Omuvubuka Vicent Kaggwa eyakwatibwa abasirikale ba poliisi okuva mu kitongole kya Flying Squad,kubigambibwa nti atetera n’eyali Ssaminisita John Patrick Amama Mbabazi anyonyodde ebyamutuukako.
Kaggwa gwetusanze mu maka ge mu Katanga agambye nti yakwatibwa natwalibwa ku poliisi ya CPS, weyamala eddakiika 30 oluvanyuma nasibibwa ekikokolo ku maaso n’azunzibwa ku poliisi ez’enjawulo.
Kaggwa agambye yatulugunyizibwa nga bamufuuyira amazzi agaamukuba…
Ekitongole kye Buganda Land Board kirangiridde nga bwekisaze ku nsimbi abantu zebalina okusasula okutereeza obusenze bwabwe ku ttaka kya Kabaka mu disitulikiti ya Kampala ne Wakiso.
Akulira ekitongole kino ow’ekitibwa Kyewalabye Male agambye nti ensimbi zino zivudde ku kakadde 1 ne Mitwalo 20 okutuuka ku mitwalo 60.
Kiwalabye Male agambye nti kino kikoleddwa okusobozesa abantu bamufuna mpola…
Oluvanyuma lw’okukwatibwa kwa Ssabayeekera Jamil Mukulu, abayekera ba ADF bazzeemu okwekunganya era nga bafunye n’omukulembeze omuggya.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti bano kati bakulemberwa Musa Baluku ng’amyukibwa Hood Lukwago.
Enanga agambye nti abayekera bano bazzeemu okukuba enkambi mu bibira bye Kivu ate ng’abalala bakolera mu ssaza erimanyiddwa nga Oriental.
Wabula Enanga agambye nti amaggye…
File Photo:Abajaasi ba Afghanistan
Abajaasi b’amaggye ga Afghanistan 8 battiddwa mu bulumbaganyi obukoleddwa enyonyi z’eggwanga lya Amerika mu ssaza lye Loga mu kibuga Kabul.
Ab’obuyinja mu ggwanga lino bagamba enyonyi zino zikubye abajaasi baabwe emisana ttuku nga ensi yonna eraba awatali nsonga yonna.
Ekitundu kye Logar kizze kirumbibwa abatalibaani nga n’abasinga ku batuuze baakiddukamu dda.
Gavumenti ya Amerika etegeezezza…
File Photo: Minister Henry Kajura
Abakozi ba gavumenti mu disitulikiti ye Sironko batiisizza okuteeka wansi ebikola nga bemulugunya nti bamaze ebbanga nga tebakomba ku musaala.
Abakozi bano bagamba tebanafuna musaala gwa myezi 3 sso nga abababanja babali bubi nga tebalina na ssente zisasulira baana baabwe fiizi ku masomero.
Akulira abakozi mu disitulikiti eno Joseph Lomongin akkirizza nga bwewabaddewo…
File Photo: Omuvuuzi we motooka ze mpaka Lwakataka
Kafulu mu kuvulumula emmotoka z’empaka Posiano Lwakataka olwaleero asuubirwa okudda mu kkooti enkulu e Masaka ku misango gy’obutemu.
Ku ntandikwa y’omwezi guno Lwakataka ne banne bwebavunanibwa okuli Vincent Fangesi ne Emmanuel Zinda baalabikako mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka , John Keitirima eyabasindika ku alimanda e Luzira…
File Photo: Mbabazi nga awandiika ku T-shirt yo mu ku bawagizi be
Poliisi kyaddaaki eyimbudde omuwagizi wa Mbabazi owomukibiina ky’abavubuka abeyita abaavu ab poor youth .
Ekitongole kya poliisi ekya Flying Squad ky’akwata Andrew Kaggwa wiiki ewedde ku lwokusatu n’atwalibwa ku kiteba kyabambega ba poliisi e Kireka.
Okusinziira ku mukwanaganya w’ekibinja ky’abavubuka bano Richard Kirekyankuba , Kaggwa ayimbuddwa…
File Photo: Mao Nga yogeera
Ssenkaggale w’ekibiina kya Democratic Party, Norbert Mao yekyusirizza mu kiti ng’embazzi n’alayiza obukulembeze bw’ekibiina e Masaka nga bano okusooka y’ali abesambye.
Mao y’akwataganye ne ssentebe wa DP e Masaka Fred Mukasa Mbidde ku mukolo gw’okulayiza abakulembeze oluvanyuma lw’okusisinkanamu ekiwayi ekikulemberwamu Florence Namayanja ekiwakanya obukulembeze buno.
Mao y’asuubizza nga abakulembeze b’ekibiina bwebagenda okutuula olunaku…
File Photo: Besigye nga seeka
Eyali ssenkaggale w’ekibiina kya wa FDC Dr. Kiiza Besigye agamba bannayuganda balina okukyusa endowooza zaabwe, kubanga endowooza ekyuuse yesobola okukwata obuyinza nti nakalulu tekagaba buyinza.
Ono abadde ku mbuga ye ssaza e Mukono mu kunoonya akalulu akomunda awanikire ekibiina bendera.
Besigye ategezezza nti ku mulundi guno atadde amaanyi mubyempuliziganya n’abantu babulijjo era nasubiza…
File Photo: Mbabazi ngali ku kiteebe y kya NRM
Eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi ssiwakupapa kujjayo mpapula za kwesimbawo mu kamyufu yadde nga akakiiko k’ekibiina kya NRM akafuzi kajjeewo obumu ku bukwakkulizo eri abesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga
Mbabazi ayagala kuvuganya ku ky’okukwatira ekibiina kya NRM bendera ku bwa pulezidenti wamu n’ekya ssentebe w’ekibiina kino.
Omu ku…