File Photo: Ebimotooka nga biri kunguudo
Ebyentambula bisanyaladde ku luguudo oluva e Mubende okudda e Kampala oluvanyuma lw’abagoba b’ebimotoka ebinene okubisimba wakati mu luguudo.
Bano bemulugunya ku minzaani z’ekitongole ky’ebyenguudo zebagamba nti emmotoka zabwe zizipima kifuulanenge neziyisamu obuzito.
Bano baagala minzani zino zikyusibwe awatali ekyo bakugenda mu maaso n’okwekalakaasa.
Yo poliisi n’amagye biyiriddwa mu kifo kino okukkakanya embeera.
Twogeddemu n’abamu…
File Photo Besigye ngali mu kampayini
Abesimbyeewo okukwatira ekibiina kya FDC bendera mu kulonda kw’omukulembeze w’eggwanga omwaka ogujja bakyatalaaga ebitundu ebyenjawulo nga bayigga akalulu.
Eyali ssenkaggale w’ekibiina kino Dr Kiiza Besigye olwaleero wakusisinakanamu abakulembeze b’ekibiina 90 okuva mu bitundu by’e Busoga olwo akube olukungaana mu kisaawe ky’e Kakindu .
Ye bwebavuganya era ssenkaggale w’ekibiina kino Maj. Gen Mugisha…
File Photo : Abantu be burundi
Wowulirira bino ng'okulonda omukulembeze w’eggwanga kukyagendera ddala mu maaso mu ggwanga lya Burundi.
Okulonda kuno kugyidde wakati mu bunkenke obw'ekitalo nga era wawuliddwaayo okubwatuuka kwa bbomu mu kibuga ekikulu ekya Bujumbura.
Omukulembeze w’eggwanga lino Pierre Nkurunziza ayagala kisanja kirala wakati mu kuwakanyizibwa okuva eri abamuwakanya ekyavaako n’obwegungo omwafiira abantu abasoba mu 70.
Ekitongole kya KCCA ekikola ku by’obulamu kigadde ekizimbe kya Kizito Towers lwa bukyaafu.
Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba bazze balabula bananyini kizimbe kino okutereeza embeera y’obuyonjo naye nga balinga abafuuyira endiga omulere.
Kawujju alabudde nti ekizimbe kino kyakusigala nga kiggale okutuusa nga batuukirizza omutindo gw’obuyonjo ogwetaagisa.
File Photo: Eyaali owogezi wa police nabakooba
Omuyimbi Judith Babirye aggyeeyo foomu okwesimbawo ku kifo ky’omubaka owe Buikwe
Ng’ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’okujjayo foomu mu kibiina kya NRM, Babirye agambye ekimuleese kuwereeza bantu era ng’ayagala aweebwe bendera ya NRM agitambuze Buikwe.
N’eyali omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba naye amaze okujjayo foomu era okukiikirira abakyala be Mityana.
Abalala abajjeeyo foomu…
File Photo: Fred Enanga
Poliisi mu disitulikiti ye Iganga ku kyaalo Nyuti etandise okunoonya abatuuze abakkakkanye ku musomesa nebamukuba emiggo egimusse
Bano abatandise ng’abakuba olwaali bakubye omusomesa emiggo nga bamulanga kugwa ku kabenje mu maaso gaabwe gyebigweredde n ga mufu
Ayogerera poliisi mu Uganda Fred Enanga atutegeezezza nti omusomesa ono yabadde avuga pikipiki okukkakkana ng’emukubye ekigwo, wabula kino…
File Photo: Aba Democratic Party
Ekiri mu kibiina kya Democratic Party kissa kinegula nga olwaleero waliwo abatudde nebawera obutakkirizza ttabamiruka ateekebwateekebwa ku lw’okuna.
Ekibinja kino ekikulembeddwaamu loodimeeya wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago bawadde Norbert Mao okutuuka lw’enkya ng’ayongezezzaayo ttabamiruka ono.
Bano balangiridde nti ssinga kino kigaana, bakulangirira mu butongole Lukwago ku bwa ssenkaggale bw’ekibiina kya DP.
Ekiwayi kino ng’okusingira…
File Photo: Omusajja nga eyempima
Kizuuliddwa nti kizibu ddala omuntu okusala obuzito ssinga amala okugejjulukuka naddala eri abasajja.
Ku basajja 210 abagenze mu gym mu mwaka gumu omu yekka y’akozze ate nga ku bakyala 124 ababadde bagenda mu gym omu yekka y’akozze
Abakoze okunonyereza bategeezezza nti bafubye okukebera amakubo gonna agayinza okuyamba omuntu okukogga naye nga byonna ssi…
File Photo: Nankulu wa Kampala
Abakazi babiri batwaliddwa e Luzira bamaleyo ennaku 55 lwa kuyomba n’abasirikale ba KCCA.
Fatuma Namutebi ne Aisha Namukasa nga bombi basibi ba nviiri ku Luwum Street mu Kampala basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Moses Nabende ku City Hall era n’abasindika e Luzira oluvanyuma lw’okubasomera omusango nebagukkiriza.
Omulamuzi abalabudde era n’ategeeza nti kino kakibe eky’okulabirako…
Abadde agezaako okusabira akwatiddwa ekigambibwa okuba ekitambo akiguddeko bwebamulumyeko amatu nebagalya.
Robinah Kisakye nga mutuuze we Kawala agamba nti abadde asabira mukwano gwe Pauline Kizza amukedde ku makya ng’alumiriza landiloodi we okuba omusezi.
Kisakye gwetusanze ku ddwaliro e Mulago abadde talina matu kyokka ng’ekitiisa enyama Kizza yagiridde era namulekera ebisago ebiwera.