Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Okukendeeza abakyala abafiira mu sanya- enteekateeka ezze

File Photo: Omusawo nga kebeera omukyala Muk’omukulembeze w’eggwanga Janat Museveni atongozezza kawefube w’okukendeeza omuwendo gw’abakyala n’abaana abafiira mu nsanya mu bitundu bye Karamoja Enteekateeka eno ewagiddwa aba gavumenti ya Korea era nga yakussibwa mu nkola ab’ekibiina ky’amawanga amagatte abakola ku nsonga z’abaana ekya UNICEF Museveni agambye nti obuzibu bw’abakyala abafa nga bazaala bungi nnyo e Karamoja era nga…

Read More

Balwanidde omulambo

File Photo: Taxi mu Park Abagoba ba Taxi ababadde bawerako  bavudde mu mbeera oluvanyuma lw’ab’oluganda lwa munaabwe kati omugenzi okugaana okukirizza okutwala omulambo okuzikibwa olunaku lwaleero okutuusa enkya. Kino kiddiridde Edward Musisi kati omugenzi nga abadde mugoba wa Taxi ku luguddo lwe Luzira okufa n’abulwako abantu be,wabula dereeva nebekolamu omulimu nebanonya ewaabwe w’omugenzi era nebalabayo . Kyokka akavuyo…

Read More

Okubala abayizi mu Kampala kuwedde

File Photo: Abayizi mu kibiina Okubala abayizi mu masomero mu kibuga kampala kufundikiddwa era abakukoze bagamba kutambudde bulungi. Omulimu guno ogumaze olunaku lumu gukoleddwa aba minisitule ekola ku byenjigiriza ng’ekigendererwa kumalamu bayizi ba mpewo mu masomero ga gavumenti. Mu masomero nga Kololo High school, Old Kampala secondary school,n’amalala, aba minisitule tebasanze bizibu kubanga amasomero gabadde be failo. Ku ssomero…

Read More

Omwalo gwe Bukasa gwakoma wa- Babaka ba palamenti

File Photo: Ababaka ba palamenti Akakiiko ka palamenti akakola ku by’obuzimbi kakunyizza aba minisitule ekola ku by’enguudo olw’okulwaawo okuzimba omwaalo gwe Bukasa Okuzimba omwaalo kwaali kwakutandika omwaka oguwedde kyokka ebintu nebyesiba Ng’alabiseeko mu kakiiko kano enkya ya leero, minisita omubeezi akola ku byenguuzo Steven Chebrot agambye nti bali mu lugendo lw’okufuna yiika 500 okuva ku b’ebibira kyokka ng’obuzibu…

Read More

Teri Kavuyo mu 2016- Aronda

          Minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Gen Aronda Nyakairima akkakkanyizza emitima gy’abantu nti wandibaawo akavuyo oluvanyuma lw’akalulu k’omwaka ogujja Kiddiridde okutya okutandise okulabika mu bantu nti ebintu byanditabuka mu kalulu akajja. Okugumya kuno Aronda akukoze alayiza olukiiko oluggya olugenda okukola ku nsonga z’endagamuntu. Aronda agambye nti ab’eby’okwerinda webali okulaba nti embeera teva mu mikono gyaabwe okudda mu…

Read More

Amaggye geeganye okugoba abantu

File Photo: Enyonyi ya Updf eyo mubanga Amagye g’eggwanga ag'omubbanga geeganye ebigambibwa nti gagoba abatuuze ku ttaka mu disitulikiti ye Nakasongola okusobola okuzimbako ekitebe ky’amagye gano. Aduumira amagye gomubbanga ku ssomero ly’abajaasi b’eggye lino Maj Gen Joshua Masaba ategezezza nga ettaka eryogerwako eriwezaako obwagagavu bwa square mailo 20 lw’amagye okviira ddala mu myaka gyensanvu nga n’abaliko basasulwa…

Read More

Eyatta omupoliisi asingisiddwa omusango

File Photo: Abantu nga bali mu kooti Kkooti enkulu esingisizza  Edson Wako omusango gw’okutta omuserikale wa poliisi  John Michael Ariong during the 2012 walk to work riots. Omulamuzi Elizabeth Alividza  y’asingisizza  Wako omusango guno oluvanyuma lw’abajulizi 2 okutegeeza nga bwebamulaba nga akuba omuserikale Ariong bulooka ku mutwe ku luguudo lwa Ben Kiwanuka . Omulamuzi yesigamye ne ku bujulizi…

Read More

Amasanga gakwatiddwa

Poliisi eriko bokisi z’amasanga g’enjovu 48 gekwatidde ku kisaawe ky’enyonyi Entebbe. Amasanga gano gasangiddwa nga gazingiddwa mu kaveera nga kungulu kubikiddwako obubaawo. Poliisi etegezezza nga amasanga gano bwegabadde gatwalibwa mu ggwanga lya Singapore nga gabadde gaakutikibwa ku nyonyi ya Kampuni ya Ethiopian airlines. Aduumira poliisi ku kisaawe ky’enyonyi Entebbe  Awita Lobvick  akyagenda mu maaso n’okuggula amabokisi gano omuli…

Read More

Abawera bajjeeyo foomu

Abaagala okwesimbawo ku tikiti y’ekibiina kya NRM batandise okugyayo foomu z’okwesimbawo ku bifo ebyenjawulo wali ku kitebe ky’ekibiina ku luguudo lwe Kyaddondo. Abakajjayo foomu zino kuliko omubaka wa Mawokota South Amelia Kyambadde, Singh Katongole  ku kifo ky’omubaka wa Rubaga North, Juuko Nakalanzi Maria  ku ka municipaali ye Masaka ne kansala w’abavubuka Adam Kyazze  ayagala okusigukulula Muhammad…

Read More

Omulambo ogubaddeko enjaga

Poliisi ekyagenda mu maaso n’okwekenenya omulambo gw’omusajja ogusangiddwamu emisokoto gy’enjaga amakumi ana nga eweramu kitundu kya kilo. Enjaga eno ebalirirwamu obukadde bwa siringi ebikumi bibiri  ze doola za Amerika emitwalo mukaaga. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga ategezezza nga omugenzi atemera mu gy’obukulu nga 45 omulambo gwe bwegwasangiddwa e Kiwawu mu disitulikiti ye Mityana nga y’abadde…

Read More