Gavumenti esabiddwa okulwanyisa obuli bw’enguizi mu poliisi y’okunguudo okusobola okulwanyisa obubenje ku nguudo.
Nga akulembeddemu emmisa y’okusabira omwo gw’omubaka omukyala owe Bukomansimbi Susan Namaganda ku lutikko e Lubaga, Msgr Charles Kasibante ategezezza nga obuli bw’enguzi bwebuviriddeko obubenje okweyongera ku nguudo.
Ategezezza nga abagoba b’ebidduka abatalina bisanyizo n’abavuga emmotoka zi ganyegenya bwebeyibaala olw’ekyojja mumiro kyebawa abaserikale ababayimiriza olwo…
ab’ekibiina kya DP ky’ejje bategeeza nga bwebatamatidde nfa ya Muntu waabwe.
Ssenkaggale w’ekibiina kya DP Norbert Mao agamba ebikwata ku kabenje Namaganda mweyafiiridde kaliko ebibuuza bingi.
Mao aweze nga bwebaggya okuvaayo ne alipoota eyaabwe singa gavumenti tevaayo na alipoota nambulukufu kun fa ya Namaganda.
Mao yegatiddwako taata w’omugenzi Wasswa Mugenyi ayagala okumanya ekyavuddeko akabenje kano.
Mungeri yeemu ssentebe w’akabondo…
Poliisi ezudde nanyini Taxi eyavuddeko akabenje omwafiiridde omubaka Susan Namaganda.
Pascal Senyonga mutuuze we Mutundwe mukaseera kano police emuyise okunyonyola ebisingawo ku taxi ye.
Poliisi egamba nti byeyakafunawo biraga nti Namaganda kirabika yattibwa buttibwa, oba akabenje
Akulira poliisi y’ebidduka mu ggwanga Steven Kasiima agamba kati bakolagana n’abakugu okumanyira ddala ekituufu.
Agamba bazze bayita nanyini taxi eno yeyanjule eri poliisi…
Uganda yakugenda mu maaso okutabaganya gavumenti ya Burundi n’abagivuganya oluvanyuma lw’obulumbaganyi obwakoleddwa ku nkambi y’amaggye omwafiiridde abantu abasoba mu 80.
Omukago gwa East Africa gwawa Uganda obuvunananyizibwa buno okuva mu mwezi ogwokutaano omwaka guno nga era minisita w’ebyokwerinda y’azze atuuza enjuuyi zombi.
Kati minisita omubeezi akola ku nsonga z’amawanga g’ebweru Okello Oryem agamba bakugenda mu maaso n’enteseganya…
Eyesimbyewo ku lulwe Amama Mbabazi ayimirizza enkungaana ze zonna okusobola okukungubagira omugenzi Suzan Namaganda.
Mbabazi abadde alina okukuba enkungaana e Isingiro, Ruhama ne Kanungu.
Mu kiwandiiko ky’afulumizza , Mbabazi ategezezza nga bw’agenda okudda mu kampeyini ku lunaku lwokuna.
Mungeri yeemu Besigye ayolekedde Kyegegwa oluvanyuma lw’okutalaaga Mubende olunaku lw’eggulo.
Gavumenti esabiddwa okulwanyisa obuli bw’enguizi mu poliisi y’okunguudo okusobola okulwanyisa obubenje ku nguudo.
Nga akulembeddemu emmisa y’okusabira omwoyo gw'abadde omubaka omukyala owe Bukomansimbi Susan Namaganda ku lutikko e Lubaga, Msgr Charles Kasibante ategezezza nga obuli bw’enguzi bwebuviriddeko obubenje okweyongera ku nguudo.
Ategeezezza nga abagoba b’ebidduka abatalina bisanyizo n’abavuga emmotoka zi ganyegenya bwebeyibaala olw’ekyojja mumiro kyebawa abaserikale ababayimiriza…
Waliwo abakwata mmundu abatandise okuwandagaza emizinga ku nkambi z’amaggye ezitali zimu mu ggwanga lya Burundi.
Omwogezi w’amaggye mu ggwanga lino ategeezezza ku bano 12 babadde battiddwa ate abasoba mu 20 nebakwatibwa
Abantu bategeezezza nti bawulidde emizinga nga givuga okumala essaawa nga n’amasasi gesooza
Buno bwebulumbaganyi obwakasinga okuba obwa maanyi okukolebwa bukyanga gavumenti y’omukulembeze aliko Pierre Nkurunziza okugezaako okuvuunikibwa
Ab’ekibiina…
Abagoba ba biroole e Mbale bagaanye okusabaaza abawagizi ba pulezidenti Museveni okubatuusa mu bifo pulezidenti gy’ali
Ba dereeva bano nga bakulembeddwamu Shaban Kitende bagamba nti bakooye okukozesebwa nebasuulibwa emabbali nga y’ensonga lwaki basazeewo okusigala ku mirimu gyabwe
Kitende agambye nti paaka webaali basimba biroole byaabwe yatundibwa nga tebayambiddwa kukola mirimu kyokka nga kati bagaala okubayingiza mu byobufuzi.
Wabula…
Abantu ba Ssabassajja basabiddwa okuba abamalirivu nga basonda ettofaali ly’okuddabiriza enyanja ya Kabaka esangibwa mu Ndeeba .
Bino byogeddwa amyuka Katikkiro asooka era nga ye minisita w’ensonga z’ebweru w’egwanga Ambassodar Emmanuel Ssendawula.
Bw’abadde alambuza obuganda omulimu gw’okuddabirizza enyanja eno owekitiibwa Ssendawula ategezezza nga omulimu guno gwakolebwa bamusiga nsimbi mu ggwanga n’ebweru gusobole okuggwa mu bwangu.
Asabye abantu ba…
Gavumenti yenyamidde olw’obubenje obweyongedde mu nnaku enkulu.
Minisita akola ku byenguudo n’entambula Asuman Kiyingi ategeezezza mu myaka ena egiyise abantu omutwalo gumu mu enkumi bbiri beebakafa ate ng’abalumiziddwa bayisa mu mitwalo etaano.
Minisita asabye abantu okwongera okubeera abegendereza ku nguudo naddala nga kati tuli mu nnaku enkulu.
Kati gavumenti etegese ssabbiiti namba okukubangula abantu ku ngeri y’okwetangiramu obubenje.