File Photo:Omukulembeze wa Gambia nga yogeera
Gavumenti y’eggwanga lya Gambia eweze abakyala okuddamu okugenda ku mirimu nga tebebisse ku mitwe
Abakyala bano balagiddwa okusiba ku mitwe gyaabwe buli lwebagenda ku mirimu yadde nga tewali nsonga eweereddwa lwaki guno bweguli.
Omwezi oguwedde, omukulembeze w’eggwanga lya Gambia yalangirira nti eggwanga lino lyabasiraamu kubanga beebasingamu obungi.
Kyokka ono yali yakinogaanya nti tebajja…
File Photo: Kooti Enkulu eya Uganda
Kkooti ya City Hall eyisizza ekiwandiko ekiragira amaka omukuumirwa abaana e Naguru okuleeta omwana ow’emyaka 15 agambibwa okutta munne.
Ekiragiro kino kiyisiddwa omulamuzi w’eddaala erisooka Moses Nabende.
Omuwala ono agambibwa okutta omwana wa mulirwanwa ow’obulenzi ow’emyaka 5, abadde wakuleetebwa mu kkooti olwaleero naye tekikoleddwa ekiwalirizza omulamuzi okuyisa ekiragiro.
Wabula avunanyizibwa ku by’okutambuza abaana…
File Photo: Owa police nga kutte bodaboda etomedde
Poliisi ng’eri wamu ne minisitule ekola ku by’entambula etandise ku kawefube w’okukaliga ebibonerezo eri abamenya amateeka g’oku nguudo.
Kino kiddiridde poliisi okukizuula nti abazzi b’emisango gy’oku nguudo beyongera bweyongezi ekyongedde n’obubenje.
Kamisona wa poliisi akola ku by’entambula y’ebidduka Dr Steven Kasiima agamba nti bagenda kwongeza ssente z’engassi n’ebibonerezo eri abazzi…
File Photo: Abed Bwanika owa PDP ngali mukalulu
Akulira ekibiina kya PDP, Dr Abed Bwanika akolimidde abaganda olw’obutamulaga buwagizi nebakukuta n’abalala
Bwanika agamba nti mu kampeyini yonna gy’ayise abantu betegefu okumulonda kyokka nga bamukuutira ku ky’abaganda benyini obutamuwagira ekintu ekimuluma.
Bw’abuuziddwa oba by’ayogedde tebyawula mu mawanga, Bwanika agmbye nti kino akikoze okusaba Baganda banne akalulu kubanga kijja kubayamba…
File Photo : Sabaminisita wa Uganda
Gavumenti egamba nti tejja kukkiriza Muntu yenna agezaako kuleeta mivuyo mu kulonda okugenda okubaawo omwezi ogujja.
Ng’ayogerako eri bannamauwlire, ssabaminisita w’eggwanga Dr Ruhakana Rugunda agambye nti bafunye amawulire nti waliwo ebibinja ebitandise okukugaana nga byeyita ebikuuma obululu kyokka nga byagaala kukola mivuyo.
Rugunda era alabudde abavubuka okwewala ebibinja bino kubanga biriwo mu…
File Photo: Ba na Dp
Ab’ekibiina kya Democratic Party bakakasizza nga bwebagenda okusimbawo muganda w’omugenzi Suzan Namaganda ku kifo ky’omubaka omukyala ow’e Bukomnasimbi.
Ekifo kino kyasigala kikalu oluvanyuma lwa Namaganda okufa olw;ebisago byeyafuna mu kabaneje nga 11 December omwaka oguwedde.
Akola guno naguli mu kibiina kya DP Peter Sempijja ategezezza nti oluvanyuma lw’omuntu waabwe okusunsulibwa olunaku lw’enkya bakukuba…
File Photo: Mbabazi ngali nabawagizibe
Abamu ku batambulira ku yesimbyewo ku lulwe ku bwa pulezidenti Amama Mbabazi okuli abamukuuma balumiziddwa mu kabenje akagudde mu disitulikiti ye Moroto.
Bano babadde mu mmotoka kika kya Toyota Super custom evudde ku luguudo oluva e Moroto-Kaabong neyevulungula enfunda.
Banao babadde boolekera e Kaaabong Mbabazi gy’aalina okukuba olukungaana lw’okusaggula akalulu .
Bonna 8 babuuse…
File Photo: Nambooze nga buuka omuziziko gwa Police
Omubaka wa municipaali ye Mukono Betty Nambooze asoomozezza babaka banne okuteeka ensimbi mu by’obulamu by’ebitundu byebakiikirira.
Nambooze agamba ababaka bano bafuna ensimbi z’obujanjabi wabula absinga tebazikozesa kugasa bantu mu bitundu byabwe.
Agamba kikyamu okusindika amabugo amayitirivu nga abantu bafudde kale nga zisana kutekebwa mu kuzimba malwaliro.
Nambooze bino y’abyogeredde mu lukungaana…
File Photo: Omupiira gwe Motooka
Poliisi esabye ekitongole ekikola ku mutindo gw’ebyamaguzi okuttukiza okulondoola emipiira gy’emmotoka egiri ku katale okutaasa abagoba b’ebidduka amijingirire egivaako obubenje.
Akulira poliisi y’ebidduka mu ggwanga Dr. Steven Kasiima agamba akabenje kamu ku kkumi buva ku mipiira kwabika kale nga wandibaawo ekizibu.
Kasiima agamba emipiira mingi egyebikwangala giguzibwa abavuzi b’emmotoka nga ate bbo abalina…
File Photo: Bana Nrm nga balwana
Gavumenti etegezezza nga bwetalina kirowoozo kyakusonyiwa Muntu yenna anakola efujjo mu kulonda okujja.
Amyuka omwogezi w’ekibiina kya NRM Ofwono Opondo agamba buli eyesimbyewo ku kifo kyonna asanye okwewala okukuma omuliro mu bantu.
Opondo agamba bakulya matereke nabuli yenna anagezaako okutabangula emirembe.