Amaggye g’eggwanga gawakanyizza ebigambibwa nti waliwo okuwandiisa abajaasi okufuna endagamuntu
Akulira DP Norbert Mao yategeezezza nti mu bitundu bye Gulu yabadde afunye amawulire nti aba minisitule y’omunda mu ggwanga bakyawandiisa abantu kale nga kyewunyisa nti yye bagaana okumuwandiisa
Kati Omwogezi w’amaggye g’eggwanga Lt.Col Paddy Ankunda agamba nti nabo baagoberera nteekateeka ya buli munnayuganda eyakoma nga 11th omwezi…
Gavumenti etegeezezza nga bw’eri ennetegefu okuliyirira abantu abataano abafiiridde mu kabenje akeetabiddwaamu tiimu y‘eggwanga.
Abazannyi ba Uganda cranes basatu beebalumiziddwa mu kabenje kano akaagudde e Kamonkoli ku luguudo oluva e Mbale okudda e Tirinyi baasi eyabaddemu abazannyi bweyavuddeko omupiira neyambalira taxi abantu bataano nebafa
Minisita omubeezi akola ku by’emizannyo Charles Bakabulindi agamba nti balindiridde alipoota ya poliisi…
File Photo: Bus ya tiimu ye gwanga Uganda Craines mu kabenje
Abantu bataano kikakasiddwa nti beebafiiridde mu kabenje ku luguudo oluva e Mbale okudda e Mbale.
Akabenje kano kagudde ku kyaali Jami ekisangibwa e Kamonkoli mu dsitulikiti ye Budaka.
Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti baasi ya Uganda Cranes ebadde eva e Soroti ebuseeko omupiira olwo n’etandika okutagala ng’eno gy’esanze…
File Photo: Bus ya tiimu ye gwanga Uganda Craines mu kabenje
Abazannyi ba Uganda Cranes bafunye akabenje.
Bano babadde bava Soroti kusisinkana pulezidenti Museveni abadde abayozayooza okuwangula ekikopo kya CECAFA.
Abazannyi basatu beebafunye ebisago mu kabenje akagudde e Kamonkolo ku luguudo oluva e Mbale okudda e Tirinyi.
Ablumiziddwa kuliko Dennis Okot , Isaac Muleme ne Kezron Kizito
Omukungu mu FUFA…
File Photo: Emotooka eguude ku kabenge
Abayizi bana bafiiridde mu kabenje akagudde mu gombolola ye Arusi mu disitulikiti ye Nebbi.
Abayizi bano bonn babadde ba ssomero lya Erusi siniya school.
Abaana bano babadde ku kiroole ekiremedde omugoba waakyo nekyefuula abayizi bonna nebagwa era 43 abalala bali mu mbeera mbi ddala mu malwaliro.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya WestNile…
File Photo: Abasawo abatendekedwa
Abasawo b’ebikwangala 12 bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa ab’ekibiina kya Allied Health professional’s council.
Obulwaliro 7 bwo buggaddwa lwabutatuukiriza byetaago
Omu ku bakwatiddwa ye Dr. Drake Kizito omukulu e Mengo ng’alina eddwaliro e Kawuga
Atwala ebyobulamu mu Buganda Micheal Mubiru Kayizzi agambye nti bagaala kukoma ddala ku bantu bano kubanga basusse okubba abantu
Ekikwekweto kino kyakugendera ddala…
File Photo: Presidenti wa DP Nobert Mao
Akulira ekibiina kya DP Norbert Mao agamba nti keekadde akakiiko akalondesa kanyonyole ku ani omutuufu alina okulonda
Mao agamba nti kyannaku nti okulond kusembedde naye ng’emivuyo miyitirivu ku lukalala olugenda okukozesebwa mu kulonda.
Ono agamba nti emyezi ena emabega, abadde alwana kulaba nti erinnya lye lidda ku lukalala lw’abagenda okulonda kyokka…
File Photo: Police nga ekola ogwayo
Poliisi e Mukono ekutte omusajja wa myaka 52 akkakkanye ku myaka 10 n’amutunuza mu mbuga ya sitaani.
Ssalongo Geoffrey Namugera nga wa bakyala babiri akwatiddwa oluvanyuma lwa maaa w’abaana okwemulugunya
Omukyala ono agambye nti yalabye muwala we ng’atambula agaziwa kwekumukazakaaza n’amubuulira ebyamutuseeko.
Atwala poliisi ye Mukono Henry Ayebareagambye nti omusajja ono bamukutte era…
Ab’ebyokwerinda basabiddwa ku kweyingiza mu byobufuzi ebyawula mu bannayuganda
Kino kizze nga kampeyini ziggya zeyongeramu ebbugumu era nga ne alipoota eyafulumye yalaze dda nti poliisi ekwata kisooka okutulugunya abavuganya.
Akulira omukwago gwa bannamateeka Ruth Sebatindira agamba nti poliisi erina okuyiga engeri entuufu y’okukwatamu abantu n’okusigala nga terina ludda.
Bano era balabuddwa ne kukutiisatiisa abantu.
Pulezidenti Museveni agamba nti eyli ssabaminisita Amama Mbabazi talina buwagizi mu NRM era ssi y’addukanya ekibiina nga yye bw’alowooza
Ng’ayogerako eri bannamawulire ng’afundikira olugenda lwe e Teso, Pulezidenti agambye nti kino Mbabazi by’ayogera tebisoboka
Agambye nti Mbabazi yeeyali kyeankana afuga ekibiina weyabeerera ssabawandiisi waakyo ne ssabaminista kyokka nga bino byonna byaggwaawo okuva lweyayabulira ekibiina
Mu ngeri yeemu era…
