Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Owa FDC eyabula alabise

Poliisi kyaddaaki ezudde munnakibiina kya FDC eyabula kati ennaku ttaano. Ivan Masembe nga yesimbyewo okukiikirira abantu be Nakaseeke North mu palamenti yabuzibwaawo nga yakamala okuwandiisibwa . Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savvannah Lamarck Kigozi agambye nti maama wa Masembe yeeyabakubidde essimu nti omusajja ono yabadde asuuliddwa kumpi n’amaka ga kitaawe Kigozi agambye nti omusajja ono amaze okukola…

Read More

Abayuza ebipande baakukwatibwa

Akulira eby’okulonda e Mpigi Flavia Mujulizi alabudde abawagizi b'abamu ku beesimbyewo abagenda batungula amaaso n'okutimbulayo ebifaananyi by'abalala nga bw'agenda okubasiba ng'akolaganira wamu ne poliisi. Okwogera bino, abadde ku kitebe ky'akakiiko kano e Mpigi mw’asisinkanidde bonna abeesimbyewo n'ababanonyeza obululu. Kino wekigyidde, nga effujjo lifumbekedde ebitundu ebya Mawokota ey'amaserengeta, abawagizi ba Kiyingi Bbosa n'aba Lubyayi John Bosco, buli omu…

Read More

Aba Go-forward balumbye akakiiko

Ab’ekisinde kya Go forward basabye ab’akakiiko akalondesa okukozesa obuyinza bwaabwe okukoma ku ba NRM okutataaganya enkungaana zaabwe. Amyuka omwogezi wa TDA Sadam Gayira agamba nti omuntu waabwe alina okubeera mu bugwanjuba olunaku lw’enkya kyokka nga baafunye da amawulire nti muk’omukulembeze w’eggwanga yeeyabasooseyo ng’ogwamututte kulemesa nkungaana zaabwe Gayira era agamba nti ssi gwegusoose nga Mbabazi alamesebwa kale ng’akakiiko…

Read More

Amaggye geeganye okuwandiisa abantu

Amaggye g’eggwanga gawakanyizza ebigambibwa nti waliwo okuwandiisa abajaasi okufuna endagamuntu Akulira DP Norbert Mao yategeezezza nti mu bitundu bye Gulu yabadde afunye amawulire nti aba minisitule y’omunda mu ggwanga bakyawandiisa abantu kale nga kyewunyisa nti yye bagaana okumuwandiisa Kati Omwogezi w’amaggye g’eggwanga Lt.Col Paddy Ankunda agamba nti nabo baagoberera nteekateeka ya buli munnayuganda eyakoma nga 11th omwezi…

Read More

Gavumenti yakusasula abaafiriddwa

Gavumenti etegeezezza nga bw’eri ennetegefu okuliyirira abantu abataano abafiiridde mu kabenje akeetabiddwaamu tiimu y‘eggwanga. Abazannyi ba Uganda cranes basatu beebalumiziddwa mu kabenje kano akaagudde e Kamonkoli ku luguudo oluva e Mbale okudda e Tirinyi baasi eyabaddemu abazannyi bweyavuddeko omupiira  neyambalira taxi abantu bataano nebafa Minisita omubeezi akola ku by’emizannyo Charles Bakabulindi agamba nti balindiridde alipoota ya poliisi…

Read More

Bataano bafiiridde mu kabenje ka tiimu y’eggwanga

File Photo: Bus ya tiimu ye gwanga Uganda Craines mu kabenje Abantu bataano kikakasiddwa nti beebafiiridde mu kabenje ku luguudo oluva e Mbale okudda e Mbale. Akabenje kano kagudde ku kyaali Jami ekisangibwa e Kamonkoli mu dsitulikiti ye Budaka. Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti baasi ya Uganda Cranes ebadde eva e Soroti ebuseeko omupiira olwo n’etandika okutagala ng’eno gy’esanze…

Read More

Abazannyi ba Uganda Cranes bagudde ku kabenje

File Photo: Bus ya tiimu ye gwanga Uganda Craines mu kabenje Abazannyi ba Uganda Cranes bafunye akabenje. Bano babadde bava Soroti kusisinkana pulezidenti Museveni abadde abayozayooza okuwangula ekikopo kya CECAFA. Abazannyi basatu beebafunye ebisago mu kabenje akagudde e Kamonkolo ku luguudo oluva e Mbale okudda e Tirinyi. Ablumiziddwa kuliko Dennis Okot , Isaac Muleme ne Kezron Kizito Omukungu mu FUFA…

Read More

Abayizi bafiiridde mu kabenje

File Photo: Emotooka eguude ku kabenge Abayizi bana bafiiridde mu kabenje akagudde mu gombolola ye Arusi mu disitulikiti ye Nebbi. Abayizi bano bonn babadde ba ssomero lya Erusi siniya school. Abaana bano babadde ku kiroole ekiremedde omugoba waakyo nekyefuula abayizi bonna nebagwa era 43 abalala bali mu mbeera mbi ddala mu malwaliro. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya WestNile…

Read More

Abasawo b’ebikwangala babayodde

File Photo: Abasawo abatendekedwa Abasawo b’ebikwangala 12 bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa ab’ekibiina kya Allied Health professional’s council. Obulwaliro 7 bwo buggaddwa lwabutatuukiriza byetaago Omu ku bakwatiddwa ye Dr. Drake Kizito omukulu e Mengo ng’alina eddwaliro e Kawuga Atwala ebyobulamu mu Buganda Micheal Mubiru Kayizzi agambye nti bagaala kukoma ddala ku bantu bano kubanga basusse okubba abantu Ekikwekweto kino kyakugendera ddala…

Read More

Mao atabukidde akakiiko akalondesa

File Photo: Presidenti wa DP Nobert Mao Akulira ekibiina kya DP Norbert Mao agamba nti keekadde akakiiko akalondesa kanyonyole ku ani omutuufu alina okulonda Mao agamba nti kyannaku nti okulond kusembedde naye ng’emivuyo miyitirivu ku lukalala olugenda  okukozesebwa mu kulonda. Ono agamba nti emyezi ena emabega, abadde alwana kulaba nti erinnya lye lidda ku lukalala lw’abagenda okulonda kyokka…

Read More