Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Pulezidenti Museveni yeeyamye okutuukiriza

File Photo :Museveni ngayogerako eli abantu Pulezidenti Museveni alagidde abakulembeze mu kibiina kya NRM okugoberera ebisuubizo by’azze akola nga tannaba kubituukiriza. Museveni bw’abadde ayogerako eri bannamawulire agambye nti ebisuubizo ebisinga by’azze akola bikoleddwaako okuleka ebitono by’akwasizza ba RDC n’aba NRM. Ku ky’amasanyalaze, pulezidenti agambye nti kati eggwanga likola amasanyalaze agamala era ng’eggwanga lyakukoma okufuna ekibululu ssinga ne waya…

Read More

Amasanyalaze kati gafiiriza ggwanga

Gavumenti ya Uganda yakafiirwa obuwumbi 11 mu masanyalaze agakolebwa negatakozesebwa Okusinziira ku alipoota ya ssababazi w’ebitabo bya gavumenti, Uganda ekola amasanyalaze agaweza waati 685 kyokka ng’ekozesaako watts 550. Ssababazi w’ebitabo bya gavumenti John Muwanga agamba nti gavumenti yassa ensimbi mpitirivu mu kukola amasanyalaze gano ng’okubeerawo nga tegakozesebwa kifiiriza eggwanga ensimbi. Ssababazi alagidde gavumenti okukoma okukola amasanyalaze amalala okutuuka…

Read More

Nanyini ttaka attiddwa

Poliisi ye Luweero ekutte abantu babiri oluvanyu,a lw’omusenze okutabukira nyini ttaka n’amutema amajambiya n’amutta lwa nsonga za ttaka. Ayogerera poliisi mu kitundu kino Lamecka Kigozi atubuulidde nti omugenzi ategerekese nga Moses Kakooza nga ye nanyini ttaka attiddwa omusenze Moses Sebunya. Kigozi agamba nti enjega okubaawo kiddiridde ssentebe w’ekitundu kino okuyita bano bakkaanye, wabula Ssebunya azze na kiso…

Read More

Poliisi eyiiriddwa e Kotido

File Photo:Aba Police nga balawuna Poliisi n’amaggye biyiiriddwa mu kibuga kye Kotido nga eyesimbyewo ku lulwe Amama Mbabazi ateekateeka okukuba olukungaana lwe mu kitundu kino. Waliwo akasattiro mu kibuga kye Kotido nga poliisi eyiye bampi n’abawanvu kko n’abajaasi nga Mbabazi atalaaga disitulikiti eno. Mu kitundu kyekimu emmotoka ezitimbiddwako ebipande bya NRM zirabiddwako nga zeetala. Agavaayo era galaga nga aba…

Read More

Mbabazi alumbye Museveni- togula balonzi

File Photo: Mbabazi nga buza Museveni Eyesimbyewo ku bwa pulezidenti nga talina kibiina Amama Mbabazi ateeredde poliisi n’akakiiko k’ebyokulonda Akaka nga abalumiriza okubeeramu kyekubirira. Olunaku olw’eggulo ssabapoliisi w’eggwanga Gen.Kale Kaihura ne ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng.Badru Kiggundu baalabudde bonna abesimbyewo okwewala ebikolwa ebikuma omuliro mu bantu nga bakozesa n’obubinja obwabakubi b’emiggo. Wabula eyali ssabaminisita Mbabazi agamba bano buli kyebakola…

Read More

Aba M23 begaanye ebiri e Burundi

File Photo:Abayekeera ba M23 Abaali abayeekera ba M23 Rebel bafulumizza ekiwandiiko nga besamula ebigambibwa nti balina omukuno mu kitta kulwanagana okugenda mu maaso mu ggwanga lya Burundi. Eyali omwogezi w’abayeekera bano Iman Kadasha s agamba ebyayogeddwa ku lediyo lya Bufalansa bigendereddwamu kuttatana linya lyabwe sso nga bbo ebyokulwana babivaamu dda. Ono ategezezza nga bwebeneenya ensonga z’ebyobufuzi…

Read More

Museveni wakusasula abe Rwanda

File Photo:Meseveni nga ayambaza Kagame Emidaali Omukulembeze w’eggwanga era akwatidde ekibiina kya NRM bendera Yoweri Kaguta Museveni asuubizza okuliyirira abantu bonna abafiirwa ebyabwe mu kitta abantu ekyali e Rwanda mu 1994. Pulezidenti bino y’abisuubizza akuba olukungaana lwe olwasembyeyo mu disitulikiti ye Kabale era n’asekerera abasuubira nti aweddemu ssupu nti agenda. Ebikumi byabannayuganda ababeera ku nsalo eyawula Uganda ne…

Read More

SSente ezikyaliibwa mpitirivu- Ssababazi w’ebitabo bya gavumenti

File Photo:Omubalirizi wa Govumenti John Muwanga Ensimbi zikyagenda mu maaso n’okubulanakana mu minisitule ya  gavumenti ez’ebitundu. Kino kyeyolekedde mu alipoota ya ssababalirizi w’ebitabo bya gavumenti gy’awerezza sipiika wa palamenti nga buwumbi nabuwumbi tebumanyiddwako mayitire. Okusinziira ku alipoota eno obuwumbi 12 ku 30 ezitamanyiddwako mayitire zabulankanyizibwa mu minisitule eno nga nyingi zagendera mu bintu ebitaali ku mbalirira. Alipoota era eraze…

Read More

Mbabazi bamulemesezza e Kaboong

File Photo: Mbabazi ngali mukalulu Olukungaana olutegekeddwa owa Go Forward Amama Mbabazi luli mu lusuubo oluvanyuma lw’ekibinja kye okuweebwa amagezu okukyusa ekifo webagenda okukuba olukungaana luno Olukungaana luno lubadde lulina kubeera ku Boma grounds e Kaboong kyokka nga poliisi ebalagidde obutalukuba Wetujjidde mu mpewo ng’aba Mbabazi tebannaba kulangirira kifo kipya yadde ng’obudde bwa kempeyini buggwaako ssaawa 12. Akulira ekisinde…

Read More

Guardiola agenda mu Man City

File Photo: Omutendeesi Pep Gadiola Abadde atendeka tiimu ya Bayern Munich Pep Guardiola alangiridde nti wakulekulira omulimu guno atandise okutendeka mu Bungereza. Gyebuvuddeko ono yategeeza nti yali ssiwakwongerayo bbanga ly’ali mu Bugirimaani nga sizoni eno eweddeko. Guardiola agambye nti ayagala kubeerako mu kibuga ekipya mu Bungereza. Yadde tannaba kussa mikono ku biwandiiko, bangi bagamba nti agenda mu Mancity.

Read More