Bya samuel ssebuliba.
Office ya ssabaminista wa uganda etegeezeza nga amakungula g’omulundi guno bwegagenda okubeera amanafunafu, nga kino kivudde ku busaanyi obwalumba uganda.
Kizuuse nga obusaanyi buno bukosezza nyo ebirime nga kasooli n’omuwemba , kale nga ebeeyi ya kasooli n’ebirara byonna ebiva mubuwunga by’akuseerebwa.
Alipoota yeemu eraga nti obusaanyi buno butuuse n’emubitundu nga Kayunga ne Mukono, songa sabiiti…
Bya samuel ssebuliba.
Mu district ye Kapchorwa Police ekutte abayizi b’esomero 2 nga bano balangibwa gw’akusobya ku mwana atanetuuka.
Abaana abakwatidwa ,omu wa S.4 nga wa myaka 18, songa omulala wa S.2 nga wa myaka 17
Ayogerera Police yeeno Rogers Tayitika agamba nti byebakazuula biraga nti buno obwana bwasobya ku kawala ak’emyaka 15 gyoka bweyali katambula mubudde bw’ekiro…
Bya Eria Lugenda
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abakulembeze okwemalira ku bintu ebirimu omulamwa ogwokukulanya abantu okulaba nga bava mu bwavu mu kifo kyokumalira ebiseera ku buntu obutono obutagasa.
Owembuga bino abyogeredde Gayaza mu distrct ye Kayunga oluvanyuma lw’okulambula omusiri gwemwanyi ogw’omwami Birali Katabilina ogutudde ku yiika ezisoba mu 14.
Kattikiro ali Kayunga gyagenze okulambula abantu…
Bya Ndaye Moses.
Abasowo abali mu kwekalakaasa batabukidde minister akola ku by’obulamu Dr Jane Ruth Acheng nga bagamba nti yeefudde kafulu mu kubayisaamu amaaso.
Bano leero bawayizaamu n’akakiiko akaatekedwawo okukola ku nsoga zaabwe nga katuulako ba minista ab’enjawulo.
Bano ekibajje mu mbeera ye minisita Jane Ruth Acheng okubagamba nti baasalawo okwelakaasa nga bawagirwa ekibiina ekya Uganda medical Association…
Bya Eria Lugenda
Katikkkiro wa Buganda Owembuga Charles Peter Mayiga wetwogerera nga muttaka mu ssaza lya Begerere mu district ye Kayunga gyagenze okulambula abalime b’ekilime kye mwanyi.
Mu kutuuka Katikkiro ayiniriziddwa abakulembeze mu district ye Kayunga abakulembeddwamu omubaka wa gavumenti Rose Birungi nabantu ba ssaabassajja ku lutindo lw’omugga ssezibwa
Wabula kyo ekifo weyabadde agenda okwogererako eri banna-Bugerere kikyusiddwa…
Bya kyeyune moses.
Akakiiko ka parliament akakiiko akakola ku by’edembe lyobuntu kavumiridde engeri ekitongole ekikola ogw’obukesi mumagye egya CMI gyekyakwatamu abasajja 4 abateberezebwa okutta Kaweesi, kyoka nga baali bakwatiddwa.
Kinajukirwa nti sabiiti ewedde amangu dala nga abakulu bano 7 bakateebwa, ate amagye gaddamu negabayigga okukakana nga gakutte Umaru Maganda, Ahmed Senfuka, Ibrahim Lisa ne Abdul Masa Ojere,…
Bya samuel ssebuliba.
Mu gwanga lya Zimbabwe agavaayo galaga nga omukulembeze we gwanga lino Gabriel Robert Mugabe bwakunkumuddwa omukono mukibya, nga ono abadde yakafugira egwanga lino emyaka 37.
Musajja mukulu ono mukaseera kano alina emyaka 93 n’enaku 248 nga ono yazaalibwa mu mwaka gwa 1924.
Webukeeredde leero nga Radio ye gwanga amagye gagiwambye, kko n’amaka g’omukulembeze we gwanga.
Edakiika…
Bya Ruth Anderah
Abasirikale ba poliisi 6 abakwatibwa wiiki bbiri emabega olwokubba ebizibitti olwaleero basimbiddwa mu maaso gomulamuzi wa kooti ento Entebbe nebavunanibwa.
kuno kuliko eyali omuddumizi wa poliisi yoku kisaawe Senior Commandant Aviation Police Lodovic Awita, Imoly Nantalis, AIP Michael Ssemuwemba, Sgt David Owiny, AIP Julius Mwesigwa ne Sgt Deogratius Muhebwa.
Abavunanwa babadde mu maaso gomulamuzi Mary…
Bya Ruth Anderah
Waliwo omusubuzi atutte munnamagye Brig. Kasirye Gwanga mu kooti enkulu ngayagala kumuliyirira obukadde 500 olwokwokya tulakita ye.
Bino byaliwo nga 12th August e Lubowa mu division ye Makindye.
Dennis Wakabi Zimba agamba nti yapangisbwa abasajja babiri okwali Andrew Muwonge ne Kassim Sserugo okubasenderako ettaka ku block 269 e Lubowa, nga baali bamugambye nti bebananyini ttaka abatuufu,…
Bya Ruth Andera
Abekibiina kya FDC batutte ssabapolice Gen Kale Kaiyihura mu mbuga zamateeka, nga bamulumiriza okulagiranga police netataganya okulonda kwobwa president bwekibiina, nga bwekirabiddwako mu nkungaana ezenjawulo.
Bano bayise mu mubaka we Buhweju Francis Mwijukye, nga baagala kooti egaane ssabapolice obutadamu kugotaanya kakuyege wabwe akyagenda mu maaso kubanga FDC kibiina ekiriwo mu mateeka, okuvuganya gavumenti.
Mwijukye agamba nti…
