Omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka eyawumula Kibuuka Musoke alaze obweralikirivu olw’abalabbayi abeyongedde mu ofiisi za gavumenti.
Omulamuzi kibuuka bino y’abyogeredde ku mukolo gw’okumusiima mu kulwanyisa obuli bw’enguzi n’okubeera omwerufu mu mirimu gye nga tannawumula.
Omulamuzi Musoke awadde eky’okulabirako eky’abaserikale ba poliisi abalina okukwasisa amateeka wabula nebadda mu kulya nguzi okuva eri abawaaba emisango nebebawawabira,
Abalala abasiimiddwa kuliko…
Gavumenti esobodde okununula obuwumbi 16 okuva mu mikono gy’abakulu abalya enguzi
Kaliisoliiso wa gavumenti Irene Mulyagonja agamba nti ensimbi zino zinunuddwa okuva mu mwaka oguwedde okutuuka kano
Kino bakikoze nga bayita mu kunonyereza n’okutega obutego obukwata abali b’enguzi.
Mulyagonja mugumu nti mu myaka egijja bajja kwongera okununula ensimbi endala n’okukendeeza ku buli bw’enguzi
Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde abadde omubaka omukyala owe Bukomansimbi Susan Namaganda.
Amyuka katikkiro ow’okusatu owe Apollo Makubuya agamba nti Namaganda afudde muto kyokka ng’alese omukululo.
Yye Nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa alumbye gavumenti olw’obutakola kimala kulaba nti amateeka ku mwenge gassibwa mu nkola.
Nankabirwa agamba nti abantu bangi bavuga batamidde ng’eyabadde avuga Taxi bweyabadde kyokka nga tewali bibonerezo…
Omubaka wa municipaali ye Mukono Betty Nambooze awaabye munne bwebesimbyeewo Hajati Fatuma Nabitaka owa NRM ng’amulanga butaba na bitabo.
Nambooze agamba nti Nabitaka yakoma mu siniya ya kusatu n’atandika okusomesa nasale kyokka oluvanyuma n’agobwa ku ssomero lya Kiwanga Umea.
Nambooze agamba nti bategese balooya baabwe abakulembeddwamu omubaka Medard Ssegona okulaba nti omukyala ono teyefuula ky’atali.
Nambooze ky’ayagala omukyala…
Akutte bendera ya FDC Dr Kiiza Besigye alumbye abatwala eby’okwerinda ku ma gombolola olw’okweyingizanga mu byobufuzi n’okulemesa enkungaana ze.
Besigye bino abyogedde ayogerako eri abantu be at Bugogo, Hapuyo ne Kyegegwa.
Besigye agamba nti abantu bano balina okuba abakozi ba gavumenti kyokka babivaako dda kyebakola kutiisatiisa bantu
Ono era yeemuzizza pulezidenti engeri gy’agenda okusakirira ebibinja by’abanywi b’amalwa nga…
Akakiiko akalondesa kasabye poliisi mu bwangu okunonyereza ku ffujjo eryakoleddwa mu disitulikiti ye Ntungamo olunaku lwajjo.
Akakiiko kano kavumiridde ekikolwa kino nga kagamba nti kiyinza okwongera obuvuyo mu bitundu ebirala.
Akakiiko era katandise okufulumya enkalala okuli ebifo ebigenda okukolndebwaamu ebye’enkomeredde
Abalonzi bbo bawerera ddala obukadde 15 okusinziira ku bifulumiziddwa era ng’abesimbyeewo bonna bakuweebwaako ku nkalala zino.
Akulira akakiiko Eng…
E Pallisa abantu 2 bakubiddwa amasanyalaze agabatiddewo bwebabadde betegeka ekifo ewabadde wagenda okubeera embaga.
Abalala 6 bali mu ddwaliro lye Pallisa bapooca.
Omunaana bano amasanyalaze gabakubye banjuluza weema omwabadde ewokutuula abagenyi b’abagole okuli John Mwanika, avuga emmotoka za poliisi ne mukyalawe Topista Namuzungu
Bano tenti yakoonye ku waya z’amasanyalaze negabakuba
Aduumira poliisi ye Bukedi Andrew Kaggwa akakasizza enjego eno…
Abatuuze mu disitulikiti ya Abim basazizzamu akediimo kaabwe kebabadde bategese okulaga obutali bumativu bwabwe ku ky’okuwumuza abasawo 3 abalambuza Dr. Kiiza Besigye eddwaliro lya disitulikiti nga liri mu mbeera mbi.
Abatuuze bano basazizzamu akediimo kano oluvanyuma lw’omuwandiisi wenkalakalira Dr. Asuman Lukwago okuvumirira ekiteeso ky’okuwummuza abasawo bano.
Dr. Lukwago y’alagidde abasawo bano baleme kukwatibwako kubanga gwemulundi gwabwe ogwasoose…
Kkooti enkulu egobye okusaba kw’eyali akulira bambega b'amaggye Gen. David Sejusa ng'asaba obutaddamu kumusindika ku mirimu gyonna.
KKooti agamba tebakitegeera oba ssejusa akyali mujaasi oba nedda.
Amyuka omuwandiisi wa kkooti Festo Nsenga agobye okusaba kwa Sejusa ng'agamba nti tasobola kusalawo ku nsonga yakuwumula kwa sejusa nga balina okusooka okuwulira obujulizi okuva ku njuuyi zombi.
Omulamuzi Lydia Mugambe akadde konna…
Ab’ekibiina kya FDC bakkatirizza nga bwebatagenda kuva kunkola yaabwe ey’okuwandiisa abantu kkumikkumi ku buli kyalo abagenda okukuuma akalulu kaabwe.
Ekkumi bano balina kubeera batuuze ku kitundu nga era webalondera.
Olunaku olw’eggulo ssabaduumizi w’amagye g’eggwanga Gen Katumba Wamala yalabudde abesimbyewo bonna obutageza kutondawo bubinjabwebuti kubanga bujja kuleeta akavuyo.
Mu kumwanukula,ssentebe w’ekibiina kya FDC Wasswa Biriggwa ategeezezza bannamawulire ng'ekibiina kye…