File Photo: Police nga ekola ogwayo
Poliisi e Mukono ekutte omusajja wa myaka 52 akkakkanye ku myaka 10 n’amutunuza mu mbuga ya sitaani.
Ssalongo Geoffrey Namugera nga wa bakyala babiri akwatiddwa oluvanyuma lwa maaa w’abaana okwemulugunya
Omukyala ono agambye nti yalabye muwala we ng’atambula agaziwa kwekumukazakaaza n’amubuulira ebyamutuseeko.
Atwala poliisi ye Mukono Henry Ayebareagambye nti omusajja ono bamukutte era…
Ab’ebyokwerinda basabiddwa ku kweyingiza mu byobufuzi ebyawula mu bannayuganda
Kino kizze nga kampeyini ziggya zeyongeramu ebbugumu era nga ne alipoota eyafulumye yalaze dda nti poliisi ekwata kisooka okutulugunya abavuganya.
Akulira omukwago gwa bannamateeka Ruth Sebatindira agamba nti poliisi erina okuyiga engeri entuufu y’okukwatamu abantu n’okusigala nga terina ludda.
Bano era balabuddwa ne kukutiisatiisa abantu.
Pulezidenti Museveni agamba nti eyli ssabaminisita Amama Mbabazi talina buwagizi mu NRM era ssi y’addukanya ekibiina nga yye bw’alowooza
Ng’ayogerako eri bannamawulire ng’afundikira olugenda lwe e Teso, Pulezidenti agambye nti kino Mbabazi by’ayogera tebisoboka
Agambye nti Mbabazi yeeyali kyeankana afuga ekibiina weyabeerera ssabawandiisi waakyo ne ssabaminista kyokka nga bino byonna byaggwaawo okuva lweyayabulira ekibiina
Mu ngeri yeemu era…
File Photo: Mbabazi nga buza Museveni
Akutte Bendera ya NRM ku bukulembeze bw’eggwanga Yoweri Museveni agamba nti abavuganya nebwebanegatta tebamusobola.
Ng’ayogerako eri abantu be Kumi, pulezidenti Musveni agambye nti NRM ekyaali ya maanyi era abantu abagiwagira bayitirivu kale abavuganya okuwangula beerimba
Pulezidenti agambye nti NRM yazimbibwa ku mulamwa omugumu ogutali ku madiini na mawanga nga y’ensonga lwaki tesobola…
File Photo:Abaserikale abateredwa mukibuuga
Poliisi etaddewo basajja baayo abasoba mu mitwalo 16 okukuuma emirembe mu biseera by’okulonda
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba nti ku bano abaweza emitwalo 11 baziyiza misango.
Kino kizze ng’abesimbyeewo okukiika mu palamenti bakatandika okuwenja akalulu.
Enanga asabye abantu okugoberera amateeka.
File Photo:Engaato eyenkondo empanvu
Omukazi amazeeko abantu ebyewungula bweyayambudde akakondo n‘akakompola omusajja abadde amukwana mu mutwe.
Abantu ababadde mu ka restorant beebarabye ng’akagatto kabayitako ekikumi nekatuukira ku musajja ssabakwanyi
Akagatto kano kakutte omusajja n’ayiika omusaayi.
Omukyala ono olumaze akimye bulungi akagatto ke n’akambala olwo n’atambula neyeyongerayo
Biri Bungereza
File Photo:Aba Police ngabasitudde omukazi
Alipoota efulumiziddwa ekibiina kya Amnesty International eraga nti poliisi ekyakwata kisooka mu kulinyirira eddembe ly’abantu.
Alipoota eno evuddemu mu kunonyereza ku nsonga y’abantu okukungaana naddala mu biseera bino eby’akalulu.
Okunonyereza kwaakolebwa wakati w’omwezi gw’omwenda n’ogwe kkumi n’ogumu era nga kyeyoleka nti poliisi yakozesa nnyo ttiyagaasi n’amasasi g’ebipiira okulemesa abavuganya okukungaana.
Mu ngeri yeemu era…
File Photo: Otafire nga yogeera
Minisita akola ku nsonga za ssemateeka Gen Kahinda Otafire awakanyizza ebigambibwa nti yayabulidde ekibiina kya NRM.
Otafire bw’abadde ayogerako eri bannamawulire, agambye nti yasalawo okwesimbawo ku lulwe oluvanyuma lw’ekibiina kye obutawuliriza kwemulugunya kyokka nga tekitegeeza nti yava mu NRM.
Agambye nti akyakkiririza mu kibiina n’ebigendererwa byaakyo era wakusigala ng’akiwagira
Kyokka agambye nti ensonga ze…
File Photo: Omwana nga gemebwa
Ab’ekibiina ekivunanabyizibwa ku kugema endwadde ezenjawulo ekya Global Alliance for Vaccines and Immunization kyenyamidde ku ngeri ensimbi zekyawereza e Kasese okugema endwadde ezenjawulo gyezikwatiddwamu.
Ekibiina kino kigamba ensimbi nyingi ziri ku akawunti za disitulikiti zifa ttulo sso nga abantu siriimu akyabaluma, omusujja gw’ensiri gubali bubi nga kwogasse n’akafuba.
Okunonyereza okwakoleddwa gyebuvuddeko kwakizudde nga…
File Photo: Emotooka eyaloolebwa mu Uganda
Gavumenti yakuno yakuteeka obukadde bwa doola 36 mu kukola emmotoka okusuubirwa okutandika mu 2018.
Ssabaminisita w’eggwanga Dr. Ruhakana Rugunda agamba mu nteekateeka eno emmotoka 60,000 zakukolebwa buli mwaka nga buli emu yakusasanyizibwaako doola za Amerika 25,000 .
Ategezezza nga gavumenti bweyawaddeyo dda yiika z’ettaka 100 mu tawuni ye Jinja mu bitundu bye…