bamungoodde, Mbabazi ayagala nkyukakyuka

Akutte bendera y’ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye asabye abantu obutakoma kulonda wabula bakuume akalulu okutuuka nga kalangiriddwa Besigye abadde atalaaga disitulikiti ye Mukono. Besigye yegattiddwaako omubaka w’ekitundu Betty Nambooze, Erias Lukwago, Ibrahim Semuju Nganda, John Ken Lukyamuzi n’abalala. Wabula Nambooze basoose kumugaana kwetaba mu Lukiiko luno nga bamulanga butawagira Dr Kiiza Ono anunuddwa omubaka Ssemuju Nganda ne Ingrid…

Read More

Ssebuufu akomyewo mu kkooti

Omusuubuzi omukukutivu ow’emotoka mu Kampala Muhammad Ssebufu addiziddwaayo ku meere e Luzira. Ssebuufu aleteddwa mu kkooti okutegeera omusango gwe wegutuuse naye nga ali mu mbeera mbi nnyo ddala era nga aleeteddwa mu mikono nga banne bamuwaniriridde. Omu ku ba makomera atayatuukirizza manya ge ategezezza kkooti nti Ssebuufu yakubiddwa puleesa. Omulamuzi omusango ogwongezezayo okutuusa nga December 9th 2015, oluvanyuma…

Read More

Yettidde e Mulago

Waliwo omusajja eyettidde ku ddwaliro ekkulu e Mulago Ono abuuse okuva ku mwaliiro gw’okuna n’agwa wansi era tazzeemu. Omusajja ono atannaba kutegerekeka mannya kigambibwa okuba nti yatwalibwa kabangali ya poliisi ku ddwaliro e Mulago oluvanyuma lw’okutaasibwaku bantu abamugwaako ekiyiifuyiiifu nebamukuba . Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago Enoch Kusaasira ategeezezza nti kituufu omusajja ono yesse kyokka nga tagasseeko birala. Omulambo gwe…

Read More

Paapa y’ali ku mimwa

Abakirisitu mu Uganda bakyagenda mu maaso n’okwesunga paapa nga n’ababaka mu palamenti mw’obatwalidde Omubaka we Isingiro mu bukiikaddyo Alex Byarugaba agamba nti okukyaaza paapa Kintu kya maanyi nnyo kubanga ajja n’emikisa. Ono agamba nti ebimu by’ayagala paapa ayogereko gy’emirembe n’okukuuma obutonde. Paapa wakutuuka mu ggwanga olunaku lw’enkya ku bugenyi obugenda okumala ennaku ssatu. Nga bano besunga paapa, bbo aba…

Read More

Mubunyise enjiri ku siriimu

File Photo: Aba uganda Cares nga baziina Bannayuganda bulijjo bakubiriziddwa okubunyisa enjiri y’okulwanyisa siriimu mu ggwanga. Obubaka buno buwereddwa ab’ekibiiina ekilwanyisa mukenenya ekya Uganda Cares nga bali wamu ne dembe FM mu kawefube gwebaliko okulonda abatontomi abanywedde mu banaabwe akendo mu kuyiiya ebitontome ebirimu obubaka bw’okulwanyisa mukeneneya. Omu ku bakulira ekibiina kino Alice Kayongo ategezezza nga bwebagala okulaba…

Read More

Bwanika alumbye gavumenti ku Luweero

File Photo: Abed Bwanika owa PDP ngali mukalulu Ssenkaggale w’ekibiina kya Peoples’ Progressive Party Dr. Abed Bwanika alumirizza gavumenti ya NRM okukuumira abantu be Luweero mu bwavu obutagambika nga babasuubiza ebyoya bw’enswa mu myaka 3o gyebakamala mu buyinza. Bwanika bino yabyogeredde mu nkungaana zeyakubye e Nakaseke ne Luwero n’ategeeza nti kyekiseera bannaluweero okukyusa mu gavumenti okusobola okufuna…

Read More

Abantu bandaze omukwano- Besigye

File Phot :Besigye nga yogeerako eri abawagizi be Akwatidde ekibiina kya FDC bendera  Dr. Kiiza Besigye  ategezezza nga bw’alina essaala emu eri paapa ayogereko ne pulezidenti Museveni aweeyo obuyinza mu mirembe. Nga ayogerako nebannamawulire mu makage e Kasangati, Besigye ategezezza nga okukyala kwa paapa bweguli omukisa ogw’enjawulo eri bannayuganda naddala mu biseera bino eby’okunonya akalulu.   Mungeri yeemu  Dr.…

Read More

OKukyala kwa Paapa kwakutumbula obuwanguzi- Museveni

File Photo: Papa nga engibwa emugwa ku mukoono omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ategezezza nga okukyala kwa paapa bwekugenda okutumbula enyo eby’obulambuzi mu ggwanga. Nga ayogerera mu lukungaana lwabannamawulire olwaleero, pulezidenti Museveno ategezezza nga okukyala kwa paapa kuno bwekutunze nyo Uganda eri bamusiga nsimbi bangi kale nga bakweyiwa mu ggwanga okuleetawo enkulakulana. Pulezidenti Museveni wakusooka okuyimiriza kampeyini ze…

Read More

Mwe mulina okukyuusa ebintu- Paapa eri abavubuka

Paapa Francis akubirizza abavubuka okugoberera obuwangwa bwabwe wamu n’okussa ekitiibwa mu kgambo kya mukama okuleetawo embeera ennungi mu bitundu byabwe. Nga akulembeddemu ekitambiro ky’emisa amakya galeero mu ggwanga lya Kenya, paapa ategezezza nga abantu be Kenya bwebasanye okwesunako olw’obulamu obulungi bwebalina mu famile zaabwe. Paapa agambye ekitundu kyonna okubeera obulungi kitandikira ku famile eenungi kale amaka gasanye…

Read More

Teri kukomola bakyala mu mbugo

File Photo:Omukulembeze wa Gambia nga yogeera Omukulembeze w’eggwanga lya Gambia aweze omuze gw’okukomola abakyala mu mbugo. Abakyala abasukka mu kimu kya kubiri naddala abayisiraamu baali bakomolwa dda mu mbugo nga na bangi boolekedde akaso Ekikolwa kino kiruma nnyo era nga kivuddeko abakyala bangi okufuna siriimu, tetanus n’obulwadde bwa Hepatitis B ne C

Read More