File Photo: Besigye nga seeka
Eyali ssenkaggale w’ekibiina kya wa FDC Dr. Kiiza Besigye agamba bannayuganda balina okukyusa endowooza zaabwe, kubanga endowooza ekyuuse yesobola okukwata obuyinza nti nakalulu tekagaba buyinza.
Ono abadde ku mbuga ye ssaza e Mukono mu kunoonya akalulu akomunda awanikire ekibiina bendera.
Besigye ategezezza nti ku mulundi guno atadde amaanyi mubyempuliziganya n’abantu babulijjo era nasubiza…
File Photo: Mbabazi ngali ku kiteebe y kya NRM
Eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi ssiwakupapa kujjayo mpapula za kwesimbawo mu kamyufu yadde nga akakiiko k’ekibiina kya NRM akafuzi kajjeewo obumu ku bukwakkulizo eri abesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga
Mbabazi ayagala kuvuganya ku ky’okukwatira ekibiina kya NRM bendera ku bwa pulezidenti wamu n’ekya ssentebe w’ekibiina kino.
Omu ku…
Gavumenti esabiddwa okussa ebikozesebwa mu masomero gasobole okusomeseza abaana ku nkola z’omulembe nga bwekiri mu mawanga agaakula
Okusaba kukoleddwa ssenkulu w’ettendekero lya Virtual University mu Uganda omulamuzi Flavia Senoga Anglin agamba nti keekadde abayizi bayige nga bayita ku kompyuta okwewala okutambula nga buli lunaku.
Bino Senoga abyogeredde ku mukolo gw’okutikkira abayizi abasoose okutikkirwa nga babadde bakozesa kompyuta…
Abantu babiri beebafiiridde mu bubenje bubiri obwabaddewo ku lunaku lwa Eid
Bino biri mu alipoota efulumiziddwa poliisi ku mbeera y’eby’okwerinda ku lunaku lwa Eid Elfitri olwakwatiddwa olunaku lwajjo.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirwano Patrick Onyango agambye nti akabenje akasooka kabadde Kalerwe ku saawa nga nnya ez’ekiro emmotoka eyabadde ewenyuka obuweewo bweyatomedde omuntu omu eyategerekese nga Benson…
Munnamateeka Abdallah Kiwanuka atiisatiisiizza okutwala omuduumizi webikwekweto bya poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi mu kkooti ng’amulanga kwenyigira mu byobufuzi ebirimu kyekubiira.
Kaweesi olunaku lw’eggulo yasiibye mu gombolola ye Kyampisi e Mukono ng’atalaaga ne minisita omubeezi ow’amazzi Ronald Kibuule.
Kiwanuka agamba nti kino kimenya mateeka era ng’agenda mu kkooti ku ntandikwa ya wiiki ejja.
Kaweesi eno gyeyasinzidde n’ayambalira…
Abamu ku bakulembeze ba disitulikiti banenyeza gavumenti olw’okutondawo amasaza amalala kyoka ng’ensimbi ezisindikibwa disitulikiti tezeyongera.
Minisita wa gavumenti ez’ebitundu Adolf Mwesige wiiki eno yategeezezza palamenti nga gavumenti bw’emalirizza enteekateeka z’okutunda wo amasaza amalala 39.
Ssentebe wa disitulikiti ye Kamuli, Salaam Musumba agambye nti wadde ng’amasaza gano tegeetaaga nsimbi okuva mu disitulikiti naye gaba geetaga ensimbi okuva ku…
Ab’obuyinza mu bitundu bye Kawempe bategeezezza ng’omugotteko okweyongera mu kitundu kino bwekiviriddeko obumenyi bw’amateeka okweyongera.
Emisango omuli okukuba obutayimbwa, obubbi, okukwata abakyala, gyeyongedde nyo e Kawempe naddala mu bitundu omuli Kalerwe, Kyebando n’ebirala ekitadde obulamu bw’abatuuze mu katyabaaga.
Okusinzira ku ssentebe wa LC 1 mu Ssebina Zone Jafari Ssengendo , abavubuka abakeera okuzanya zaala olw’ebbula ly’emirimu ate…
Edduuka gaggadde erya Westgate shopping mall mu kibuga Nairobi omwafirwa abantu 67 omwaka gwa 2013 lizeemu okukola olwalero.
Mu mwezi gw’omwenda omwaka gwa 2013 bannalukala ba Al Shabab baalumba edduuka lino nebasindirira amasasi mu bantu,okukkakkana nga 67 bafudde.
Amaggye wamu ne poliisi ya KENYA yamalira ddala ennaku 5 ng'erwanagana nebannalukala bano.
Edduuka lino kati liddabiriziddwa bulungi okutukagana n’omutindo…
Poliisi ye Irundu mu disitulikiti ye Buyende eriko omusajja gw’eggalidde lwa bigambibwa nti y’agula amayembe negamulemerera nga kati gabadde gatandise n’okukwata abakazi ku kyalo.
Wankya mugulusi 38 y’agaliddwa olw’amayembe geyagula kati emyaka 2 egiyise okumugaggawaza n’alemererwa okugawa ssaddaaka y’omusaayi buli mwezi n’embuzi emu negamutabukira.
Taata w’omukwate ono Kintu Bumaali ategezezza nga mutabaniwe bweyagula amayembe gano nga mato…
Poliisi mu disitulikiti ye Gulu eriko omusumba w’abalokole gw’ekutte lwamusango gwabuliisa maanyi.
Paasita Ronny Odur bangi gwebamanyi nga Gumkom ow’ekanisa ya Holy power church y’akwatiddwa ku bigambibwa nti aliko abakyala 4 beyatabalizaako engabo ye mu buwaze nga era babadde basabira mu kanisa ye.
Odur okukwatibwa kyaddiridde ssentebe wa disitulikiti ye Gulu Martin Ojara Mapenduzi kwetaba mu lukiiko…