Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Okubala emisango kutandise

Okubala emisango egigyakandaliridde okw’ennaku 2 kutandise amakya galeero okwetolola eggwanga lyonna. Wano mu Kampala okubala emisango kukulembeddwamu omulamuzi omukulu Yorokamu Bamwine . Kino kigendereddwamu kumanya misango emeka egigyakandaliridde gigabanyizibwe eri abalamuzi  nga era batunulira kkooti 420 okuviira ddala ku kkooti enkulu, ento n’ezamagye. Mu ma kkooti eg’enjawulo getutuusemu nga City hall, kkooti enkulu n’ebdala okubala emisango kwatandise dda…

Read More

Ba bulooka battiddwa

E Kiboga abazigu basse omugagga nebulooka 4 ababadde bamututte okugula ettaka nebakuliita n’obukadde 300. Omu ku bagenzi ategerekese nga Mugisha  ow’e Nansana ku masitoowa nga banne babadde tebanategerekeka. Omu ku batuuze ategerekeseko erya  Ibrahim ategezezza nga bwebakubiddwa enkyukwe olw’amawulire ago kubanga banaabwe baagenze bulungi okugula ettaka wabula baabadizza birango.

Read More

Abasawo abaalambuza Besigye bali mu kattu

Abasawo ku ddwaliro lye Abim abaalambuza akwatidde ekibiina kya FDC bendera Dr Kiiza Besigye  eddwaliro lino nebamulombojjera embi gyebakoleramu boolekedde okukangavvulwa. Sister Santina Adong ne banne bebolekedde okukangavvulwa olw’okulambuza Besigye eddwaliro lino ewataali musawo yadde bakulu kukola ku balwadde mu kiseera ekyo. Besigye nga yaakavaayo, gavumenti yaweereza obukadde 700 okuddabiriza eddwaliro lino. Kati mu bbaluwa eteereddwako omukono gw’akulira…

Read More

Omupiira gw’ababaka ba palamenti

File photo: Team ya Paramenti nga elimunsiike Tiimi ya palamenti ya Uganda eyokubaka emezze ginaayo eya Kenya 45-9 mu mpaka za palamenti za East Africa ezigenda mu maaso mu kibuga Kigali ekya Rwanda. Olwaleero ttiimu y’omupiira eya Uganda yakuzanya Kenya mu fayinolo okusobola okweddiza ekikopo kyebawangula omwaka oguwedde. Uganda yesize abazanyi nga omubaka e Odonga Otto, Daniel ssekidde…

Read More

Teri bugologoosi

File Photo: Police nga ekola ogwayo Poliisi mu disitulikiti ye Kibuku eweze abesimbyewo bonna n’abawagizi baabwe okukozesa obugologoosi mu kampeyini lwa nsonga za byakwerinda. Avunanyizibwa ku misango gy’ebyobufuzi n’egyebyokulonda Henry Manana agamba obugologoosi buno kusoomoza kwamanyi eri ebyokwerinda n’=addala ababukozesa okuyeeya ababavuganya. Mu ngeri yeemu asabye abesimbyewo bonna okwewala okukozesa olulimi oluvuma kubanga kyakuleetawo obutabanguko. Ye omuwandiisi wa disitulikiti…

Read More

Giraasi etambudde yokka

File Photo: Ababadde bawerezza ku Radio nga balaba gilaasi etambuula Ababadde baweereza pulogulaamu bakanudde amaaso wakati mu kutya  oluvanyuma lw’ogugambibwa okubeera omuzimu okutandika okutambuza gulaasi mwebabadde banyweera amazzi. Giraasi eno etandise okutambula yokka okwetoloola emeeza kyokka wakati mu kutya teri avuddeu kigambo. Bibadde mu ggwanga lya Hondurus

Read More

Pulezidenti akoze bulungi bwansi

File photo:Magufuuli nga yoola kasasilo Omukulembeze w’eggwanga lya Tanzania omuggya John MAgufulu yegasse ku bati mu kibuga Daresalam okukola bulungi bwa nsi Ono alabiddwa ng’ayoola kasasiro okuva ku nguudo ezetoolodde amaka ge Kinajjukirwa nti ono yawera eby’okwonoona ensimbi mu kukuza ameefuga g’eggwanga nga kati olunaku lwafuulibwa lwa bulungi bwansi. Ono asabye abantu okwegattako nga balongoosa ebitundu gyebali okufuba okulaba…

Read More

Eddwaliro lye Abim lyakuddabirizibwa

File Photo: Hashaka nga yogeera Kyaddaaki gavumenti ejjukidde okuddabiriza eddwaliro lye Abim. Kiddiridde akulira FDC Dr Kiiza Besigye okukyalako mu ddwaliro lino erivunze lyonna nga n’abalwadde basula ku ttaka. Kati gavumenti ewerezza obukadde 700 okuddabiriza eddwaliro lino lidde ku mulembe. Wabula RDC we Abim Samuel Mpimbaza Hashaka agambye nti kawefube w’okuddabiriza eddwaliro lino abadde agenda mu maaso.

Read More

Ogwa Besigye guzze mu lujjudde

Dr. Kizza Besigye left and embattled Kampala Lord Mayor Erias Lukwago in the dock at Buganda road court during the court session yesterday. Court has refused to refer their matter to the constitutional court. PHOTO BY ABUBAKER LUBOWA. Kkooti enkulu mu Kampala etaddewo olwa nga 3rd omwezi w’okusatu omwaka ogujja okuwuliriza emisango egyakalebule egivunaanibwa munna FDC…

Read More

Omu poliisi attiddwa mu bukambwe

Poliisi e Kibuku ekutte abantu babiri ku kuttibwa kw’omu poliisi. Ismail Mangusho yabaddde agenze kukwata muzzi wa misango kyokka mu kudda, abantu abatannaba kutegerekeka nebamukuba ejjinja n’oluvanyuma nebakwata emmundu ye nebamukuba amasasi. Aduumira poliisi ye Bukedi Andrew Kaggwa ategeezezza nti ababiri abakwatiddwa bakuyambako mu kunonyereza. Bano bakuggulwaako misango gya butemu.

Read More