File photo: Kabaka nga gaaba ekikoopo
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olunaku olwalero wakutongoza empaka z’emipiira gy’ebika bya Buganda.
empaka zino zakuggulwamu mu butongole Ssabasaja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda 11 nga 26 omwezi guno mu kisaawe e Wankulukuku nga Enkobe littunka ne Ngabi.
Mayiga agambye nti ebika yentabiro y’okwegatta wamu n’okutumbula ennono mu Buganda kale nga…
File Photo: Abawagizi ba NRM
Abamu ku babaka ba palamenti okuva mu kibiina kya NRM bakyakubagana empawa ku nsimbi ezagerekeddwa ekibiina kyabwe eri oyo yenna ayagala okwesimbawo mu kamyufu.
Omubaka wa Mityana North Godfrey Kiwanda agamba ensimbi zino zakulemesa naddala abagenda okwesimbawo omulundi ogusookera ddala.
Kiwanda agamba ssente sizezibadde zisaana okusalawo ku bumalirivu bw’omuntu okwesimbawo.
Okusinziira ku byafulumizibwa ekibiina…
File Photo: Abalambuuzi nga bali ku Sezibwa
Ensasagge nentiisa bigudde mu badigize ababadde bazze okulya obulamu bwebazudde omulambo mu mugga Ssezibwa e Kayanja mu district ye Mukono.
Omulambo gwomuwala atategerekese gulabiddwa abalambuzi ku Ssezibwa Resort akafo akasanyukirwamu, nga kisubirwa yaggwa mu biyiriro byamazzi ebisangibwa ku kyalo Busiba mu gombolola ye Nakisunga.
Wabbali wasangiddwawo essimu ye gyebakozesezza okukubira abantu…
File Photo: Police nga eteeka omuntu kukabangaali
Poliisi ye Bukomansimbi eriko omusajja gw’ekubya amasasi n’emutta bw’asangiddwa nga yemakulira ku mulongooti gwa kampuni y’amasimu eya Airtel.
Paul Ssemakula omutuuze we Zana wano mu Kampala y’akubiddwa amasasi agamutiddewo oluvanyuma lw’okumusanga lubona nga apangulula omulongooti e Bukomansimbi.
Semakula okutibwa kyaddiridde omukuumi w’omulongooti guno Job Okello okukubira poliisi essimu eyazze n’emukuba amasasi.
Kigambibwa…
File Photo: Ekizimbe ka Statistics House
Abakugu mu bye’nfuna balabudde nti ebyenfuna by’eggwanga byakwongera okunafuwa singa ebyobufuzi mu ggwanga tebitebenkera.
Olunaku lweggulo banka y’eggwanga enkulu y’alinyisizza amagoba banka endala kwezewolera ensimbi nga kale abasinga batidde nti nazo zandirinyia kweziowolera bannayuganda.
Abamu ku bakugu ebyenfuna okunafuwa bakiteeka ku siringi ya Uganda kwongera kunabuuka wabula ye Ramadhan Goobi embeera y’ebyobufuzi…
File Photo: Abakakiiko ke dembe lyo buntu
Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu basabye gavumenti okuzzawo n’okuzza buggya endagaano ya ssentebe w’akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu mu ggwanga.
Endagaano ye y’aggwako mu mwezi ogwokuna
Eyali ssentebe w’akakiiko kano Margret Ssekajja agamba okulwawo okuzzawo akakiiko kano kuba kutyobola ddembe ly’obutu.
Agamba mukiseera kino abantu baagala kuyambaibwa olw’edembe lyabwe okwongera okulinyirirwa wabula nga tebafunye bwenkanya…
Nga abayisiraamu basemberera okukuza Eid ,abaddu ba Allah bonna bakubiriziddwa okwetegeka okusasula Zakat Fitr nga tebanasaala Eid.
Omuteeko guno gusasulibwa ku nkomerero y’omwezi omutukuvu ogwa Ramadhan.
Imam w’omuzikiti gwa Old Kampala Sheikh Imran Ssali agambaokuwaayo kuno kutukuza ekisiibo ky’omusiibi n’okusangula ebisobye mu kiseera ky’okusiiba.
Zakat fitr esasulibwa mu kipimi ekigerekeddwa mu mmere omuntu gy’abadde asinga okusiibulukukirako mu kiseera…
Abakulira ekibiina kya National Resistance Movement bakuddamu okugaba foomu eri abo bonna abaagala okwesimbawo ku bifo ebyenjawulo mu kibiina.
Ebifo ebiriwo mu kiseera kino kuliko abaagala okwesimbawo ku bubaka bwa palamenti,loodi meeya, saako n’ebifo ebirala.
Amyuka ssabawandiisi w’ekibiina kino Richard Todwong agamba foomu zino zisobola okufunibwa okuva ku kitebe ky’ekibiina wali e Kyaddondo okuva ku ssaawa 3…
Eyali ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye wakuddamu okukuba kampeyini ze ku kifo ky’anakwatira ekibiina kya FDC bendera mu kulonda kwa 2016 oluvanyuma lw’okutuuka ku nzikiriziganya ne poliisi.
Olwokuna oluwedde poliisi yalinya eggere mu nteekateeka za Besigye zeyali alina okukuba e Kasangati ne Kawempe oluvanyuma lw’okutegeeza nti teyajitegezaako mu butongole.
Akulira bakakuyege ba Besigye Geoffrey Ekanya…
Omukyala abadde ali mu kwemalako ejjakirizi ng’akozesa obusajja obujingiire akoze akabenje.
Omukyala ono ali mu myaka nga 30 ng’abadde ayambadde enkunamyo atandise mpola okwekwatirira era ekiddiridde kusokooloya ekipiira kye ky’akozesa okwemalako ejjakirizi
Bino byonna bikwatiddwa ku kamera