Bya Damalie Mukhaye.
Olunaku olwaleero abaana aba siniya ey’okuna lwebatandise ebibuuzo byabwe eby’akamalirrizo ku mutendere gwa UNEB.
Abaana bano batandise na somo lya Physics ku makya n’okukuba ebifaananyi ate olw’egulo bakole elya Chemistry .
Ssabawandiisi w’ekitongole kino Dan Odongo atubuulide nti abaana abasuka mu mitwalo 322,000 bebaganda okutuula ebibuzo bino.
Bino ebibuzo bitandise leero nga 16 bikomekerezebwe nga 20th
Bya Ivan Ssenabulya
Kamalabyona wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza abavubuuka mu Buganda okuyayaniranga okubeera abakulembeze, ate abalungi.
Kattikiro yasinzidde Mukono akawungeezi akayise bweyabadde aggulawo olukungaana lwa’bavubuka olugenda okumala ennaku bbiiri ku Collin Hotel.
Ategezeza nti kyekiseera abavubuka okubeera abayiiya kungeri yokuvunukamu ebibasomooza, mu kifo kyokunenya abakulembeze.
Kattikiro mungeri yeemu akubirizza abavubuka okutegekera obukadde bwabwe, mu myaka gyabwe emitto.
Olukungaana…
Bya Benjamin Jumbe
Abakadde mu gwanga okuyita mu Elders Forum balabudde abekibiina kya NRM ne gavumenti ku kabi akali mu kujjawo akawayiro 102/b mu ssemateeka we gwanga, okujja ekkoo ku myaka gyokulmebze 75 egyalambkibwa nti gyalina okukomako okufuga.
Bano bwebabadde batudde olwalero, bogedde ku mbeera yebyobufuzi eganda mu maaso mu gwanga ngesnobi.
Ssentebbe wabakadde mu gwanga, Omulamuzi James…
Bya Sma Ssebuliba
Mu gwanga lya Kenya abantu 3 bakubiddwa amasasi agabatiddewo wakati mu bwegugungo obugenda mu maaso okuwakanya akakiiko kebyokulonda obukutte wansi ne waggulu.
Embeera etabanguse mu bitundu bye Siaya ne Migori, abekalakaasi bwebabadde babulonda nabasirikale ba poliisi.
Abantu bano 3 batiddwa wakati mu kulwanagana ne poliisi nga kigambibwa babadde bagezezaako okulumba poliisi ye Bondo, abaomukago gwa…
Bya Kyeyune Moses
Ababaka bekibiina kya NRM 7 bagobeddwa okuva mu kabondo kekibiina akagenda mu maaso, olwokuwakanya ennongosererza mu ssemateeka okujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.
Nampala wa gavumenti, Ruth Nankabirwa yasomye ababaka bano 7 era nebalagirwa mbagirawo okwamuka ekisinge omuli akafubo wali ku wofiisi ya ssbaminista.
Bano kubaddeko Theodore Ssekikubo owe Lwemiyaga, Barnabas Tinkasimire owe Buyaga…
Bya Sam Opio.
Speaker wa parliament ya Uganda alabudde abavubuka be Kamuli okwewala okumalira obudde mu by’obufuzi, wabula bafube kukola beegobeko bwavu.
Bino Kadaga ebyogedde aliko obuyambi bwawa abavubuka abooza emotoka , nga bano abawadde ebyuma ebyomulembe ebigenda okubagondeza mu mirimo gyabwe.
Ono abasabye okufaayo okukolagana n’abantu ab’ensonga gyebali , sosi kumala budde n’abantu abatayinza kuzimba.
Bya Ruth Anderah.
Kooti ewulira emisango egy’obulyake ekulirwa omulamuzi Lawrence Gidudu leero lw’asubirwa okusalawo oba eyali minister w’ebyengudo Abraham Byandala nabalala mukaaga benyingira mukunyaga ensimbi ezaal ez’okudabiriza oluguudo olwa Mukono- Katosi road.
Kinajukirwa nti obujulizi obwaletebwa Kalisoliiso wa government Sarah Birungi bwalaga nti bano bebaafiriiza government ensimbi obuwumbi 24.7 nga zino zezaali ez’okukola oluguudo luno.
Kinajukirwa nti Byandaala…
Bya Damalie Mukhaye.
Olunaku olwaleero abayizi abagenda okukola ebibuuzo bya S.4 lwebagenda okubuulirwa byebagenda okugoberera mu kukola ebibuuzo byabwe eby’akamaliririzo ebitandiika ku Monde.
Twogedeko ne ssabawandiisi w’ekitongole kya UNEB Daniel Odongo, n’agamba kino kigenda kukolebwa abakulira amasomero benyini.
Abaana abasoba mu mitwalo 320,000 bebagenda okukola ebibuuzo ebitandika nga 16th bikomekerezebwe nga 20th.
Bya samuel ssebuliba.
Amakya ga leero ababaka banna kibiina kya NRM lwebasuubirwa okwetaba mu kabondo kaabwe , bakaanye ku ngeri gyebagenda okwebuuza ku bantu ku nsonga ey’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga.
Twogedeko n’amyuka Nampala wa NRM Solomon Silwany n’agamba nti ababaka bonna aba NRM wamu nabatalina kibiina wabula nga besigamye ku NRM nabo basubirwa okwetaba…
Bya Ndaye Moses
Minister owebyenjigiriza nemizannyo Janet K Museveni ategezeza nti tebajja kumala gakiriza okugaba empeke eza kizaala ggumba mu baana abawala mu masomero.
Mukyala Museveni bino abyogererdde mu distrct ye Kyenjojo ku mikolo gye gwanga egyolunnaku lwomwana womuddugavu, olwaleero.
Agambye nti ebiweke bino byabuilabe eri abaana abawala ku myaka emitto, songa era kyandibavirako okwongera okuyiga emizze gyokwegadanga.
Agambye…
