Bya Joseph Kato
Kalisoliiso wa gavumenti omulamuzi Irene Mulyagonja, aliko abasirikale 200 ku ddaala lya Assistant Superintendent of Police) banokoddeyo nga betagibwa ku misango gyokujingirira ebiwandiiko.
Okusinziira ku Daily Monitor IGG ayise abasirikale abayingira mu mwaka gwa 2015/16 ne 2014/15 nga kigambibwa ebiwandiiko byebakozesa okuyingira mu poliisi, byali bya jingirizi.
Wabula yye omwogezi wa poliisi mu gwanga Emilian…
Bya Sam Ssebuliba
Omukulemebeze we gwanga lya Zimbabwe eyawambiddwa amagye alabiseeko eri egwanga mu lujudde omulundi ogusookedde ddala bukyanga amagye gamuzingako, ku Lwokusattu lwa wiiki eno.
Ono alabidwako ku mukolo ogwokutikira abaana ogubadde mu kibuga kye gwanga ekikulu Harare.
Wabula tabadeeko bukuumi bwamaanyi, nga bwekibaddenga kitera okubeera songa era tawerekeddwako yadde mukyala we newankubadde minister webyenjigiriza.
Mukaseera kano Mugabe…
Bya shamim Nateebwa.
Katikkiro wa buganda owek. Charles Peter Mayiiga alambiise abakulembezze b’obwakabaka bwa Buganda ku kukolera awamu n’ebitongole eby’obwakabaka okusobola okuzza buganda kuntiko.
Katikiro okwogera bino abadde agulawo olusirika lw’abakulembezze b’obwakabaka bwa Buganda mwebatolambikidde ku namutaayiika 2018-2023.
Ezimu kumpagi eziri mu namutaayika ono kuliko okunywezza,okukuuma n’okutaasa Nnamulondo,okugabana obuyinza mu nkola eya Federo,okukuma ettaka nsalo za Buganda.
Mukwogera Katikkiro…
Bya ben Jumbe .
Waliwo alipoota eraze nga banna-uganda abasinga bwebaasalawo okwebalama eby’obufuzi kubanga batya okutisibwatisibwa nadala mu kaseera k’ebyokulonda.
Mukunonyereza okwakoleddwa ekibiina ekya Afro barometer kwalaze nga banna- uganda ebitundu 48% bwebatya okubaako kyebogera, wadde okwesimbawo nga batya okulisibwa akakanja.
Twogedeko n’omukwanaganya w’ekibiina ekyakoze okunonyereza kuno Francis Kibirige n’agamba nti bakizudde nga abasinga okutisatiisa abantu kuliko abakola…
Bya samuel ssebuliba.
E Nakaseke omubaka omukyala owa district Sarah Najjuma ategeezeza nga bwagenda okwewerekera agenda mu minisitule ekola ku by’enguudo nga ayagala kunyonyolwa lwaki enguudo ze Nkaseke ziringa ezigenda etanda.
Omubaka Najjuma, agamba nti bweyali yeebuza kubantu ku by’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga, abantu baamugamba nti tabatawaanya na byabufuzi, bbo baagala nguudo.
Ono agamba nti…
Bya samuel ssebuliba
Akakiiko akakola ku by’okulabula ku mbeera y’obudde mu yafesi ya ssabaminisita kategeezeza nga enkuba egenda okutonya mu uganda okutusiza dala mu December bwegenda okubeere enyingi, era nga eyinza n’okutwala amayumba ko n’abantu.
Alipoota eyafulumiziddwa okuva mu minisitule eno yalaze nti enkuba egenda okujja tegenda kubeera yaabulijjo, kale nga banna-uganda nadala abali mubifo eby’ebikko kko…
Bya Kyeyune Moses
Omubaka we ssaza lya Ruhinda North mu palamenti, Thomas Tayebwa asanze akaseera akazibu okuva eri babaka banne olwe bbago eryokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.
Ebbago nattabula eryomubaka wa Igara West Raphael Magyezi lirubiridde okujjawo ennyingo 102 (b) mu ssemateeka we gwanga, eyali yateeka ekkomo ku myaka omukulembeze we gwanga gyalina okukomako okukulembera.
Tayeba,…
Bya Malikih Fahad
Entiisa ebutikidde abalwadde, omusawo ku ddwaliro lya Ntusi health center IV mu district ye Sembabule bwagudde ku munaabwe nga yafiridde ku mabbali ge kkubo.
Omugenzi ategerekese nga ye Joseph Okello ngabadde musawo ku ddwaliro lino mu ggombolola ye Ntusi.
Omubiri gwomugenzi Okello gusangiddwa ku mabbali ge kkubo ku kyalo Bukiragi okulinaana ekitebbe kya distrct ye…
Bya Ruth Anderah
Omulamuzi wa kooti e Rugungiri Julius Borore omusango gwa munna FDC Dr. Besigye, Ingrid Turinawe ne Patrick Amuriat agwongezaayo okutuuka ngennaku zomwezi 20th Feb 2018 wamu nokweyimirirwa kwabwe.
Abasattu bano bavunanibwa okukuma omuliro mu bantu mu lukungaana lwebaali bakubye mu munipaali eye Rukungiri ekyavirako akanyolagano kabawagizi ne poliisi, omwafiira omuntu omu.
Bano nabalala abatanakwatibwa bavunanibwa…
Bya Shamin Nateebwa.
Edwaliro ekulu elye Mulago liwakanyizza ebyayogeddwa ministry y’ebyobulamu bweyategeezeza nti egenda kusindika abasawo b’amaggye e Mulago okuyambako mukujanjaba abalwadde.
Kinajukirwa akawungezi akayise Dr Ruth Acheng yategeezeza banamawulire nti bagenda kusindika abasawo b’amagye e mulago bajanjabe abasawo mukaseera kano nga abasawo ba govument bekalakasizza.
Musasi waffe Shamim Nateebwa aliyo atubulide nti ayogerera edwaliro lino Enock Kasasira…
