Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ebya Master Blaster biranze

File Photo:Omuyimbi Master Blaster abangi webamanyi nga teacher Minisitule ekola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga  egamba nti tennaba kufunako alipoota ya poliisi yonna ku ky’aba Sudan abagambibwa okutta omuyimbi Master Blaster. Blaster yakubwa masasi abagambibwa okuba aba Sudan. Kino kyavaako abantu be Bwaise okwekalakaasa nga bavumirira ekya gavumenti butabaako ky’ekola ku bantu abatta omuntu waabwe Minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga Henry…

Read More

26 bafiiridde mu bikujjuko

File Photo: Fred Enanga Abantu abasoba mu 26 beebattiddwa mu bikujjuko by’okwaniriza omwaka omuggya okwetoloola eggwanga lyonna. Okusinziira ku poliisi , tewabaddewo nnyo mivuyo giri awo yadde nga mu bitundu ebimu waliwo ettemu eryalabiseeko. Omwogezi wa poliisi mu mu ggwanga  Fred Enanga agamba nti okufa okusinga kwekuusa ku bukubagano mu maka n g’abantu munaana beebabufiiramu ate bana bbo…

Read More

Enkoko ebatabudde

File Photo:Enkoko nga ziri mu kiyumba Waliwo omusajja agudde ku mukazi we n’amunyola ensingo kumpi kwagala kumutta ng’amulanga kugenda waabwe n’atakomawo na nkoko. Rema Nalweyiso omutuuze we Makindye Luwafu amaze ne bba emyaka 4 era ng’abadde agenda ewaabwe era n’adda n’enkoko kyokka nga ku luno teyareese Omusajja ono ategerekese nga John Mulumba yalumirizza mukyala we obutatuuka waka era…

Read More

Saudi Arabia esaze enkolagana ne Iran

File Photo: Omu kubakulembeze ba Iran Eggwanga lya Saudi Arabia lisazizamu enkolagana yaalyo n’eggwanga lya Iran oluvanyuma lwa Saudi Arabia okuttira ku kalabba omukulembeze w’abashia nga kino kyekiwayi ky’abasiraamu abasinga obungi mu ggwanga lya Iran. Minisita wa Saudi Arabia ow’ensonga z’ebweru  Adel al-Jubeir y’alangiridde kino oluvanyuma lw’abekalakaasi okulumba ekitebe ky’eggwanga lya Saudi Arabia mu Tehran mu kwekalakaasa. Sheikh…

Read More

Asse nyina n’amuziika mu lusuku

File Photo: Police nga ekola ogwayo Poliisi ye Ibanda eriko omusajja ow’emyaka 20 gwekutte lwakutta nyina ow’emyaka 57 n’amuziika mu lusuku lw’amatooke. Okunonyereza kwa poliisi kulaze nga  David China bweyakubye nyina Colombo ekiti ku mutwe n’amutta. Akulira okunonyereza klu buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Ibanda  Grace Devis Pande  agamba bagenze okuzikula omulambo nga gwegwanyina gwenyini. Tekinategerekeka lwaki omusajja ono…

Read More

Ayokedde abaana mu nju

File Photo:Enyumba nga ekutte omuliro Poliisi eriko omusajja gwekutte lwakwokyera abaana 5 mu nyumba. Aberabiddeko n’agaabwe bategezezza nga omusajja ono ow’emyaka 30 amanyiddwa nga Denis Okema bweyamansizza petuloli mu kasiisira omwabadde mwebase mukyalawe n’abaana baabwe n’akatekera omuliro. Bino byabadde ku kyalo  Opok A mu disitulikiti ye Nwoya district. Ye omukyala  Beatrice Akello 24 y’asobodde okwemulula n’adduka n’ebisago ebitonotono nga…

Read More

Ba dereeva abasoba 400 bakwatiddwa

File Photo: Dr Steven Kasiima nga yogeerako na bamawulire Abamenyi b’amateeka gokunguudo abasoba mu 400 bebayoleddwa mu bikujuko by’okumalako omwaka okwetololola eggwanga. Akulira poliisi y’ebidduka mu ggwanga  Dr Steven Kasiima ategezezza nga abantu 6 bokka bebafiridde mu bubenje wakati wa nga 31st December ne nga 1 January. Kasiima agamba emmotoka  384 zezayoleddwa nga ziganyegenya. Obubenje okukendeera akitadde ku basajja…

Read More

Okukubisa obululu kutandise

File Photo: Sam Rwakoojo ngali ne Kigundu Akakiiko k’ebyokulonda kategezezza nga bwekatandise okukubisa obululu obugenda okukozesebwa mu kulonda kw’awamu okwomwezi ogujja. Ssabwandiisi w’akakiiko kano  Sam Rwakoojo  agamba obukonge buno bwakutuuka mu ggwanga essaawa yonna nga bannayuganda betegekera okusuula obululu bwabwe okuva nga 18 February okutuusa nga 10 omwezi ogwokusatu ku bifo ebyanjawulo. Mungeri yeemu emikutu gy’amawulire gisabiddwa okukola …

Read More

Mbuga bamututte mu kkooti

File Photo: Omuyimba Kayondo ne bba Sk Mbuga Omugagga w’omukibuga  Sulaiman Kabangala Mbuga  amanyiddwa enyo nga  SK. Mbuga atuusiddwa ku kkooti ye Makindye. Mbuga avunanibwa kutulugunya muganzi we omuyimbi Liela Kayondo eyamuggulako omuisango wabula oluvanyuma n’agyayo omusango nga agamba baategeraganye. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga olunaku lweggulo y’ategezezza nga omusango guno bwegwokugenda mu maaso kubanga tebanakakasa…

Read More

Mbuga ali ku kkooti

Omugagga w’omukibuga  Sulaiman Kabangala Mbuga  amanyiddwa enyo nga  SK. Mbuga atuusiddwa ku kkooti ye Makindye. Mbuga avunanibwa kutulugunya muganzi we omuyimbi Liela Kayondo eyamuggulako omuisango wabula oluvanyuma n’agyayo omusango nga agamba baategeraganye.   Omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga olunaku lweggulo y’ategezezza nga omusango guno bwegwokugenda mu maaso kubanga tebanakakasa oba Kayondo teyakoze sitetimenti nga bamusindikiriza.

Read More