Abadde akutte bendera ya NRM ku bwa ssentebe bw’egombolola ye Muko afiiridde mu kabenje.
Sylavanus Baranaba afudde atuusibwa mu ddwaliro oluvanyuma lw’okufuna akabenje
Omwogezi wa poliisi e Kigezi Elly Maate agamba nti akabenje kano kagudde ku kyaalo Mukirwa,kilomita ntono okuva e Kabaale ku luguudo oludda e Kisoro.
Omugenzi yabadde atambulira mu motoka kika kya Toyota Corolla ng’eno yatomeddwa…
Palamenti yakutuula ku lunaku lwa bbalaza okusiima emirimu egikoleddwa abadde omubaka omukyala owe Bukomansimbi Susan Namaganda.
Namaganda ng’abadde atuula ku kakiiko k’ebyobulimi mu palamenti afudde oluvanyuma lw’okufuna akabenje mu kiro ekikesezza olwalereo ku luguudo lwe Masaka.
Okusinziira ku kiwandiiko ekivudde mu palamenti, omulambo gwa Namaganda gwakutuuka mu palamenti ku ssaawa nnya ez’okumakya abantu bagukube eriiso evvanyuma ate…
Poliisi eyiiriddwa ku ddwaliro ekkulu e Kabale oluvanyuma lw’okukitegerako nti owa Go Forward Amama Mbabazi wakukyalako ku ddwaliro lino.
Okusinga abajaasi bali ku muggukiro gw’eddwaliro lino .
Poliisi egamba talina lukusa
Mbabazi era yeganye ebigambibwa nti abadde abba obululu bwa FDC okulemesa Dr. Kizza Besigye okufuna obuwanguzi buli bw’abadde yesimbawo ku bwa pulezidenti.
Mbabazi agenze mu maaso neyesammula eby’okukwatagana…
Sipiika wa palamenti Omukyala Rebecca Kadaga akungubagidde abadde omubaka omukyala owe Bukomansimbi Suzan Namaganda.
Namaganda ng’abadde atuula ku kakiiko k’ebyobulimi mu palamenti afudde oluvanyuma lw’okufuna akabenje mu kiro ekikesezza olwalereo ku luguudo lwe Masaka.
Kadaga agambye nti enteekateeka z’okuziika ziggya kuba nga zirangirirwa akadde konna.
Bbo ababaka ba palamenti abatali bamu baweerezza obubaka obukungubagira Namaganda
Omubaka omukyala owe Luweero…
File Photo: Omukazi nga akaaba
Ekibiina ky’abakaabi ekya Kumasi funeral services kyongezezza ebisale by’okukaabira ku mikolo oluvanyuma lw’okubinikibwa emisolo emipya
Akulira ekibiina kino ekisimbye amakanda mu Ghana, ategeezezza nti bamaze emyaka etaano nga tebongeza bisale kyokka nga kati kibasusseeko.
Omukulu ono agambye nti bassa ensimbi nyingi mu kutendeka abakaabi okusobola okusikiriza ba kasitoma
Emiwendo gya bano bw’oba oyagala okukaaba…
Uganda olwaleero yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’eddembe ly’obuntu olutambulidde ku mulamwa ogugamba nti ddembe lyaffe lubeerera.
Olunaku lukwatiddwa nga alipoota eyakafulumizibwa eraga nti poliisi yeeyakasinga okulinyirira eddembe ly’abantu.
Akulira ekitongole kya poliisi ekikola ku ddembe ly’obuntu Dr John Kamya agamba nti nabo oluusi batendewalirwa nebakozesa amaanyi ku bantu naddala ssinga wabaawo okusikattira.
Asabye abasirikale ba poliisi…
Akulira PDP Dr. Abed Bwanika asuubizza bannayuganda okubazimbira ebisaawe by'ennyonyi ebirala bibiri e Mutukula ne Arua okutumbula eby'obusuubuzi by'eggwanga n'amawanga amalala.
Bino abyogedde atalaaga disitulikiti ye Mpigi olw'eggulo lwa leero.
Ng'ayimiriddeko e Kayabwe ne Buwama, Bwanika era asuubizza eby'enjigiriza eby'obwereere okuviira ddala ku P.1 okutuuka ku siniya ey'omukaaga, ate nga buli muyizi waakufunanga kompyuta ey’obwereere.
Ono era yennyamidde…
Eyesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga Joseph Mabirizi asabye ensonga y’endagamuntu ekolebweeko mu bwangu kubanga eyinza okuleeta akavuyo mu kulonda.
Mabirizi agamba nti gavumenti yasooka kusuubiza nti abalina kaadi beebagenda okulonda kyokka neyefuula ekirabise okukosa abantu abawera
Ono awakanyizza ebigambibwa nti yayimirizza mu kampeyini ze olw’ebbula ly’ensimbi ng’agamba nti yetegekera omulimu guno emyaka 10 emabega kale nga tayinza kulemererwa
Abalwadde ku ddwaliro e Mulago balayidde okwekalakaasa olw’engeri abasawo gyebabayisaamu.
Abalwadde bano bagamba nti kati abamu bamala ennaku nnya awatuukirwa nga teri abayambyeeko yadde okukeberebwa
Abamu ku betwogeddeko nabo bagamba nti obulumi bususse.
Abalwadde abeemulugunya kuliko abafunye obubenje n’abeetaga obuyambi obwa mangu.
Ye omwogezi we dwaliro Enock Kusaasira asuubizza okulondoola ensonga eno kubanga babadde tebannaba kufuna kwemulugunya kwonna
Gavumenti esabiddwa okwongera okubangula abantu ku ngeri y’okukwatamu abantu abalina obulwadde bwa mukenenya.
Akulira ekibiina ekigatta abalina mukenenya Dora Kikyonkyo agambye nti abantu bangi abalina mukenenya naddala abakyala bakyaboolebwa nga bangi babalaba ng’abenzi.
Agambye nti bangi tebafiibwaako, tebafuna bujjanjabi ate nga tebafuna na bubaka bwetaagisa
Prof Ben Twinomugisha omusomesa e Makerere agamba nti bannayuganda tebategeera ddembe lyaabwe kati…