Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

abagambibwa okutega bbomu babyegaanye

Abasatu ku bagambibwa okutega bbomu ezatta abasoba mu 70 mu mwaka gwa 2010 olwaleero bewozezzaako nebegaana byonna ebibasibwaako. Muzafar Luyima yegaanye okukweka aabakkiriza okutega bbomu zino okuli Idris Nsubuga ne Hassan Haruna Luyima. Muzafar Luyima agamba nti tekolagana ngako na bantu bano ababiri yadde okubayambako mu ngeri yonna. Yye Mohamad Hamidu Suleman munnansi wa Kenya agambye nti yye…

Read More

aba NRM basekera mu kikonde- Tuddamu okuwangula

Omukugu mu nsonga z’ebyobufuzi oagamba nti okunonyereza okwakoleddwa nga kulaga nti pulezidenti Museveni akyaleebya banne kusaana kwetegereza Kiddiridde abavuganya okuwakanya ebizuuliddwa nga bagamba nti tebikwatagana na byebakungaanyizza. Kati prof Mukwaya agamba nti ensonga z’abavuganya zirimu eggumba era zisaana kwetegerezebwa. Mukwaya agamba nti engeri eby’obufuzi nga gyebitambula, kyeyoleka nti kizibu okufuna ebituufu mu kadde kano kubanga abantu batya okwatuula…

Read More

Bagaanye oksuengulwa

Abatuuze abaakosebwa enteekateeka y’okugaziya oluguudo oluva e Bulima okudda e Kabwoya mu disitulikiti y’e Hoima baweze okulemesa enteekateeka z'okutandika omulimu gw'okukola oluguudo luno okujjako nga bamaze okuliyirirwa. Oluguudo luno olugenda okuddabirizibwa luyunga Hoima ku Kigumba ne Kyenjonjo mu Tooro. Omu ku batuuze abali mu kitundu ekyo Abdul Kajura agambye nti wadde ng’omukulembeze w’eggwanga yalagira nti omulimu gutandike,…

Read More

Supreme Mufti alayiziddwa

Supreme mufti wa Uganda omuggya Sheikh sulaiman Kasule Ndirangwa alayiziddwa okutandika emirimu gye. Ndirangwa yalondebwa olukiiko lwa ba maseeka okudda mu kifo ky’omugenzi Sheikh Zubair Kayongo eyafa mu w’okuna gw’omwaka guno. Emikolo gino gyetabiddwaako abanene mu gavumenti ya wakati , eya Buganda, abakuuma ddembe n’abantu ba bulijjo era nga gibadde ku kasozi ke Kibuli. Ng’ayogerako eri abakkiriza, Supreme…

Read More

Obubenje ku nguudo bukaaye

Poliisi mu bitundu bye Bukedi esabye abatuuze okwongera okubeera bulindaala ku nguudo okwewala obubenje bwokunguudo mu biseera by’ennaku enkulu.   Aduumira poliisi ye Bidduka mu kitundu kino  Paul Okong agmaba abakozesa enguudo basaanye okwegendereza kubanga bangi baba bapapa okwewuna obudde.   Alabudde bonna abagobe b’ebidduka okwewala okwesiwa amagengere nga bavuga emmotoka kuibanga kivaako obubenje.

Read More

Omubbi bamusse nebamwokya

Waliwo abatuuze ku Kaija village mu disitulikiti ye Masaka abakkakanye ku musajja gwebatebereza okubeera omubbi nebamutta. Omugenzi ategerekese nga  Bosco Ssenyonjo omutuuze we Bulando e Masaka. Kigambibwa nti Ssenyonjo ne munne omulala eyasimatuse balumbye ekyalo nebabba ente 2 era baamukutte ayolekedde lufula yefuniremu ezamangu nebamuligita emigoba nte nebamutta omulambo gwe nebagukumako omuliro.

Read More

Omukazi atuze omwana we

Poliisi ye Malaba eriko Maama gw’ekutte lwakutuga mwanawe omulambo n’agusuula mu kabuyonjo.   Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Bukedi Michael Odongo agamba  Stella Adong 30 nga mutuuze we Asinge B mu tawuni ye Malaba ateberezebwa okukka muwalawe ow’omwaka 1 Hadjah Birigwa  mu bulago n’amutuga nga era omulambo gwe gwasangiddwa gutengejera mu kinya kya kabuyonjo.   Agamba bino byonna…

Read More

KCCA erabudde ku misolo

Nga ebula mbale omwaka guno okuggwako, ekitongole kya KCCA kilabudde bananyini bizinesi abakyalemeddwa okusasula emisolo gyakyo bakikole bunambiro oba ssi kkyo omwaka omupya bakuguyingira nga baggale.   Akulira abakozi mu KCCA  Jennifer Musisi agamba abasuubuzi bangi batuulidde emisolo kale nga bamenya mateeka gatwala ekibuga.   Etteeka lya KCCA enyingo namba 50 liwa KCCA obuyinza okuggya omusolo ku bananyini bizimbe…

Read More

NRM ereebya abavuganya- Kunonyereza

Okunonyereza okwakoleddwa nekulaga nga ekibiina kya NRM bwekikyaleebya kukyagyamu ebibiina by’obufuzi ebivuganya  omwasi. Okunonyereza kuno kwakoleddwa abakampuni ya infortrax okuva e Kenya wamu n’olupapula lwa Dily Monitor era kwalaze nga puklezidenti Museveni bw’akyaleebya banne n’ebitundu 57%,. Wabula ye omwogezi w’ekibiina kya FDC Ibrahim semujju Nganda alina akakunkuna mu kunonyereza kuno. Ye omwogezi wa DP keneth Paul Kakande agamba…

Read More

Disitulikiti empya zijja- Museveni

File Photo:Museveni nga yogeerako eri abantu Pulezidenti Museveni asuubizza okutondawo disitulikiti endala empya mu mwaka 2017 ssinga addamu okulya entebe. Ng’ayogerako eri abantu be Manafwa, Museveni agambye nti wakujjawo nnati gyeyalangirira nti teri kuddamu kutondawo disitulikiti mpya Mu mwaka gwa 2013, gavumenti yassa ekkomo ku kutondawo disitulikiti empya lwa nsonga ya nsimbi Wabula museveni agambye abe Manafa wakubongera disitulikiti…

Read More