NABWERU
Bya Ruth Anderah
Abantu 12 nga kuliko nabakazi 2 bavunaniddwa mu maaso gomulamuzi wa kooti eye Nabweru, ku ttemu eriganye okukoma omufiridde abakazi 9 mu munispaali eye Nansana mu distrct eye Wakiso.
Abavunanwa basomeddwa emisango 11 okuli obutujju, obutemu, obubbi nobwa kondo.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Joan Keko lutegezezza kooti nti bno emisango bajiza wakati womwezi Ogwokutaano No’gwomunaana…
Bya Malikih Fahad
File Photo: Emundu ye kika kya AK 47
Police mu district ye Kyotera eriko emundu ekika kya AK47 gyezudde nga eno ebadde yabibwa omwezi oguwedde okuva mu munyuma yomuserikale wekitongole kyamakomera
Emundu eno egiddwa mu kisiko ku kyalo lye Lwanda e Kyotera,nga eno abaana abaabade basenya enku bebagirabye nga eno esangidwamu namasasi 30
Emundu en yabibwa…
KAMPALA
Bya Shamim Nateebwa
Abakulira omulimu gw’okusabaza abantu mu gwanga abegatiira mu kibiina kyabwe ekya KOTSA batubidde n’emigugu gya basabaze baabwe egisukka mu 2000 nga egibalirirwamu obukadde 70.
Kino kidiridde abasazze naddala abaana ba’masomero ababdde bawummula okugyirabira mu mmotooka ezenjawulo, songa nabamu ababddenga bajiwa abasituzi bemigugu ate nebebulako.
Ebimu ku byebasinga okubeera nabyo bagamba kuliko kkeesi z’e ngoye, ebitabo…
MUBENDE
Bya Magembe Ssabiiti
Abantu abaali bakolera birombe ebisimwamu Zaabu mu gombolola ye Kitumbi e Mubende balaze okutya nti wandibaawo banaabwe abazikiddwa wansi mu binya bino ebiri mu kuzikibwa mu kaseera kano.
Kinajukirwa nti abajasi ba UPDF ne Police bayibwa mu kirombe kye Lugongwe okusobola okujja abantu bona birombe nga kati omulimu gw’okuziika empuku abantu mwebabadde bajja Zaabu…
SSSEMBABULE
Bya Malikh Fahad
Ng'omuwendo gwa'bakyala abakatibwa mu district ye Wakiso gweyongedde nga baweze 19 mu banga ettono, ate e ssemambule mu gombolola ye Lugusulu waliwo omukazi attidwa omulambo negusuliibwa mu muwogo.
Attidwa ye Getrude Byakatahi omutuuze we Nyalukingi, ng'omulambo gwe guzuulidwa abaana ababade bagenda ku masomero.
Okunoonyereza kwa Police okusooka kulaze ng'omukyala ono bwey’alumbidwa batemu mu makaage nebamukuba…
Bya Yahudu Kitunzi
Abantu 4 bandiba nga babutikiddwa ettaka mu distrct ye Sironko, akawungeezi akayise nga kino kidiridde ensozi okubumbulukuka, okukakana nga zibisse abantu abatanamanyika muwendo.
Omubaka wa government mu district eno Moses Wamoto Kigai agambye nti enjega eno ebeddda ku kyalo Masaba mu gombolola ye Masaba wabulanga nakakano bakyanoonya abamu kubatuuze abakyabuze.
Ettaka lino okunyukirira kidiridde olwenkuba…
Bya Sam Ssebuliba ne Damalie Mukhaye
Omukazi omulalal atiddwa, ngomulambo gwe gusangiddwa mu kibira kye Kayiriira e Nkumba mu Katabi town council, era mu bitundu ebye Entebbe.
Ono awezezza omuwendo gwabakzi 9, abakatibwa mu kitundu ekyo nga nolunnaku lwe ggulo waliwo omulambo gwomukazi omulala ogwasangiddwa e Katabi mu Entebe.
Okusinziira ku batuuze, omugenzi ategerekese nga Julia Nalule ngomulambo…
NAMUGONGO
Bya Damalie Mukhaye
Omuntu omulalal atiddwa, nebamusuula ku luguudo lwa North by pass okulinaana Namugongo, ngono awezezza omuwendo gwabantu 19 abakatibwa mu district ye Wakiso wakati womwezi Ogw’okutaano No’gwomunaana.
Okusinziira ku musasai waffe, Damalie Mukhaye atuseeko mu kifo awabdde entiisa eno, omuganzi ngabadde musajja yasangiddwa ngakyassa ngakaaaba asaba buyambi, wabula oluvanyuma asizza ogwenkomerero.
Omugenzi abadde tanategerekeka bimukwatako.
Kati omulambo…
Bya Benjamin Jumbe
Ba Namagoye mu Uganda bongedde okusaba gavumenti okubaddukirira okulongoosa embeera gyebawangaliiramu.
Bano, bagamba betaaga ebibatangira ku musana, okuli okubatusiza ebizigo ebikuuma olususu okuva eri ebirwadde ebitali bimu nga kokolo.
Bwabadde ayogerako ne Dembe FM, ssentebbe wekibiina kya Source of the Nile Union of Persons with Albinism, Peter Ogik ategezezza nti mu kaseera kano babeerawo olwekisa…
Bya Abubaker Kirunda
Omusubuuzi mu district ye Kamuli, yewadde obutwa oluvanyuma lwo’kufiirwa obukadde bwa Uganda 6, abafere ba mobile money bwebamubbye.
Penni Isabirye owemyaka 42 ngabadde musubuzi mu Kabuga ke Wandegeya mu ggombolola ye Bugulumbya yaddusiddwa mu ddwaliro lye’Kamuli ngataawa.
Ono basoose kumusindikira aka-mesegi ku ssimu ye okuva mu bantu abatategerekese nti awangudde obukadde 8 ne mmotoka, nebamutegeeza…
