Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Kiggundu alajaanye ku kulonda

Ssentebe wakakiiko kebyokulonda kuno Eng Badru Kiggundu agamba buvunyizibwa bwa buli omu okulaba nti okulonda kwa bonna kuba kwamirembe. Kiggundu abadde ayogerera mu musomo gwabakwatibwako wano mu Kampala. Agamby nti akakiiko kokka kubwa namunigina tekayinza kutegeka kalulu kamazima na bwenkanya awatali bantu balala kwenygiramu. Kati asubizza nti bbo bakolagana na buli omu okukakaksa nti wabaawo emirembe nasaba nabesimbyewo…

Read More

Abayizi abasoba mu mutwalo bakutikkirwa e Makerere

File Photo: Abayizi ba nga batikidwa Abayizi be Makerere abasoba mu 10,000 beebagenda okutikkirwa okuviira ddala nga 19 okutuuka nga 22nd January Omwogezi w’ettendekero lino Rita Namisango agambye nti abayizi bokka abaggya okutikkirwa byebasasudde ez’okutikkirwam abaakola ebigezo ne bayita ate nga bamaalayo ne fiizi. Namisango asabye abazadde n’abayizi okusigala nga bakkakkamu nga bwebamaliriza ebikwata ku bagenda okutikkirwa Asabye abagaala…

Read More

Namwandu wa Kasiwukira ayagala kweyimirirwa

File Photo: Namwandu wa Kasiwukira nga retebwa ku kooti Namwandu w’eyali omugagga mu kibuga Eria Ssebunya Kasiwukira azzeemu okusaba nti yeeyimirirwe. Ono ategeezezza nti obulamu bwe buzze bunafuwa nga takyasobola mbeera ya kkomera Sarah Nabikolo Ssebunya  okuva mu 2014 ng’ali ku alimanda e Luzira avunaanibwa kutta bba Eria Sebunnya Ku biwandiiko by’atadde mu kkooti ng’asaba yeeyimirirwe, omukyala ono ataddeko…

Read More

KCCA lwaki etimbulula ebipande byaffe- abesimbyeewo bakaaba

File Photo:Ekipande kya Mbabazi ekya kampeyini Ababaka ba palamenti okuva mu Kampala bavuddeyo nebemulugunya ku ngeri ebipande byaabwe gyebitimbululwaamu. Kino kizze nga KCCA ky’ejje yewerere abesimbyeewo ku kumala gatimba bipande nga tabasasudde. Ababaka okubadde Latiff Ssebagala, Moses Kasibante ne John Ssimbwa bagamba nti bakozesa ensimbi mpitirivu okutimba ebipande kyokka nebakeera nga byonna bitimbuludde KCCA eyagala buli kipande ekitimbibwa kisasulwe…

Read More

Omuyaga gw’enkyukakyuuka gutuuse- Mbabazi

File Photo: Mbabazi ngali mukalulu Eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi agamba nti ebigenda mu maaso mu ggwanga kabonero ka nkukunala nti omuyaga gw’enkyukakyuka gutuuse. Ng’aweja akalulu e Moroto mu bitundu bye Karamoja, Mbabazi agambye nti bingi ebikoleddwa gavumenti ya NRM okumulemesa kyokka nga tajja kuggwaamu maanyi. Agambye nti bannayuganda bonna kyeyoleka nti bagaala nkyukakyuka nga tewali…

Read More

Abeesimbyeewo ku bukulembeze banasindana

File Photo:Abesimbye wo kubwa presidenti mu 2016 Abesimbyeewo bonna ku bukulembeze bw’eggwanga bakakasizza nti bakwetaba mu kukubaganya ebirowoozo okutegekeddwa bannakyeewa. Omukago gwa bannadiini n’olukiiko lw’abakuliridde mu ggwanga beebategese okusindana kuno n’ekigendererwa ky’okuwa bannayuganda akadde okulondako omukulembeze omutuufu. Bano bakulembeddwamu akulira olukiiko omulamuzi James Ogoola agamba nti bamalirizza buli kimu era nga 15 omwezi lwelw’okutaano omwezi ogujja. Ogoola agamba nti…

Read More

Besigye asanyalazza Mbale

File Photo:Abawagizi ba Besigye Emirimu gisanyaladde mu tawuni e Mbale oluvanyuma lw’abawagizi b’akwatidde ekibiina kya FDC bendera  Col.Dr Kizza Besigye  okwekeja nga balindirira omuntu waabwe. Besigye ali mu gombolola ye Bugisu gy’ali mu kukuba enkungaana . Abawagizi ba Besigye balabiddwako nga bambadde engoye za langi eya bululu ey’ekibiina kya FDC nga bwebayimba enyimba eziwaana ekibiina kye. Wabula ne poliisi…

Read More

Omusango gwa Aine guzzeemu mu kkooti

File Photo:Ainne nga lwanagana ne polici Omulamuzi w’eddaala erisooka e Jinja Caroline  Kabugo  Byakutaaga n’atandika okuwulira omusango oguvunanibwa Aine ogw’okukuba abaserikale ba poliisi we Kazimingi mu Jinja omwaka oguwedde. Aine akiikiriddwa bapuliida be okuli Erias  Habakurama, Geoffrey Mangeni  ne Robert Esariat. Habakurama ategezezza kkooti nga bwebatamanyi mayitire ga untu waabwe. Wabula agambye nti bakwanze dda ssabapoliisi w’eggwanga Gen. Kale…

Read More

Ab’enganda za Aine bagumbye ku ggwanika

File Photo: Abenjanda ba Ainne ne Enanga ku gwanika Ab'enganda za Christopher Aine omu ku bakuumi b’eyesimbyewo ku bwa pulezident Amama Mbabazi bagumbye ku ggwanika e Mulago nga bagaala kumanya oba ddala omulambo gw'omuntu gwebaalabye ku mutimbagano Bano bawerekeddwako poliisi nga era bakulembeddwamu omusawo wa gavumenti Dr. Moses Byaruhanga. Wabula omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba…

Read More