MUKONO
Bya Ivan Ssenabulya
E Mukono poliisi egamba etandise okunonyereza ku ngeri omulambo gw’omwana ateberezebwa okubeera mu myaka 7 gye gwatuuse mu kampuni ya Kampala Cement Industry esangimbwa e Namataba ku luguddo lwe Jinja.
Omulmbo guno gwasandiddwa mu bitakataka ebikolebwamu cemneti.
Akulira okunonyereza ku misango ku poliisi e Mukono
Ibra Batasi agambye nti omulambo gwomwana ono gwasagiddwa abakozi, wabulanga nabo tebamanyi…
MASAKA
Bya Gertrude Mutyaba
Omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi akyaliddeko abenganda zabantu abatemuddwa ku kyalo Kabonera okwongera okubagumya olw’ekyo eky’abatuusiddwako.
Ssekandi yenyamidde olw’ettemu erigenda mu maaso n’ategeeza nti babadde bakyalwana nakumalawo ttemu eriri e Ntebe kyokka ate ettemu nerikomawo buto e Masaka bwatyo n'asaba abantu okwekuba mu mutima baleme kutta bantu mu ngeri enkyamu.
Ssekandi ayagala poliisi esitukiremu…
Bya Sam Ssebuliba
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Bamunanika emotoka ekika kya taxi ebadde efumuka obuweewo bwekoonya omusawo abadde ku pikipki nafirawo.
Omusawo akoneddwa ategerekeseeko lya Kizito nga ono abadde mukozi ku dwaliro elya Myazi health center four.
Omu kubatuuze abeerabideko Imaculate Nalwanga atubuulide nti emotoka ekoonye ono tebasobodde kugikwata number kubanga olumaze okumukoona nedukirawo.
Gwo'mulambo gutwaliddwa mu gwanika…
MUBENDE
Bya Magembe Sabiiti
Police e Mubende ekute omuvubuka December-Julius owemyaka 30 lwa kuwamba maama we amuzaala owemyaka 67 namusobyako nga kati ali mu mbeera mbi.
Amawano gano gabadde ku kyalo Kagoma mu gombolola ye Kitenga eMubende omuvubuka ono bwanabye ensonyi ku maaso nakaka maama we amuzaala Nnamukadde Kyeyitunjiye –Daliya owemyaka 67 namukaka omukwano.
Okusinzira ku muganda wa womukwate,…
KYOTERA
Bya Malikh Fahad
Entiisa ebutikidde ku kyalo Kasasa mu district ye Kyotera abatamanya ngamba bwebase omusajja muk iro ekikeeseza olw’aleero nga tebaakomye okwo omulambo nebagusuula ku police.
Omusajja ono tanamanyika manya ge, wabula ngasangiddwa nga yattidwa mu bukambwe, omulambo.
Musa Kayongo, aduumira police ye Kyotera agambye nti mu bwangu dala bakozesezza embwa ya police era okukakana ngebatuusiza ku…
Bya Sam Ssebuliba
Poliisi mu Kampala etegezezza nga bwekutte, omuntu owenkizo ennyo ateberezebwa okutemula omukyala, omulambo ogwazulidwa e Nyanama kulwe Ntebe mu district eye Wakiso olunnaku olwe ggulo.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Emilian Kayima, omukwate ye Kato Charles owemyaka 26 nga kigambibwa yeyasse Maria Nabirawa nga bonna batuuze be Mutugga.
Okusinziira ku byakatukibwako, poliisi…
Bya Dmalie Mukhaye
Ekitongole ekye ntebereza yobudde ekya Uganda National Metrological Authority kiragudde, nate okubumbulukuka kwe ttaka mu Buvanjuba bwe gwanga nemu Bugwanjuba olwe nkuba erabise okufukumuka ngengobe mu ggulu.
Ssenkulu wekitongole kino Festus Luboyera, ategezeza nti kino kirabikiddewo olwa namutikwa wenkuba eyatandise.
Okusinga abantu abalabuddwa kuliko abawnagalira e Kabale, Rubirizi, mu nsozi Elgon nga Bududu, Sironko nawalala.
MPIGI
Bya Sam Ssebuliba
Ekifananyi Kijiddwa mu Bikadde
Abatuuze mu district ye Mpigi batabukidde abakulembeze baabwe naddala Ssentebe wa district Peter Clever Mutuluza, olwokwesulirayo ogwa nnagamba ng'amagye agakuuma ennyanja gatulugunya abantu.
Bino abyogeredde mu kuziika omu ku batuuze agambibwa okuba nga yattidwa abajaasi abakuuma enyanja Nalubaale, oluvanyuma lwokusangibw ng’akozesa envuba etagwana.
Omugenzi ayogerwako ye Joseph Male, owemyaka 36 omutuuze w'e…
Bya Moses Ndaye
Abavubuka bokunguudo ze Kampala abakwazibwako erya KIFEESI, bagamba bagala kusisinkana ssabapoliisi we gwanga okubaako byebamutegeeza.
Bano batuzizza olukungaana lwabanamawulire, ku ssomero lya Katwe P/S nga bakulembeddwamu Ssebulime Abas, nebategeeza nti balokose bagala kuva mu bikolwa byebalimu.
Bano bagamba bagala kumusisinkana ngali bwomu bwati, era balumiriza nti waliwo ababakozesa okubba.
Eno omusasai waffe Nadye Moses Abaddeyo ngatubuliidde…
NYANAMA-KAMPALA
Bya Moses Nadye
Entiisa ebutikidde abatuuze be Nyanama mu district ye Wakiso bwebazudde omukyala omulala nga yattidwa.
Omwogezi wa police ya Uganda Asan Kasingye agambye nti omukyala ono attidwa tanategerekeka bimukwatako, wabulanga omulambo gwe gusangiddwa nga gwasulidwa ku kubo.
Agamba nti obubonero obuliwo bulaga nti omukyala ono yasoose kukubibwa ebitagambika, ekirabika nti kyekyamuviriddeko okufa.
Mu kaseera kano omulambo gw’omugenzi…
