Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Gwebakuba amasasi e Bweyogerere ataawa

Omusajja eyakubwa amasasi abasajja abatta eyali omwogezi we Kibuli Sheikh Hassan Kiirya ayagala kumuliyirira Daniel Okim yakubwa amasasi mu mukono mu kavuvungano akaaliwo ng’abazigu bano batta Sheikh Kiirya e Bweyogerere. Ab’enganda z’omusajja ono aludde nga taliiko ayamba mu ddwaliro e Bweyogerere olwaleero baddukidde eri ssenkaggale wa poliisi gen Kale Kaihura nga bagaala buyambi. Omwogezi wa poliisi mu Kampala…

Read More

NRM esoloozezza eziwera

Ab’ekibiina kya NRM bakasolooza obukadde 250 mu nsimbi zebajja mu bannakibiina abewandiisa okwesimbawo. Ku zino obukadde 202 zivudde mu abo abagaala okwesimbawo okukiika mu palamenti ate 24 zivudde mu ba ssentebe ba zi disitulikiti. Akulira akakiiko akalondesa aka NRM Dr.Tanga Odoi agambye nti kino kyongera okunyweeza ekibiina nga kyetegekera akalulu ka 2016. Odoi era agambye nti abasinze okuleeta…

Read More

Amasaza amapya gazze

Gavumenti kyaddaaki ereese ekiteeso eky’okutondawo amasaza 39 amapya Ekiteeso kino kireeteddwa minisita wa gavumenti ez’ebitundu Adolf Mwesige nga kigendereddwamu kuwereeza bantu. Amasaza gano gaatandika okukola nga 1st July 2015 era nga agamu ku mapya gali Gomba West, Agago North, Bukomansimbi south, Kitemba County e Kiboga, Luuka south, Mawogola North, n’endala Wabula abamu ku babaka ba palamenti balaze obwenyamivu…

Read More

Ebbeeyi y’amasanyalaze erinnye

File Photo: Abamasanyaze nga bagadabiriza Ekitongole ekigereka ebbeeyi y’amasanyalaze kigongezza. Mu nteekateeka empya, abagakozesa ewaka bongeddwamu siringi 13 okuva ku 558 buli yuniti, abagakozesa emirimu emitonotono bongeddwamu siringi 12 okuva ku 492 sso nga abamakolero kati bongeddwamu siringi 8 okuva ku 320. Omwogezi w’ekitongole kino  Julius Wandera ategezezza nti bawaliriziddwa okwongeza ebbeeyi lwasiringi ya Uganda kwongera kunaabuka.   Ebisale bino…

Read More

Omu Tanzania awamba abantu

Poliisi y’e Kalisizo mu disitulikiti ye  Rakai eriko munnansi w’eggwanga lya Tanzania gw’ekutte nga ateberezebwa okuwamba  omuwala ow’emyaka 3. Julian Nasuraje 52 omutuuze we Kalagwe y’akwatiddwa nga avunanibwa kuwamba muwala ategerekese nga Daphine okuva e Kinoni mu disitulikiti ye Lwengo Atwala poliisi ye  Kalisizo Regina Nansamba ategezezza nga  Nasuraje bweyakwatiddwa oluvanyuma lw’okutemezebwako abatuuze oluvanyuma lwokumwekengera. Nansamba agamba  Nasuraje…

Read More

Endagamuntu ziriwa

Abakulira ekitongole ekigaba endaga Muntu  basabiddwa mu ggwanga basabiddwa okuvaayo n’enkola enayamba okuwandiisa bannayuganda abali emitala w’amayanja. Ekitongole kino kizze kitekebwa ku ninga okuwandiisa abantu bano nabo bafune endaga Muntu z’eggwanga. Wabula minisita w’ensonga zomunda mu ggwanga  Gen Aronda Nyakairima agamba eteeka eriliwo mu kiseera kino teribasobozesa kukola kino. Wabula asabye abakola ku nsonga eno okufuna engeri gebaggye…

Read More

Agambibwa okutega bbomu bamusiba obusajja

File Photo : Abateberezebwa okutega bomu Omu ku bavunaanibwa okutega bbomu ezatta abantu mu mwaka 2010 yegaanye sitatimenti gyeyakola ng’akkiriza okuzza emisango. Habibu Sulaiman Njoroge ategeezezza omulamuzi Owiny Dollo nti yatendewalirwa n’akkirizza emisango oluvanyuma lw’okutulugunyizibwa Njoroge agambye nti basooka kumukaka kunywa mazzi olwo nebalinda ng’ayagala kufuuyisa nebamusiba akaveera ku busajja era nebamugaana okufuka Ono agamba nti wano webamuweera sitatimenti…

Read More

Besigye atandise na bbugumu- alumbye poliisi ku basiraamu abattibwa

File Photo Besigye ngali mu kampayini Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye atandise na maanyi kampeyini ze ng’ayagala abantu bamulonde okukwata bendera y’ekibiina. Besigye eyabadde ayambadde ekanzu yasookedde Kasangati gyeyayaniriziddwa era n’akwasibwa effumu n’engabo omukwagaaliza olutabaalo olulungi Yeeyongeddeyo ku growers e Bwaise ng’eno gy’asinzidde n’asaba poliisi okussa nnyo amaanyi ku nsonga enkulu mu ggwanga mu kifo…

Read More

Abantu abali ku ddagala eriweweeza ku mukenenya beyongedde

File Photo : Omukyala nga kutte akapande akogere ku silimu Ab’ekibiina ky’amawanga amagatte bagamba nti ekigendererwa ky’okussa abantu obukadde 15 ku ddagala eriweweeza ku bulwadde bwa mukenenya kyatuukibwaako dda. Ekigendererwa kino kyatuukibwaako mu mwezi gw’okusatu. Nsalessale yali wa mu mwaka guno nga guggwaako era nga kino kyakolebwa okuyita mu kuwa abantue ddagala eriweweeza ku mukenenya…

Read More

Eddwaliro ku kizinga kizze

File Photo: Abatuuze ekoome Mu kawefube ow’okutumbula ebyobulamu mu bizinga, ab’ekanisa ya Uganda nga bali wamu n’abagabi b’obuyambi baliko eddwaliro lyebazimbye e Myende ku bizinga bye Koome mu disitulikiti  ye Mukono. Ssabalabirizi Stanely Ntagali ayanjulidde abakulembeze ba disitulikiti ye Mukono eddwaliro lya Myende Community Hospital nabasaba obuwagizi bwonna nobuyambi okuva eri disitulikiti , abantu baganyulwe mu nsonga…

Read More