Eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi aagaanye okujjayo empapula z’okwesimbawo mu kamyufu k’ekibiina kya NRM oluvanyuma lw’okukuba ebituli mu mateeka g’ekibiina kye.
Mbabazi ategezezza nga bwekitakola makulu Muntu kugyayo foomu n’asasula ssente ze nga tanasoma bikwata ku kifo ky’ayagala
Ategezezza nga amateeka ku nsimbi zino bwegatategerekeka kale nga okuwaayo ssente ze n’okugyayo foomu z’okwesimbawo agenda kusooka…
Ssabasajja Kabaka asabye bannayuganda okufuna eky’okuddamu eri omuze gw’okulya enguzi n’obulyaake ebizinzeeko eggwanga
Bino ssabasajja abitadde mu bubaka bwe obwa Eid eri abayisiraamu nga bateekateeka okujaguza okumalako ekisiibo.
Asiimye abo abasiibye, okwerekereza, okusaala , okugabira abatalina n’abakoze ebikolwa ebirungi era n’abasaba okusigala nga babikola.
Ssabassajja kyokka era agambye nti kyannaku nti Eid eno egenda kukwatibwa ng’abamu ku bayisiraamu…
Omusajja eyemakulidde mu ggaali y’omukka n’atandika okukyaginga essimu mu ggaali empingi y’eramudde
Bino bibadde mu kibuga London
Omusajja ono agguddwaako misango gyakutatagaanya masanyalaze ga ggali ya mukka
Abavuganya gavumenti bawakanyizza ekyokutandawo amasaza amalala 39
Kiddiridde minisita wa gavumenti ez’ebitundu okulangirira nti amasaza gano gassibwa dda mu mbalirira era nga tegalina byanfuna byegagenda kukosa.
Kati minisita wa gavumenti z’ebitundu mu gavumenti erinze obuyinza Betty Nambooze agamba nti minisita talina buyinza kussaawo masaza gano nga tegali na mu tteeka lya gavumenti ez’ebitundu.
Nambooze ategeezezza ng’ensonga eno bw’agenda…
Poliisi erwanyisa ebabbisa emmundu ekutte omuvubuka omu ku kuttibwa kw’omuyizi we Makerere
Desire Mirembe eyabula ku lw’okutaano omulambo gwe gwasangiddwa nga gusuuliddwa mu kisiko e Lugazi.
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti akwatiddwa ye Matthew Kirabo nga yoomu ku baasemba okubeera n’omugenzi.
Anyonyodde nti akwatiddwa muyizi asoma obusawo e Makerere nga kati musawo omuyiga…
Ettendekero lya Buganda Royal institute liggaddwa
Ab’ekitongole kya Kampala Capital City Authority beebaggadde ettendekero lino lwa nsonga za bujama
Abakungu ba KCCA basoose kulambula ttendekero lino erisangibwa Mengo Kakeeka n’oluvanyuma nebassaako kufulu zaabwe okulaga nti baliggadde
Kawefube w’okwogerako n’omwogezi wa KCCa Peter Kawuju agudde butaka kyokka ng’ababadde ku ttendekero lino bategeezezza nga kasasiro bw’asusse nga n’empitambi ekulukulitira mu…
Waliwo omusajja akwatiddwa ng’ono ayiiridde mukyala we supu ayokya olwo n’amusiba ng’abadde ayagala kumuvumbika mu Oven.
Joseph Anthony okuva mu kibuga Sandy asoose kufumita mukyala we biso, okumukuba ebikonde n’ensambaggere kko nokumufumita akaso mu lubuto
Ekinyizizza omusajja ono mukyala we butagenda kumukyalirako ku mulimu gy’akolera nga bw’abadde akola bulijjo
Obutamanya nkozesa yabyuma ku ddwaliro e Mulago kikosezza nyo abaliddukanya.
Ayogerera eddwaliro lye Mulago Enock Kusaasira agamba ebintu omuli ebitanda ,Taapu z’amazzi,obugaali bw’abalwadde n’ebirala byonooneddwa abalwadde abatamanyi kubikozesa nga kati eddwaliro lyetaaga buwumbi okubirongoosa.
Bw’abadde akuliddemu omulimu gw’okusomesa abasawo engeri gyebayinza okuyambako abalwadde okwatamu ebintu by’eddwaliro, Kusaasira ategezezza ng’ekitundu kimu bwekimalawo akakadde kamu n’ekitundu nga mu kiseera…
Kkooti egobye sitatimenti eyakolebwa om ku bavunaanibwa okutega bbomu ezatta abantu abasoba mu 70 .
Muzafaru Luyima yeeyakola sitatimenti eno kyokka nga yagyegaana ng’agamba nti bamutulugunya okugikola.
Omulamuzi Alfonse owiny Dollo agambye nti amakubo agayitibwaamu okujjako omuvunaanwa ebigambo tegali mu mateeka.
Omulamuzi agambye nti kasita omupoliisi awandiika sitatimenti tayogera na muvunaanwa, kiba kikyaamu.
Omu poliisi Charles Mutungi yeeyawandiika sitatimenti…
Abantu basatu beebattiddwa abagambibwa okuba abazigu abawandagazza amasasi mu bantu.
Bino bibadde ku kyaalo Kirimamutungo mu gombolola ye Kamira mu disitulikiti ye Luweero.
Aduumira poliisi mu bitundu bino, Idd Kigenyi agambye nti amasasi bagakubye mu bantu ababadde mu bbaala y’omukyala Florence Nakaweesa.
Abazigu bano kigambibwa okuba nga bazinzeeko bbaala ku ssaawa nga ttano n’ekitundu olwo nebalagira buli Muntu…