Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Sheikh Ndirangwa ye Supreme Mufti

File Photo:Ndirangwa eyalondewa ku bwa Mufti Sheikh Silman Kasule Ndirangwa ye supreme mufti wa Uganda omuggya Sheikh Ndirangwa alondeddwa olukiiko lwa ba maseeka olutudde olunaku lwaleero. Ndirangwa azze mu bigere bya Shiekk Zubair Kayongo eyafa mu gw’okuna gw’omwaka guno. Sheikh Ndirangwa wakumyukibwa Sheikh Mohmoud Kibaate ne  Sheikh Habiib Kabasa. Yye Hajji Muhammad Kisambira y’amyuka ssentebe omuggya Bino birangiriddwa Sheikh Annas Kaliisa Ng’amaze…

Read More

Emotoka ziyoolebwa

File Photo: Taxi ngaziri mu park Poliisi y’ebidduka wano mu Kampala ekyagenda mu maaso n’okukwata emmotoka ziganyegenya n’abavuga nga tebalina pamiti nga ennaku enkulu zisemberera. Olunaku lw’eggulo bangi baagudde mu kitimba nga n’abamu baasangiddwa nga baakubwa engasi olw’emisango gyokunguudo wabula nebatasasula. Kati aduumira poliisi y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano Norman Musinga agamba olwaleero bakuyigga ababodaboda…

Read More

Ababikiddwa ekizimbe baziranyizza abantu

File Photo:Ekizimbe ekyabubye abantu Ab’enganda z’abantu abaabikiddwa ekizimbe e Kansanga nebafa batandise okweyiwa ku ggwanika ku ddwaliro ekkulu e Mulago okuddukira emirambo gy’abantu baabwe. Abagenzi bategerekese nga  Collins Sserugo, Paul Ochen, Musa Bob, Bernard Kabale ne  Robert Kakeeto. Wabula abakungubazi banyiivu olwa kampuni enzimbi eya Baleke Constructors obutafa ku bantu baabwe ettaka nelibaziika sso nga tebabayambye na ku…

Read More

Nanyini taxi eyasse omubaka akunyiziddwa

File Photo: Omugenzi Namaganda Nanyini taxi eyatomera  omubaka Susan Namaganda n’afa akunyiziddwa poliisi bw’abadde akola sitetimenti wali ku poliisi e Kibuli. Passical Ssenyonga  awaddeyo ebikwata ku dereeva wa taxi eno eyavaako akabenje akatta omubaka. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Ssezibwa Philip Mukasa  agamba bakulondoola buli ekitereddwa mu sitetimenti eno wabula nga ssibakubyatula mu lujudde okusoboloa okunonyereza obulungi. Mukasa…

Read More

Omukazi afumbiddwa abasajja babiri

File Photo:Empetta za bagoole Abasajja babiri mu ggwanga lya Kenya bakkiriziganyizza okuwasa omukyala omu. Sylvester Mwendwa ne Elijah Kimani bawasizza Joyce Wambui. Omukyala ono ali mu myaka 20 namwandu era Nalongo ng’abadde n’abasajja bano okumala emyaka ena n’alemererwa okulondako Bano bakkiriziganyizza nti omukyala ono bw’anazaala abaana, bajja kuba baabwe bombi era nga katia genda kubasalira biyungu

Read More

Namaganda aziikiddwa- omusika we alabise

Abadde omubaka omukyala owe Bukomansimbi Susan Namaganda amaze okuziikibwa ku biggya bya bajjajja be Kisojo mu Kibinge. Namungi w’omuntu okuba bannabyabufuzi, bannaddiini, n’abakulembeze abatali bamu beebawerekedde Namaganda okumugalamiza mu nyumba ye ey’olubereera. Ng’ayogerako eri abakungubagizi, Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga agambye nti Obuganda ne Uganda bufiiriddwa omukazi abadde omukozi ate afaayo ku bantu be. Asabye n’abagoba…

Read More

abaana basirikkidde mu muliro

Abaana 2 bafiiridde muliro ogukutte enyumba. Abafudde kuliko Lucky Achan ne Esther Achan ate ng’abalala babiri nabo bali ku ndiri nga bonna babadde batuuze be Bweyogerere Bukasa . Okusinziira ku maama w’abaana bano Pascal Achan ,basanze akadomola ka petulooli ku makya ebweru w’enyumba nga kisoboka okuba nti ow’omutima omubi yeeyakoze kino. Achan ayongerako nti taata w’abaana bano yabasuulawo…

Read More

Bataano babikiddwa ekizimbe nebafa

Abantu bataano beebafudde ettaka bweribuutikidde abazimbi ku kizimbe e Kansanga. Omu ku bakawonawo ategerekese nga Charles Mukwana agamba nti babadde basima musingi ettaka neribabikka. Mukwana agamba nti ekizimbe kino kibadde kumpi n’omwaala kyokka nga tebategedde nti amazzi ganafuyizza omusingi. Abagenzi bategerekese bategerekese nga Collins Sserugo, Paul Ochen, Musa Bob, Bernard Kabale ne Robert Kakeeto. Atwala poliisi ye Kabalagala Bernard…

Read More

Bamalaaya balabuddwa

Abakyala abakuba obwa malaaya basabiddwa okuva ku mulimu guno kubanga gubatyoboola. Omubaka wa pulezidenti mu Kampala Deborah Mbabazi  agamba nti abakyala abalaaya basobola bulungi nnyo okufuna emirimu emitonotono nebeyimirizaawo mu kifo ky’okutunuulira emibiri gyaabwe Mbababazi agamba nti abakyala bano bafuna ebizibu bingi omuli endwadde n’obulumbaganyi ng’abamu batuuka n’okubatta kale ng’okusigala mu mulimu guno kimenya Mu ngeri yeemu poliisi…

Read More

Abaana basirikkidde mu muliro

Abaana 2 bafiiridde muliro ogukutte enyumba. Abafudde kuliko Lucky Achan ne Esther Achan ate ng’abalala babiri nabo bali ku ndiri nga bonna babadde batuuze be Bweyogerere Bukasa . Okusinziira ku maama w’abaana bano Pascal Achan ,basanze akadomola ka petulooli ku makya ebweru w’enyumba nga kisoboka okuba nti ow’omutima omubi yeeyakoze kino. Achan ayongerako nti taata w’abaana bano yabasuulawo…

Read More