File Photo: Abayizi be makerere nga bekalakasa
Abayizi 2 bebakwatiddwa mu kwekalakaasa kw’abayizi b’e Makarere abemulugunya okubula ku nkalala z’abo abagenda okutikirwa.
Abayizi abanyikavu okusinga babadde bakola ssomo lya social sciences bagamba amanya gaabwe tegalabikako nga okutikira kusembedde sso nga buli kyetagisa baakimaliriza.
Akulembera abayizi ku ttendekero lino David Bala agamba yadde nga okwekalakaasa kuno tekunatabuka nyo, abatwala…
File Photo: Omugenzi Namaganda
Amyuka ssenkaggale w’ekibiina kya DP Fred Mukasa Mbidde ategezezza nga bweyapangisizza abonyereza ku misango ababe okwegatta ku poliisi okumanya ddala ekyavaako akabenje akatta mukyalawe Suzan Namaganda.
Bino Mbidde y’abyasanguzizza mu kutongoza kampeyini za Veronica Nanyondo nga ye muganda w’emugenzi aba DP gwebasimbyewo okumusikira.
Mbidde asabye banna DP bonna okuwagira Nnayondo okusobola okweddiza ekifo kino…
File Photo: Abed Bwanika owa PDP ngali mukalulu
Eyesimbyewo ku bwapulezidenti ku tikiti y’ekibiina kya People’s development party Presidential Dr. Abed Bwanika asuubizza okuteeka amanyi mu kukola zi tiles okuva mu mayinja enkumu mu bitundu bye Kyenjojo.
Bweyabadde akuba olukungaana e Kyenjojo, Bwanika yasabye bamulonde ku bwapulezidenti olwo ateeke ssente mu makolero ga tayilo abeeno bafune emirimu.
Bwanika…
File Photo: Abalongosa mudwaliro mulago
Minisitule y’ebyobulamu esabiddwa okwongera okulongoosa amalwaliro agajanjaba abalwadde b’emitwe.
Abakugu mu nsonga z’emitwe bagamba abalalu basukkiridde ku makubo lwa gavumenti kulemererwa kubakuumira mu malwaliro.
Omwogezi w’ekibina ekibudabuda abantu mu ggwanga Ali Male agamba abantu bano bafuukidde ddala ekizibu nga betaba mu buzzi bw’emisango okuli okulumba abayise wamu n’okugezaako okukwata abakyala.
Ono awadde eky’okulabirako ekye…
Abatuuze mu magombolola okuli Budde ne Bulo mu disitulikiti ye Butambala basattira olw’envunza ezibalumbye.
Isma Ssebunnya omutuuze ku kyalo Waduduma village mu bulo agamba amaka agasoba mu 30 ku byalo okuli Mpanga, Waduduma ne Kaalo bebakoseddwa okuva mu November w’omwaka oguwedde nga okusinga abaana bebafuuse ba mabebbere.
Akola ku byenkulakulana by’egombolola ye Budde Hamza Ndawula agamba kati…
File Photo:Emmerre eyononedwa mu hoteli
Abantu balaga enyiike mu ngeri za njawulo nnyo.
Kati omusajja atasobodde kuziika jjajja we asazeewo kugenda mu woteeri n’alya emmere gy’asinga okwagala n’omwenge.
Omusajja ono asoose kulya n’aggumira olwo n’atandika okupiika enkangaali n’okwekubya ebifananyi by’asizza ku mutimbagano ng’ategeeza abantu nti asazeewo kukungubaga bw’ati
Bangi abalese banyeenya mitwe.
File Photo: Aba Kcca mukisawe
Aba tiimu ya KCCA FC bakyagenda mu maaso n’okugula abazannyi okwongera okunyweeza tiimu
Kati aba KCCA basemberedde okuddamu okugula eyali muyizi tasubwa waabwe Herman Wasswa.
Wasswa yoomu ku baava mu tiimu eno mu gw’omukaaga gw’omwaka oguwedde
Ssinga Wasswa addamu okwegatta ku KCCA, wakukwatagana buto n’omutendesi Mike Mutebi ng’ono yoomu yamutendeka ko ng’ali mu Villa…
File Photo: Police nga ekola ogwayo
Poliisi ye Luweero ekutte abantu babiri oluvanyuma lw’omusenze okutabukira nyini ttaka n’amutema amajambiya n’amutta lwa nsonga za ttaka.
Ayogerera poliisi mu kitundu kino Lamecka Kigozi atubuulidde nti omugenzi ategerekese nga Moses Kakooza nga ye nanyini ttaka attiddwa omusenze Moses Sebunya.
Kigozi agamba nti enjega okubaawo kiddiridde ssentebe w’ekitundu kino okuyita bano bakkaanye,…
File Photo: Abamasanyaze nga bagadabiriza
Gavumenti ya Uganda yakafiirwa obuwumbi 11 mu masanyalaze agakolebwa negatakozesebwa
Okusinziira ku alipoota ya ssababazi w’ebitabo bya gavumenti, Uganda ekola amasanyalaze agaweza waati 685 kyokka ng’ekozesaako watts 550.
Ssababazi w’ebitabo bya gavumenti John Muwanga agamba nti gavumenti yassa ensimbi mpitirivu mu kukola amasanyalaze gano ng’okubeerawo nga tegakozesebwa kifiiriza eggwanga ensimbi.
Ssababazi alagidde gavumenti okukoma…
File Photo: Besigye nga wubira kubawagiribe
Poliisi ekozesezza omukka ogubalagala okugumbulula abakulu okuva mu kibiina kya FDC ababadde bakyaddeko mu nkambi omwassibwa abantu abagobwa ku kibira mu gombolola ye Teriet e Bukwo.
Ekibinja kino ekibadde kikulembeddwaamu Dr Kiiza Besigye kiri mu kuwenja bululu mu disitulikiti ye Bukwo era nga babadde bakyaddeko mu kitundu kino.
Bano basanze poliisi yazinzeeko…