Bya Abubaker Kirunda
Mu distrct ye Kaliro mu gombolola ye Nawaikoke mu kabuga ke Nawaikoke abatuuze bavude mu mbeera nebatta omusajja gwebatebereza okubeera omubbi.
Attidwa tanategerekeka manya ge, ngono yoomu ku basajja 4 ababade bayigibwa olw’okubba obukadde 13 okuva mu kabuga ke Irundu mu district ye Buyende.
Ayogerera police mu Busoga North Michael Kasadha agambye nti ono yabadde…
Bya Steven Mbidde
Waliwo ekibinja kyabavubuka banna-FDC abagumbye ku police ye Nagalama, nga bagenzeeyo okubanja police mu bwangu ddala eyimbule abantu baabwe okuli Dr Kiiza Besigye, Ingrid Tulinawe, ne Patrick Amuriat, bebaggalira.
Bano bagamba nti abantu baabwe bano baggalidwa e Nagalama okusuka esaawa 48 ezirambikibwa mu mateeka, nga baagala bayimbulwe mu bwangu.
Bya shamim Nateebwa.
Waliwo omusawo akwatidwa, nga alangibwa gw’akukyusa bivadde mu musaayi kavuna asasulwa.
Omusawo akwatiddwa ye Ritah Nagadya omusawo mu dwaaliro ly'obwananyini e Kalagala mu Mpigi town council.
Ono okukwatibwa kidiridde Dr. Dan Byakatonda okuva mu kitongole kya Human Immune Termination Technology okwefuula omulwadde wa siriimu n'amusaba amuyambe amuwandiikire ebbaluwa eraga nti mulamu era n'amuwa emitwalo ebiri…
Bya samuel ssebuliba.
Mu Kenya agavaayo galaga nga munna mukago gwa NASA Raila Odinga bwakalade n’asaba abalonzi bonna obutageza kwetaba mukulonda kuno okusemberedde, wabula bekalakaase okuva enkya okutuusa ku lw’oksatu
Odinga agamba nti waliwo obululu obw’akubiddwa wabula nga buno bwebugenda okukozesebwa Uhuru Kenyatta okubba.
Kati Odinga agamba nti tewabaawo akeera okugenda okulonda, kubanga buli kimu ekibiina kya Jubilee…
Bya Ben Jumbe.
Olunaku olwaleero akakiiko k’eby’okulonda mu gwanga lwekatandika okutendeka abantu abagenda okukola ogw’okulondesa , banna- uganda bwebanaaba balonda ba ssentebe b’ebyalo omwezi ogujja.
Okusinziira kuntekateeka egenda okugobererwa ,okwetegereza abalonzi,kko n’okutereeza enkalala z’abalonzi kugenda kukolebwa sabiti eno okuva nga 26th–30th October 2017.
Twogedeko ne Jotham Talemwa nga ono yaayogerera akakiiko kano n’agamba nti banna- uganda bonna bagwana…
Bya Ruth Anderah
Agambibwa okusangibwa ng’awoganira mu bantu avunaniddwa nawebwa ekibonerezo kyakusibwa mwezi mulamba.
Semakula Arafat avunaniddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Beatrice Kainza nakiriza omusango gw’okweyisa mungeri etagasa.
Wabula oluvanyuma lw’okukiriza omusango omulamuzi amuwadde ekibonerezo kyakwebaka mu kkomera e Luzira okumala omwezi mulamba.
Kigambibwa nti Semakula ow’emyaka 26 nga October 19th 2017…
Bya Judith Atim
E Mbale poliisi ekubye amasasi mu bbanga nomukka ogubalagala, webadde egumbulula abawkanya okutigtiga mu ssemateeka, okujjawo ekkomo ku myaka gyomukulembeze.
Omusasi waffe Judith Atim, atubuliidde nti bano babadde bakulembeddwamu ssabawandiisi wekibiina kya FDC, omubaka wa Budadiri, Nandala Mafaabi okutambula mu kibuga kye Mbale.
Kitegezeddwa nti bano babadde bayitako mu bantu nga betegekera olukungaana lwabwe olwenkya.
Wabula…
Bya Ivan Ssenabulya
Ebyokwerinda bikyanywezeddwa e Makindye, oluvanyuma lwakanyolagano akaddewo nabawagizi boludda oluvuganya gavumenti, abawakanya ekyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.
Abasirikale abagumbulula okwekalakaasa bayiriddwa okulawuna wonna.
Omubaka wekitundu kino Allan Ssewanyana olwaleero abadde yategese olukungaana, okwebuuza ku bantu kubye nnongosereza mu ssemateeka nokubabulira akabi akuli mu kujjawoakwayiro 102/b mu ssemateeka akateeka ekkomo ku myaka gyomukulembeze we…
Bya Ruth Anderah
Waliwo omutuuze atutte palamenti mu mbuga zamateeka, nawabira nomukubiriza wolukiiko lwe gwanga olukulu, Rebeeca Kadaga olwokumenya amateeka agagobererwa mu kukubiriza enkiiko.
Alex Waiswa Mufumbiro nga munnamateeka era amyuka akulira ebyamawulire mu kibiina kya DP ayagala kooti eyise ekiragiro, ekigaana okubonereza ababaka 25 abasindikibwa okuva mu lutulla nga 26th September ngagamba nti kyebakola baali bakuuma…
Bya Damalie Mukhaye
Olukiiko olufuzi olwekibiina Kya FDC lusazeewo kugenda mu kooti yansi yonna kubikolobero ebikolwa police mu gwanga ku banna byabufuzi abavuganya gavumenti.
Bino byanjudwa ssabawandiisi we kibiina Kya FDC Nathan Nandala Mafabi mu lukungaana lwabanna mawulire olutudde e Najjanankumbi.
Mafabi agambye ssemateeka akirambika bulungi nti buli muntu wa ddembe okugenda mu kitundu kyonna kyayagala mu gwanga…
