Eyali ssabawandiisi wa NRM Amama Mbabazi alumbye eyamuddira mu bigere olw’okulemesa ababaka abesimbawo ku bwa nnamunigina okuwandiisibwa kwa ba memba okugenda mu maaso.
Olunaku lwajjo, ssabawandiisi wa NRM Justine Kasule Lumumba yategeezezza nga bwebatagenda kukkiriza kuwandiisa besimbawo ku bwa namunigina, bakiwagi abeewaggula ku kibiina kko ne bamemba b’ebibiina ebirala
Mbabazi agamba nti ssemateeka wa NRM talina w’ayogerera…
Aba famire yomuyimbi Madina Kansiime amanyiddwa nga Bibuuza basabye abasawo okuleka omulwadde waabwe agira abeera mu ddwaliro okutuusa ng’ateredde bulungi.
Kino kiddiridde embeera ye okweyongera okutabuka ate nga yabadde asibuddwa olunaku lwajjo kyokka kai embeera gy’alimu eraga nti akyali bubi.
Madina yatusobodde okwogerako naye wabula nga agamba yetamidwa.
Okusinzira ku bbaluwa z’abasawo Bibuuza atawanyizibwa puleesa wamu n’akasaayi akali…
Ababundabunda okuva e Burundi abasoba mu 500 beebamaze okwesogga Uganda
Bano batuukidde mu nkambi ya Nakivale ne Orukinga mu disitulikiti ye Isingiro
Abasinga ku bano bakyala na baana.
RDC we Isingiro omukulu Herbert Muhangi agambye nti abatuuka beebafunira webasula n’asaba bannayuganda okwaniriza abantu bano.
Embeera mu Burundi eyongera kuba ya bunkenke ng’omukulembeze ali mu ntebe alemedde ku ky’okuddamu okwesimbawo…
Ensonga z’okukomyaawo aduumira abayekeera ba ADF mu ggwanga Jamil Mukulu zeyongeddemu kigoye wezinge.
Agava mu Tanzania galaga nga kkooti yaayo enkulu bw’etandise okuwulira omusango gwa Mukulu ng’avuganya Uganda nga tannakomezebwaawo wano
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti baweerezza ekibinja ky’abakugu okuva mu ofiisi ya ssabawaabi ne poliisi okulaba nti buli kimu kitambula bulungi
Enanga anyonyodde nti balinze…
Poliisi yakukwata ba ofiisa baayo bonna abasuulawo emirimu nga tebakoze kusaba mu butongole
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa poliisi, abapoliisi 37 beebatali ku mirimu ate nga tebaawa nsonga yonna.
Kino kikwata ku ba ofiisa bonna abamaze ennaku 21 nga tebali ku mirimu ate nga tebaasaba
Ssinga gubakka mu vvi, baba basibwa omwaka mulamba
Ekibiina kya NRM kitegeezezza nga bwekitagenda kuddamu kuwandiisa babaka bakiwagi mu kuddamu okuwandiisa ba memba okugenda mu maaso.
Kino kizze ng’ekibiina kino kiteekateeka okutandika okuwandiisa ba memba baakyo bonna okuva ku lw’okutaano luno
Ssabawandiisi wa NRM Justine Kasule Lumumba agamba nti bawummuzibwa akakiiko akafuzi ak’ekibiina kale nga keekalina okukola ku nsonga zaabwe
Anyonyodde mu kino okutuuka nga kibaddewo,…
Omubaka wa municipaali ye Soroti Mike Mukula olwaleero alangiridde nga bw’atagenda kuddamu kuvuganya ku municipaali eno
Bino abirangiridde ku mukolo ogubadde ku Soroti sports ground
Ku mukolo guno era Mukula kw’asinzidde okwebaza abantu be Teso olw’okumuwagira n’okumwagala emyaka gyonna gy’abadde mu bukulembeze.
Abatuuze be gombolola ye Buwama mu disitulikiti ye Mpigi bekumyeemu ogutaaka nebasima ebinya wamu n’okusuula emisanvu mu kkubo, nga bagamba nti disitulikiti ye Mpigi eremereddwa okukola enguudo zaabwe.
Bano bazibye oluguudo oluva e Mpigi okudda e Butambala okutuuka e Gomba nga bagamba nti lufuuse kizibu okuyitibwamu olw’enkuba etonnya obutasalako.
Wabula ye ssentebe wa disitulikiti ye Mpigi, John…
Akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku mateeka n’emirimu gya palamenti kattukizza okunonyereza ku nsimbi z’abakozi abawummula nga zino ziwerera ddala obuwumbi 165 ezabulankanyizibwa.
Kino kiddiridde amawulire okulaga ng’ebitongole bya poliisi bwebitandise okulwanagana mu kubuuliriza ate nga waliwo n’abasirkale ba poliisi abagambibwa okulya okulya enguzi okutta omusango.
Akulira akakiiko kano Stephen Tashobya agambye nti bagaala bazuula abantu bonna abenyigira…
Waliwo omuyizi akwatiddwa lwakutta munne
Joel Odoi ng’ali mu kibiina kya kuna mu ssomero lya Tororo Children of Promise primary school yalwanaganye ne munne n’amusindika neyekoona n’atandika okuvaamu omusaayi era n’afa
Omwana ono yafudde atuusibwa mu ddwaliro ab’essomero gyebamuddusizza nga biwalattaka
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Bukedi Michael Odongo agambye nti omwana ono bamaze okumukwata nga bakumuggulako…