Bya Damalie Mukhaye.
Ekitongole kya police ekikola ku by’empisa mu police mwenyini ekya Professional standards unit kifulumiza alipoota nga eno eraze nga abaserikale abakola mu Kampala n’emiriraano bwebakyakize okulya enguzi.
Vacent Ssekate nga ono yayogerera ekitongole kino agambye nti ku misango 1000 egy’obuli bw’enguzi eggyazulibwa ekitongole kino wakati wa January – ne June omwana guno 469 gyazzibwa…
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi e Kabale ekutte munna FDC Dr. Kiiza Besigye ne Patrick Amuriat avuganya ku bukulembeze bwekibiina, Lord Mayor wa Kampala Erias Lukwago, Ingrid Turinawe nabalal abekinywi.
Bano poliisi ebatangidde okugenda e Kabaale mu kisaawe awabadde wategekeddwa olukungaana.
Omuddumizi wa poliisi mu Kigezi, Denis Namuwooza atubuliidde nti Besigye agenda kukola statimenti ku bybaddewo olukungiri e Rukungiri…
Bya Ruth Anderah
Omubaka wa Kyadindo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu adukidde mu kooti enkulu ngawakanya ekya poliisi okuwera ebivvulu bye.
Kinajukirwa nti akawunegezi akayise police yawandiikide omubaka Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobie Wine nebamugaana okudamu okwetaba mu kivulu kyonna kubanga abikozesa okwogera eby’obufuzi.
Kati wano Kyagulanyi wasinzidde natwala police mu kooti nga agamba nti mu kukola kino mpaawo kyabamenye,…
Bya Ritah Kemigisa
Minister owebyensimbi nokutegekera egwanga Matia Kasaija alabudde aboludda oluvuganya gavumenti, ku kyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga, nagamba nti nabakiwagira balina ensonga zaabwe.
Kasaija abadde ayogera ne banamwulire nategeeza nti buli omu atekeddwa okuweebwa ekyanya, okwogera endowooza ye awatali kutisibwatisibwa.
Bino abyesigamizza ku kavuvungano akuli mu gwanga engeri gyekakaosaamu ebyenfuna.
Wano alabudde abantu babulijjo okwewala…
Bya Damalie Mukhaye
Munna FDC, Dr Kizza Besigye olwaleero akyaliddeko abantu abakoseddwa mu kanyolagano kabawagizi ba FDC ne poliisi mu district ye Rukugiru.
Okulwanagana kwabaluseewo e Rukungiri, Police bweyakubye amasasi mu bbanga okugumbulula olukungaana olwabadde lutegekeddwa nabantu nebajanukuza mayinja, omuntu omu nafiira mu kanyolagano kano.
Bwabadde ayogerako naffe, omumyuka wakulira ekiwayi kyabavubuka mu FDC Lubega Walid atubuliidde nti…
Bya Damalie Mukhaye
Gavumenti ekakasizza okubalukawo wekirwadde kya Marburg mu district ye Kween, oluvanyuma lwokwekebejja abamu ku balwadde.
Minister webyobulamu Dr. Jane Aceng ategezeza banamawulire nti baliko omukazi owemyaka 50 eyafudde oluvanyuma lwokwetaba mu kuziika kwa Muganda we eyabadde omulwadde.
Wabula akaksizza nti basindise ekibinja kyabakugu, okwekebejja nokwetegereza embeera.
Omuwendo gwabantu babiri bebakafa okuva lwebatereza ekirwadde kino nga 17th…
Bya ISAAC OTWII
Mu distrct ye Lira waliwo omuvubuka asse nyina amuzalira ddala ngamulanze kumuwa mmere ntono ku sowaani.
Kigambibwa nti omuvubuka ono Andrew Ekwang owemyaka, 22, omutuuze we Acungkene yaakubye nyina owemyaka 59 okukana nga amuse.
Jasper Ojok nga muganda womukwate agambye nti Ekwang yakomyeewo ekiro ku saawa nga 2 nasaba emmere, kyoka bweyalabye nga teemumale kwekudda…
BYA ALEX TUMUHIMBISE.
Mu district ye Kagadi ku kyalo Rwentahi waliwo omusajja atemyeko muganziwe omutwe bw’amaze naduka ku kyalo.
Attidwa etegerekese nga Beatrice Mucheshimaana.
Ojara Oneck nga ono y’aduumira police ye Kagadi agambye nti okunonyereza kwebakoze kulaze nga bano bwebafunye obutakaanya nga zekusal kubufumbo bwabwe.
Ono agamba nti omukyala yabadde yeebase mukiro, wabula omusajja bweyazukuse yakutte jambiya n’amukutemako omutwe…
Bya samuel ssebuliba.
Ababaka ba parliament za Africa abaagenda okwetaba nebanaabwe mulukungana lwa parliament yensi yonna eya inter parliament union bakaladde nebagaana okuteesa kubikwatana n’ebisiyaga.
Kino ekiteeso kibadde kireteddwa akakiiko ka parliament eno akakola ku dembe ly’obuntu, kyoka bino speaker wa parliament ya uganda , Rebecca Kadaga, olubiwulidde n’atabuka ,nagamba bakikomye oba sikyo ye nebanne abava mu…
Bya samuel ssebuliba
E Mpigi omubaka wa Mawokota South John Bosco Lubyayi ategeezeza nga bwagenda okusimbira ekuuli ekiteeso eky’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga, kubanga abantu bakiikirira kino ky’ebaamutumye.
Ono okusalawo bwati amaze kuwayaamu n’ebakansala b’amagombolola okubadde Kituntu Nkozi ne Buwama abasobye mu 70 wabula bonna nebamutegeeza nti tageza neyegatta kwabo abaagala okw’emooleraku nyingo ya 102…
